‘Beera Mugagga mu Bikolwa Ebirungi’
1 Omutume Pawulo yakolera wamu ne Timoseewo era ne Tito mu myaka egyasembayo egy’obuweereza bwe. Bombi yabawandiikira ebigambo ebizzaamu amaanyi. Yagamba Tito nti “abakkiriz[z]a Katonda” balina ‘okussa omwoyo ku bikolwa ebirungi.’ (Tito 3:8) Yagamba Timoseewo nti abo abateeka essuubi lyabwe mu Katonda basaanidde ‘okubeera abagagga mu bikolwa ebirungi.’ (1 Tim. 6:17, 18) Kuno kubuulirira kulungi nnyo eri ffe ffenna! Naye kiki ekinaatukubiriza okuba n’ebikolwa ebirungi mu bulamu bwaffe? Era bikolwa ki ebirungi bye tujja okukola mu nnaku ezijja mu maaso?
2 Ekitukubiriza okubeeranga abagagga mu bikolwa ebirungi, kwe kukkiriza kwaffe mu Yakuwa, okwagala kwe tulina gy’ali era n’essuubi ery’ekitalo ly’atuwadde. (1 Tim. 6:19; Tito 2:11) Naddala mu kiseera kino eky’omwaka, tujjukizibwa nti Yakuwa yasindika Omwana we ku nsi okulaga obutuufu bw’obufuzi bwa Kitaawe, Yakuwa n’okuggulawo ekkubo erituusa abantu bonna abasaanira mu bulamu obutaggwaawo. (Mat. 20:28; Yok. 3:16) Kino kijja kulagibwa bulungi ku mukolo gw’Ekijjukizo ky’okufa kwa Kristo nga Maaki 28. Olw’okusiima essuubi lyaffe ery’okufuna obulamu obutaggwawo, tetwandikoze kyonna kye tusobola ‘okubeera abagagga mu bikolwa ebirungi’? Kya lwatu ekyo kye twandikoze! Bikolwa ki ebirungi bye tuyinza okukola kati?
3 Ebikolwa Ebirungi Bye Tuyinza Okukola mu Maaki era n’Okweyongerayo: Awatali kubuusabuusa, tujja kubaawo ku Kijjukizo—olunaku olusingayo obukulu mu mwaka eri Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna. (Luk. 22:19) Naye twagala okugabana essanyu ly’olunaku olwo n’abantu bangi nga bwe kisoboka. Tunula ku lipoota y’obuweereza eri mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 2002, era ojja kulaba nti omwaka oguyise mu nsi nyingi abaaliwo ku Kijjukizo baakubisaamu omuwendo gw’ababuulizi emirundi ng’esatu, ena, etaano oba n’okusingawo. Mazima ddala, bonna abaali mu bibiina baanyiikira okugaba obupapula obuyita abantu ku Kijjukizo mu bitundu byabwe. N’olwekyo, twagala okuwaayo obudde bungi nga bwe kisoboka okuva kati okutuusa nga Maaki 28, okuyita abantu okubaawo ku Kijjukizo n’okubayamba okuyiga ku ssuubi ery’obulokozi.
4 Tuyinza tutya okulaga nti tuli ‘bagagga mu bikolwa ebirungi’ mu kiseera ky’Ekijjukizo? Nga tweyongera okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira amawulire amalungi, nga ‘tunyiikirira ebikolwa ebirungi.’ (Tito 2:14; Mat. 24:14) Bw’oba tosobodde kukola nga payoniya omuwagizi mu Maaki, osobola okukikola mu Apuli ne Maayi, oba ogumu ku gyo? Bw’oba okola nga payoniya mu Maaki, osobola okweyongerayo?
5 Abakozi abamu bakisanga nti bayinza okukola essaawa emu n’omusobyo mu buweereza nga bagenda ku mirimu gyabwe. Bayinza okubuulira ku nguudo oba okwogera n’abantu abakedde ku mirimu gyabwe. Abamu bakozesa ebiseera ebimu eby’ekyemisana okubuulira. Abalala bakisanze nga kisoboka okusoma Baibuli ne bakozi bannaabwe mu kiseera ekyo. Bangi ku bannyinaffe abafumbo basobodde okufuna ebiseera okugenda okubuulira ng’abaana baabwe bali ku ssomero. Ennaku ezimu, bwe bazuukuka nga bukyali ne bakola emirimu gy’awaka, kibayambye okufuna obudde okubuulira n’okuyigiriza mu biseera eby’emisana.—Bef. 5:15, 16.
6 Ne bw’oba nga tosobola kukola nga payoniya omuwagizi, oyinza okukola enteekateeka ey’okwongera ku buweereza bwo, ng’okola kyonna ekisoboka ‘okukolanga obulungi, okubeeranga omugagga mu bikolwa ebirungi’ ng’oyamba abalala okutegeera amazima.’—1 Tim. 6:18.
7 Jjukira Omulimu Omulungi ogw’Okufuula Abayigirizwa: Buli mwaka wabaawo abappya abajja ku Kijjukizo. Kisoboka abamu mu kibiina okufaayo ku abo abazze naye nga tebalina gwe basoma naye? Abalinga abo bayinza okukyalirwa nate nga mulina ekigendererwa eky’okubayamba bakulaakulane mu by’omwoyo? Kiyinzika okuba ng’abamu ku banajja ku Kijjukizo balina ab’eŋŋanda Abajulirwa. Abalala bayinza okuba nga baasomako naffe Baibuli, nga kye beetaaga kyokka kwe kuzzibwamu amaanyi baddemu okusoma n’okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa. Nga kiyinza okutuleetera essanyu ppitirivu okubalaba nga bafuuse abaweereza ba Yakuwa abajjumbize!
8 Nga twongera okugaziya ku buweereza bwaffe mu mwezi gwa Maaki n’okweyongerayo, tusobola okuzuula abantu bangi abaagala okuyiga be tuyinza okuddiŋŋana. Gezaako okubalekerayo ekibuuzo. Basuubize okukiddamu ku lukyala oluddako. Bwe tunaakola bwe tutyo tujja kuba tutemye oluwenda olw’okuddayo. Kiba kirungi nnyo obutalwawo kuddayo. Bwe tuba tetusobodde kutandika kubayigiriza Baibuli ku lukyala olusooka, tugezeeko okutandika ku lukyala oluddako bwe kiba kisoboka.
9 Bwe twenyigira mu kubuulira okw’oku nguudo, tufube okutandika emboozi n’abantu. Ababuulizi bangi basisinkanye abantu mu kubuulira okw’oku nguudo era abantu abo babawadde amanya, endagiriro n’ennamba zaabwe ez’essimu. Omuntu gw’oyogedde naye bw’aba tabeera mu kitundu kyo, funa akapapula akayitibwa Please Follow Up (S-43) okuva mu Kizimbe ky’Obwakabaka, kajjuzeemu era okawe omuwandiisi w’ekibiina ajja okukaweereza mu kibiina ekibuulira mu kitundu omuntu oyo gy’abeera. Omuwandiisi bw’aba tasobodde kukola bw’atyo, ajja kukaweereza ku ofiisi y’ettabi kakolebweko. Mu ngeri eno, omuntu oyo asobola okuyambibwa okukulaakulana.
10 Singa ennamba y’essimu y’omuntu efunibwa naye endagiriro ye n’etafunibwa, yogera n’omuntu oyo ku ssimu. Teekateeka ky’oyagala okwogerako nga bukyali. Beera n’akatabo Reasoning kikwanguyire okukeberayo amangu. Bw’ayagala okumanya ebisingawo, funa endagiriro ye osobole okumukyalira awaka we bwe kiba kisoboka.
11 Kolagana n’Abakadde Okuyamba Abo Abatakyabuulira: Abakadde baagala nnyo okufaayo ku abo abatakyabuulira. Bangi ku balinga abo bazzeemu okujja mu nkuŋŋaana ku lwabwe. Balaba obwetaavu bw’okuba n’enkolagana ey’oku lusegere n’ekibiina kya Yakuwa okusobola okufuna obukuumi bw’eby’omwoyo obwogerwako mu Zabbuli 91. Abamu ku bano kati beeteefuteefu okuddamu okubuulira. Singa abalala ababadde tebakyabuulira bajja ku mukolo gw’Ekijjukizo omwezi guno, bayinza okwagala okusoma Baibuli. Singa kiba bwe kityo, abakadde bajja kukola enteekateeka bafune omuntu anaabayamba. Singa osabibwa okuyamba mu ngeri eno, obuyambi bwo bujja kusiimibwa nnyo.—Bar. 15:1, 2.
12 Weeyongerenga ‘Okuba n’Ebikolwa Ebirungi’: Bangi ku baweerezza nga bapayoniya abawagizi okumala omwezi oba n’okusingawo bakisanze nti obuweereza bwabwe obw’ennimiro bweyongerako mu myezi egyaddirira. Baasisinkana abantu abaalaga okusiima ne bakisanga nti kyetaagisa okuddayo. Kino kyabakubiriza okwongera amaanyi mu buweereza bwabwe obw’ennimiro okusobola okuddayo eri abo abaalaga okusiima. Abamu baatandika okuyigiriza abantu Baibuli, era ekyo kyabayamba okwenyigira mu buweereza ku kigero ekisingawo.
13 Abalala baafuna essanyu lya nsusso mu kubuulira n’okufuula abayigirizwa era ne kibaviirako okwekkenneenya ebintu bye balina okukulembeza mu bulamu bwabwe. N’ekyavaamu, abamu baasobola okukendeeza ku biseera bye bawaayo eri emirimu gyabwe kibasobozese okweyongera okukola nga bapayoniya abawagizi. Abalala basobodde okuweereza nga ba bapayoniya aba bulijjo. Baateeka obwesige bwabwe mu Katonda so si mu bintu by’ensi eno. Baakisanga nti ‘okubeera abagabi,’ kyabaleetera okufuna emikisa gya Yakuwa era ne kinyweza n’essuubi lyabwe ‘ery’obulamu obwa nnamaddala.’ (1 Tim. 6:18, 19) Kya lwatu nti abantu bwe beeyongera okuweereza nga bapayoniya, ekibiina kyonna kiganyulwa. Bapayoniya batera nnyo okwogera ku bye bayiseemu ne bayita n’abalala babeegatteko mu buweereza, era kino kitumbula embeera ennungi ey’eby’omwoyo mu kibiina.
14 Ka ffenna ‘tubeere bagagga mu bikolwa ebirungi’ mu kiseera kino eky’Ekijjukizo era n’okweyongerayo, nga tunyiikirira obuweereza obw’Ekikristaayo. Ka tulage nti tusiima ekyo Yakuwa ky’atukoledde ng’atuwa essuubi ery’obulamu obutaggwawo mu nsi empya omuli obutuukirivu.—2 Peet. 3:13.