Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Ng’omubuulizi tannakkirizibwa kubatizibwa, enkuŋŋaana n’okubuulira alina kuba ng’abijjumbira kwenkana wa?
Okubatizibwa kye kintu ekisingayo obukulu omuntu ky’ayinza okusalawo mu bulamu. N’olwekyo, ng’omuntu tannabatizibwa, asaanidde okuba ng’amanyi ebyo Katonda by’amwetaagisa, era ng’akyoleka mu bulamu bwe nti mumalirivu okubikolerako.
Okuva bwe kiri nti Abakristaayo balina okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa, omubuulizi atali mubatize asaanidde okuba ng’ajjumbira enkuŋŋaana z’ekibiina. (Beb. 10:24, 25) Bwe wabaawo ekitundu eky’okukubaganyaako ebirowoozo, asaanidde okubaako by’addamu. Ate era, kyandibadde kirungi n’aba ng’ali mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, wadde ng’ekyo si ky’ekimu ku bisaanyizo.
Okugatta ku ekyo, okuva bwe kiri nti Abakristaayo baaweebwa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abantu abayigirizwa, omubuulizi atali mubatize asaanidde okuba ng’ajjumbira okubuulira. (Mat. 24:14; 28:19, 20) Alina kubuulira kumala myezi emeka alyoke abatizibwe? Asaanidde okuweebwa ekiseera ekimala asobole okukiraga nti mumalirivu okubuuliranga n’obunyiikivu buli mwezi. (Zab. 78:37) Wadde kiri kityo, tewalina kuyita kiseera kiwanvu nnyo okuva lwe yatandika okubuulira, oboolyawo oluvannyuma lw’emyezi mitono. Asaanidde kuba ng’abuulira essaawa mmeka buli mwezi? Tewali ssaawa ngereke. Abakadde basaanidde okulowooza ku mbeera ya buli mubuulizi, obutaba bakakanyavu, n’obutagwa lubege.—Luk. 21:1-4.
Abakadde (oba abaweereza abali mu kibiina ekirimu abakadde abatono) ababa bagenda okubuuza omubuulizi ebibuuzo eby’okubatizibwa basaanidde okukijjukira nti buli muntu aba wa njawulo, era basaanidde okukozesa amagezi nga basalawo obanga omubuulizi atuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Alina okuba ng’akiraga nti ayagala nnyo okuba Omujulirwa wa Yakuwa era nga kyeyoleka kaati nti okubaawo mu nkuŋŋaana n’okubuulira abitwala nga bikulu. Ate era abakadde basaanidde okukijjukira nti akyakula mu by’omwoyo era nti tali ng’ababuulizi ababatize abalina obumanyirivu. Abakadde bwe balaba nti tatuukiriza bisaanyizo bya kubatizibwa, basaanidde okumulaga ensonga okuva mu Bayibuli n’okulaba nti ayambibwa mu by’omwoyo.