LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 4/02 lup. 3
  • “Tubakolenga Obulungi Bonna”

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • “Tubakolenga Obulungi Bonna”
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Similar Material
  • Nyiikira Okukola Ebirungi!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
  • Apuli—Kiseera ‘Tukole n’Amaanyi n’Okufuba’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • ‘Beera Mugagga mu Bikolwa Ebirungi’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
See More
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2002
km 4/02 lup. 3

“Tubakolenga Obulungi Bonna”

1 ‘Buulira Ekigambo kya Katonda mu Bujjuvu’ era ‘Beera Mugagga mu Bikolwa Ebirungi’ gino gye mitwe egyali mu bupapula obw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Febwali n’aka Maaki 2002. (Bak. 1:25; 1 Tim. 6:18) Mu bitundu ebyo twakubirizibwa okukola kaweefube okuyamba abaagala okuyiga amazima babeerewo ku Kijjukizo, abo abatakyabuulira okuddamu okukolagana n’ekibiina, n’okuyamba abaana baffe n’abayizi ba Baibuli abatuukiriza ebisaanyizo okutandika okubuulira amawulire amalungi. Awatali kubuusabuusa tufunye ebibala okuva mu kaweefube oyo. “Kale, bwe tunaalabanga ebbanga, [tweyongere okubakolanga] obulungi bonna.”​—Bag. 6:10.

2 Bayite Baddemu Okubaawo Nate: Mu kitundu kyaffe kino eky’Afirika ow’Ebuvanjuba, abantu abasoba mu 70,000 abatali babuulizi be babeerawo ku Kijjukizo buli mwaka. Okuva okubeerawo kwabwe bwe kutulaga nti baagala okuyiga amazima, kiki kye tuyinza okukola okukubiriza abantu abo “abaagala obulamu obutaggwaawo” okufuuka ‘abakkiriza’? (Bik. 13:48, NW) Bakubirize baddemu okujja mu nkuŋŋaana z’ekibiina mangu ddala nga bwe kisoboka.

3 Lwaki toyita muntu oyo ayagala okuyiga amazima okubaawo mu Lukuŋŋaana lw’Ekibiina olw’Okusoma Ekitabo? Bw’oba ng’omulinako oluganda oba nga mukwano gwo, oyinza okumuyita ajje awulirize ekitundu ky’oweereddwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda. Mutegeezenga emitwe gy’okwogera eri bonna okunaabaawo mu wiiki ezijja mu maaso. (Enteekateeka eriko okwogera okwo esaanidde okutimbibwa awabeera ebirango by’ekibiina.) Noonyereza akakisa konna k’oyinza okukozesa okukubiriza omuntu oyo okusinza Yakuwa. Kya lwatu, bw’aba talina amuyigiriza Baibuli, oyinza okumusaba otandike okusoma naye.

4 Weeyongere Okuzzaamu Amaanyi Abo Abatakyabuulira: Bangi ku abo abaaliwo ku Kijjukizo beewaayo dda eri Yakuwa. Kyokka, ekiseera kyatuuka ne balekera awo okubuulira amawulire amalungi. Pawulo yatukubiriza “tubakolenga obulungi bonna . . . naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Bag. 6:10) N’olwekyo, abo abatakyabuulira be balina okusinga okulowoozebwako.

5 Oboolyawo abamu bazzeemu okwenyigira mu buweereza oluvannyuma lw’okukubirizibwa abakadde n’abalala. Abakadde bwe bakusaba okukola n’omubuulizi azziddwamu amaanyi, kimanye nti okwagala kw’olina eri Yakuwa n’eri obuweereza bw’ennimiro bijja kuzimba omuntu oyo. Mulage engeri y’okwenyigira mu bitundu eby’enjawulo eby’obuweereza asobole okubifunamu essanyu, okunywerera mu mulimu gw’okubuulira, era asobole okufuna emikisa gya Yakuwa.

6 Wa Ababuulizi Abappya Entandikwa Ennungi: Omukyala omu bwe yakitegeera nti azudde ekibiina kya Katonda eky’amazima, yayagala atandikirewo okubuulira amangu ago. Oluvannyuma lw’okutegeera ebyali bimwetaagisa, yagamba: “Njagala kutandikirawo.” Omuntu gw’obadde oyigiriza Baibuli bw’aba nga kati akkiriziddwa okwenyigira mu buweereza bw’ennimiro, muyambe alabe nga bwe kyetaagisa ‘okutandikirawo,’ era muwe entandikwa ennungi. Muyambe afune enkola ennungi ey’okweteekerateekera n’okwenyigira buli wiiki mu buweereza bw’ennimiro.

7 Omwana wo bw’aba nga y’afuuse omubuulizi atannaba kubatizibwa, buulira naye asobole okukulaakulana okusinziira ku myaka gye n’obusobozi bwe. Bw’oba omuyambyeko, ayinza okukwewuunyisa olw’engeri ennungi gy’ayinza okunyumya n’omuntu, gy’asomamu Ebyawandiikibwa oba gy’agabamu ebitabo. Bw’asanga omuntu ayagala okuyiga mu nnimiro, muyigirize engeri y’okwetegekeramu okuddayo okusobola okuyamba omuntu oyo.

8 Gaziya Obuweereza Bwo: Embeera zo zikusobozesa okwongera ku buweereza bwo wadde oluvannyuma lw’ekiseera ky’Ekijjukizo? Osobola okwongerako essaawa emu oba bbiri buli wiiki ku bbanga ly’otera okumala mu buweereza? Otunuddeko ku kalenda mu bbanga ery’omu maaso olabe ddi lw’oyinza okukola nga payoniya omuwagizi nate? Oba osobola okukola enteekateeka ezinaakusobozesa okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna? Okunyiikirira obuweereza kiyinza okutusobozesa okuyamba omuntu okukkiriza amazima! (Bik. 8:26-39) Nga tutunuulira ebiseera eby’omu maaso, ka ‘tufubenga okukola ekirungi eri ffekka na ffekka n’eri bonna.’​—1 Bas. 5:15, NW.

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Weeyongere Okuyamba:

□✔ Abajja ku Kijjukizo

□✔ Ababuulizi abazziddwamu amaanyi

□✔ Ababuulizi abappya abatannabatizibwa

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share