EBIBUUZO EBIBUUZIBWA ABO ABAAGALA OKUBATIZIBWA
Ebibuuzo Ebisembayo eby’Okukubaganyaako Ebirowoozo n’Abagenda Okubatizibwa
Okubatizibwa kutera kubaawo ku nkuŋŋaana ennene ez’Abajulirwa ba Yakuwa. Omwogezi bw’aba afundikira emboozi ekwata ku kubatizibwa, asaba abo ababa bagenda okubatizibwa bayimirire baddemu ebibuuzo bino wammanga mu ddoboozi ery’omwanguka:
1. Weenenyezza ebibi byo, ne weewaayo eri Yakuwa, era okkiriza nti atununula okuyitira mu Yesu Kristo?
2. Okitegeera nti bw’obatizibwa ofuuka omu ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu kibiina kye?
Abo ababa bagenda okubatizibwa bwe baddamu nti “yee,” kiba kiraga nti ‘baatudde mu lujjudde’ nti bakkiririza mu kinunulo era nti beewaddeyo eri Yakuwa. (Bar. 10:9, 10) Kiba kirungi ne balowooza ku bibuuzo ebyo n’obwegendereza nga bukyali basobole okubiddamu okuviira ddala ku mitima gyabwe.
Wamala okwewaayo eri Yakuwa mu kusaba n’omusuubiza okusinza ye yekka n’okukulembeza okukola by’ayagala mu bulamu bwo?
Owulira ng’oyagala okubatizibwa amangu ddala nga bwe kisoboka?
Omuntu asaanidde kwambala atya ng’agenda okubatizibwa? (1 Tim. 2:9, 10; Yok. 15:19; Baf. 1:10)
Tusaanidde okwambala ‘ebyambalo ebisaana era ebiraga nti tuli beegendereza’ era nti ‘tuwa Katonda ekitiibwa.’ N’olwekyo abo ababa bagenda okubatizibwa tebasaanidde kwambala ngoye zibakwata oba eziraga ebitundu by’omubiri ebitalina kulagibwa oba eziriko ebigambo oba ebifaananyi. Basaanidde okwambala engoye ennyonjo, eziri mu mbeera ennungi, era ezituukana n’omukolo.
Omuntu asaanidde kweyisa atya ng’abatizibwa? (Luk. 3:21, 22)
Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ku ngeri Omukristaayo gy’asaanidde okweyisaamu ng’abatizibwa. Yali akimanyi nti okubatizibwa kintu kikulu nnyo, era ekyo yakyoleka mu ngeri gye yeeyisaamu ng’abatizibwa. N’olwekyo, ekifo awabatirizibwa tekiba kifo kya kuleeterawo kusaaga okutasaana, kya kuzannyiramu, kya kuwugiramu, oba okukoleramu ebintu ebirala ebiraga nti omukolo ogwo tetuguwa kitiibwa kigugwanira. Ate era, oyo abatiziddwa tasaanidde kujaganya nnyo nga gy’obeera nti alina obuwanguzi obw’amaanyi ennyo bw’atuuseeko. Wadde ng’okubatizibwa kiba kiseera kya ssanyu, essanyu eryo tusaanidde okulyoleka mu ngeri esaana.
Okubeerangawo mu nkuŋŋaana n’okwenyigira mu nteekateeka z’ekibiina endala kinaakuyamba kitya okutuukiriza okwewaayo kwo eri Yakuwa?
Oluvannyuma lw’okubatizibwa, lwaki kikulu nnyo okweyongera okuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa era n’okuba omunyiikivu mu mulimu gw’okubuulira?
OBULAGIRIZI ERI ABAKADDE
Omubuulizi atali mubatize bw’agamba nti ayagala okubatizibwa, abakadde bamukubiriza okuyita mu “Bibuuzo Ebibuuzibwa Abo Abaagala Okubatizibwa,” ebiri ku lupapula 185-207 mu katabo kano. Ate era bamukubiriza okusoma ekitundu ekirina omutwe, “Eri Omubuulizi Atali Mubatize,” ekiri ku lupapula 182, asobole okweteekateeka obulungi. Ekitundu ekyo kiraga nti oyo agenda okubatizibwa bw’aba addamu ebibuuzo, asobola okuba n’akatabo kano ng’akabikkudde era n’okukozesa ebyo bye yawandiika. Kyokka tekyetaagisa muntu mulala kusooka kuyitamu naye mu bibuuzo ebyo nga tannaba kutuula na bakadde.
Omuntu ayagala okubatizibwa asaanidde okutegeeza akwanaganya akakiiko k’abakadde. Oyo aba ayagala okubatizibwa bw’amala okuyita mu bibuuzo ebibuuzibwa abo abaagala okubatizibwa, akwanaganya akakiiko k’abakadde amubuuza obanga yamala okwewaayo eri Yakuwa mu kusaba n’amuteegeeza nti agenda kukozesa obulamu bwe okukola Yakuwa by’ayagala. Bw’aba nga yamala okwewaayo, oyo akwanaganya akakiiko k’abakadde akola enteekateeka abakadde babiri bakubaganye n’omuntu oyo ebirowoozo ku bibuuzo ebibuuzibwa abo abaagala okubatizibwa. Buli omu ku bakadde abo alina kutwalako kimu ku bitundu ebibiri eby’ebibuuzo ebyo. Abakadde tekibeetaagisa kulinda kumala kuyisa kirango nti wagenda kubaawo olukuŋŋaana olunene, ne balyoka batandika okubuuza omuntu ebibuuzo.
Abakadde bayinza okukozesa essaawa ng’emu okukubaganya naye ebirowoozo ku buli kitundu, wadde ng’oluusi kiyinza okwetaagisa ebiseera ebisingako. Buli omu ku bakadde bw’atuula n’omuntu okumubuuza ebibuuzo, alina okuggulawo era n’okuggalawo n’okusaba. Abakadde tebasaanidde kwanguyiriza nga bayita mu bibuuzo ebyo n’abo abaagala okubatizibwa. Abakadde ababa baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okubuuza ebibuuzo ebyo tebasaanidde kulwawo kukikola.
Ate era kiba kirungi abo abaagala okubatizibwa okubuuzibwa ebibuuzo kinnoomu, mu kifo ky’okubabuuza nga bali mu kibinja. Abakadde bwe bawa buli muntu aba ayagala okubatizibwa omukisa okuddamu buli kibuuzo, baba basobola okutegeera obanga ddala ategedde bulungi amazima, era ekyo ne kibasobozesa okulaba obanga agwanidde okubatizibwa. Okugatta ku ekyo, oyo ayagala okubatizibwa kiyinza okumwanguyira okunnyonnyola ekyo ky’amanyi ng’ali yekka. Omwami ne mukyala we bombi bwe baba baagala okubatizibwa, bayinza okubuuzibwa ebibuuzo nga bali wamu.
Oyo abuuzibwa ebibuuzo bw’aba nga mwannyinaffe, omukadde asaanidde okumubuuliza abantu we basobola okubalabira naye nga tebasobola kuwulira bye boogera. Bwe kiba kyetaagisizza okumubuuza nga waliwo omuntu omulala, omuntu oyo asaanidde kuba mukadde oba muweereza, okusinziira ku bibuuzo ebiba bigenda okubuuzibwa, nga bwe kiragibwa mu katundu akaddako.
Mu bibiina omuli abakadde abatono ennyo, abaweereza mu kibiina ababa bakiraze nti beegendereza era nti bategeevu nabo bayinza okuyita mu bibuuzo n’abo abaagala okubatizibwa. Ebibuuzo bye bayinza okuyitamu nabo byebyo ebiri mu “Ekitundu 1: Abakristaayo Bye Bakkiriza.” “Ekitundu 2: Obulamu bw’Omukristaayo,” abakadde bokka be balina okukiyitamu n’abo abaagala okubatizibwa. Ekibiina bwe kiba nga tekirina ba luganda abatuukiriza ebisaanyizo abamala, omulabirizi w’ekitundu ayinza okutegeezebwa n’alaba obanga ekibiina ekiri okumpi kiyinza okuyambako.
Oyo aba ayagala okubatizibwa bw’aba ng’akyali mwana muto, muzadde we oba bazadde be abaweereza Yakuwa balina okubaawo ng’abuuzibwa ebibuuzo. Omuzadde oba abazadde bwe baba tebasobola kubaawo, abakadde babiri (oba omukadde n’omuweereza) balina okubaawo ng’abuuzibwa okusinziira ku kitundu ekiba kibuuzibwa.
Abakadde basaanidde okukakasa nti oyo ayagala okubatizibwa ategeera enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako ku kigero ekisaanidde. Okugatta ku ekyo, basaanidde okukakasa nti omuntu oyo amazima agatwala nga ga muwendo era nti assa ekitiibwa mu nteekateeka z’ekibiina kya Yakuwa. Singa omuntu aba tategeera njigiriza za Bayibuli ezisookerwako, abakadde basaanidde okukola enteekateeka ayambibwe, kimusobozese okutuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa ku mulundi omulala. Abamu bayinza okuba nga beetaaga okuweebwa ekiseera bongere okukyoleka nti okubuulira bakutwala nga kintu kikulu oba okukyoleka nti bagoberera enteekateeka z’ekibiina. Kiri eri abakadde okulaba engeri gye bayinza okugabanyaamu ebiseera bye balina okumala ku buli kitundu ky’ebibuuzo basobole okutegeera obulungi obanga omuntu atuukiriza ebisaanyizo eby’okubatizibwa. Wadde nga kiyinza okwetaagisa abakadde okumala ebiseera ebiwerako ku bibuuzo ebimu, ebibuuzo byonna balina okubibuuza.
Abakadde ababa babuuzizza ebibuuzo oyo ayagala okubatizibwa basisinkana oluvannyuma lw’omuntu oyo okubuuzibwa ebibuuzo ebiri mu kitundu eky’okubiri basobole okusalawo obanga omuntu oyo asaanidde okubatizibwa. Abakadde basaanidde okulowooza ku busobozi bwa buli muntu n’embeera ze endala. Ekikulu kwe kuba nti omuntu awaddeyo omutima gwe eri Yakuwa n’okuba nti ategeera bulungi amazima amakulu agali mu Bayibuli. Abakadde bwe bafuba okuyamba omuntu, aba asobola bulungi okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwe obukulu obw’okubuulira amawulire amalungi ng’amaze okubatizibwa.
Oluvannyuma, omukadde omu oba bombi ababa baalondebwa basaanidde okusisinkana omuntu oyo bamutegeeze obanga atuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Bw’aba ng’atuukiriza ebisaanyizo, abakadde basaanidde okwekenneenya naye ekitundu ekirina omutwe, “Ebibuuzo Ebisembayo eby’Okukubaganyaako Ebirowoozo n’Abagenda Okubatizibwa,” ekisangibwa ku lupapula 206-207. Oyo aba agenda okubatizibwa bw’aba nga tannamalako kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!, abakadde basaanidde okumukubiriza okweyongera okuyigirizibwa ekitabo ekyo akimaleko ng’amaze okubatizibwa. Oyo agenda okubatizibwa ategeezebwa nti ennaku z’omwezi kw’anaabatirizibwa zijja kuwandiikibwa ku kaadi ye ey’ekibiina. Alina okujjukizibwa nti abakadde bawandiika ebimu ku bimukwatako ekibiina kya Yakuwa kisobole okweyongera okulabirira omulimu ogw’okubuulira ogukolebwa Abajulirwa ba Yakuwa mu nsi yonna era naye asobole okwenyigira mu bintu eby’omwoyo n’okulabirirwa mu by’omwoyo. Ate era abakadde bategeeza ababuulizi abapya nti ebintu ebibakwatako bikwatibwa mu ngeri etuukana n’amateeka agakuuma ebikwata ku bantu kinnoomu nga bwe kiragibwa ku jw.org. Okukubaganya ebirowoozo ku kitundu kino kulina kutwala ddakiika kkumi zokka oba obutawera.
Nga wayise omwaka gumu ng’omubuulizi amaze okubatizibwa, abakadde babiri basaanidde okutuula naye okumuzzaamu amaanyi n’okumuwa amagezi agasobola okumuyamba okweyongera okukulaakulana mu by’omwoyo. Omu ku bakadde abo alina okuba nga mulabirizi w’ekibinja ky’obuweereza omubuulizi oyo mw’ali. Omubuulizi oyo bw’aba nga mwana muto, abakadde bwe baba boogera naye, muzadde we oba bazadde be basaanidde okubaawo, bwe baba nga Bakristaayo. Abakadde bwe baba boogera n’omubuulizi eyaakamala omwaka nga mubatize, tebasaanidde kumuteeka ku bunkenke. Basaanidde okwogera ku ngeri gy’akulaakulanamu mu by’omwoyo era ne bamuwa ne ku magezi aganaamuyamba okuba n’enteekateeka ennungi ey’okusoma Bayibuli buli lunaku n’okwesomesa, okuba n’okusinza kw’amaka, okubaawo mu nkuŋŋaana obutayosa n’okuzeenyigiramu, awamu n’okubuulira buli wiiki. (Bef. 5:15, 16) Bw’aba nga tannamalako kitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! abakadde basaanidde okukola enteekateeka wabeewo amuyigiriza akimaleko. Abakadde basaanidde okumusiima olw’ebyo by’akola. Bwe baba ba kumuwabula, bayinza okumuwabula ku nsonga emu oba bbiri zokka.