Ebyongerezeddwako
Eri Abazadde:
Tuli bakakafu nti abazadde mwagala okuyamba abaana bammwe okwagala Yakuwa n’okwewaayo gy’ali. Biki bye muyinza okukola okubayamba okutuuka ku ddaala ery’okubatizibwa? Muyinza mutya okumanya nti batuuse okubatizibwa?
Yesu yalagira abagoberezi be ‘okufuula abantu b’omu mawanga gonna abayigirizwa, era bababatize.’ (Mat. 28:19) Ekyo kiraga nti ekisaanyizo ekisooka omuntu ayagala okubatizibwa ky’alina okutuukiriza, kwe kuba omuyigirizwa. Omuntu oyo alina okuba ng’ategeera Kristo bye yayigiriza, ng’abikkiririzaamu, era ng’abikolerako. Ekyo n’abo abakyali abato basobola okukikola.
Abaana bo bateerewo ekyokulabirako ekirungi, era nyiikira okubayigiriza ebyo Yakuwa by’ayagala. (Ma. 6:6-9) Osobola okukozesa ekitabo Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna! okubayigiriza enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako, n’okubayamba okutegeera obulungi emisingi gya Bayibuli n’okugikolerako. Yamba abaana bo babe nga basobola okunnyonnyola ebyo bye bakkiririzaamu. (1 Peet. 3:15) Ebyo by’obayigiriza, nga kw’otadde ne bye bayiga nga beesomesa oba mu kusinza kw’amaka, mu nkuŋŋaana, n’emikwano emirungi, bijja kubayamba batuuke ku kubatizibwa era beeyongere okukulaakulana. Bayambe okweteerawo ebiruubirirwa eby’eby’omwoyo.
Engero 20:11 wagamba nti: “Omwana by’akola bye biraga ki ky’ali, obanga empisa ze nnongoofu era nga nnungi.” Biki ebiyinza okulaga nti omwana, k’abe mulenzi oba muwala, afuuse omuyigirizwa wa Yesu Kristo era nti atuuse okubatizibwa?
Omwana atuuse ku ddaala ery’okubatizibwa alina okuba ng’agondera muzadde we oba bazadde be. (Bik. 5:29; Bak. 3:20) Bayibuli bw’eba eyogera ku Yesu nga wa myaka 12, egamba nti ‘yeeyongera okugondera bazadde be.’ (Luk. 2:51) Kyo kituufu omwana wo tatuukiridde, naye omwana ayagala okubatizibwa alina okuba ng’afuba okukoppa Yesu era ng’agondera bazadde be.
Ate era alina okuba ng’alaga nti ayagala amazima agali mu Bayibuli. (Luk. 2:46) Omwana wo agenda mu nkuŋŋaana nga tawaliriziddwa era azeenyigiramu? (Zab. 122:1) Anyumirwa okusoma Bayibuli n’okwesomesa?—Mat. 4:4.
Omwana atuuse ku ddaala ery’okubatizibwa aba akulembeza Obwakabaka. (Mat. 6:33) Aba akimanyi nti alina okubuulira abalala ku ebyo by’akkiriza. Yeenyigira mu ngeri z’okubuulira ez’enjawulo era tatya kubuulira basomesa be na bayizi banne nti Mujulirwa wa Yakuwa. Bw’aba aweereddwa eky’okukolako mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo, afuba okutegeka obulungi era n’akituukiriza.
Ate era afuba okwewala ebintu ebiyinza okwonoona empisa ze. (Nge. 13:20; 1 Kol. 15:33) Yeegendereza bw’aba alonda ennyimba ez’okuwuliriza, firimu ne programu za ttivi ez’okulaba, era n’engeri gy’akozesaamu Intaneeti.
Abazadde bangi basobodde okuyamba abaana baabwe okunyweza amazima ne batuuka ku ddaala ery’okubatizibwa nga bakyali bato. Yakuwa nammwe k’abasobozese okuyamba abaana bammwe okutuuka ku ddaala eryo ekkulu ennyo.
Eri Omubuulizi Atali Mubatize:
Nkizo ya maanyi okuweereza ng’omubuulizi atali mubatize. Weebale nnyo okufuba okukulaakulana mu by’omwoyo. Okuyiga Bayibuli kukuyambye okumanya Katonda n’okukkiririza mu bisuubizo bye.—Yok. 17:3; Beb. 11:6.
Bwe wali tonnatandika kuyiga Bayibuli na Bajulirwa ba Yakuwa, wayinza okuba nga waliwo eddiini gye walimu, oba oyinza okuba nga tewali mu ddiini yonna. Oyinza n’okuba nga wakolanga ebintu ebikontana n’emisingi gya Bayibuli. Naye wakiraga nti olina okukkiriza bwe weenenya n’olekayo ebintu ebibi bye wali okola, n’omalirira okukola Katonda by’ayagala.—Bik. 3:19.
Ku luuyi olulala, kyandiba nti “okuva mu buwere wamanya ebyawandiikibwa ebitukuvu.” Ekyo kyakuyamba okwewala okwenyigira mu mpisa embi n’okukola ebibi eby’amaanyi. (2 Tim. 3:15) Obadde tokkiriza balala kukupikiriza kukola bintu binyiiza Yakuwa. Okiraze nti olina okukkiriza ng’onywerera ku kusinza okw’amazima era ng’obuulirako abalala by’okkiririzaamu. Otendekeddwa okukola omulimu gw’okubuulira, era kati osazeewo okuweereza Yakuwa ng’omubuulizi atali mubatize.
Ka kibe nti amazima ogayize bukulu oba ng’okulidde mu mazima, oyinza okuba nga kati olowooza okukola ebintu ebirala bibiri ebikulu ennyo—okwewaayo n’okubatizibwa. Okwewaayo eri Yakuwa kitegeeza okwogera naye mu kusaba n’omutegeeza nti ojja kusinza ye yekka emirembe gyonna. (Mat. 16:24) Okubatizibwa kye kiraga nti weewaayo eri Yakuwa. (Mat. 28:19, 20) Bwe weewaayo n’obatizibwa, ofuuka omuweereza wa Yakuwa Katonda atongozeddwa. Eyo nga nkizo ya maanyi nnyo!
Ekiseera ky’omaze ng’oyiga Bayibuli, oteekwa okuba ng’okirabye nti oyinza okwolekagana n’okugezesebwa okutali kumu. Kijjukire nti Yesu bwe yamala okubatizibwa, ‘omwoyo gwamutwala mu ddungu okukemebwa Omulyolyomi.’ (Mat. 4:1) Bw’onoomala okubatizibwa n’ofuuka omuyigirizwa wa Kristo, ojja kwolekagana n’ebigezo ebitali bimu. (Yok. 15:20) Ab’eŋŋanda zo bayinza okugezaako okukulemesa okuweereza Yakuwa. (Mat. 10:36) B’osoma nabo, b’okola nabo, oba abo abaali mikwano gyo bayinza okukusekerera. Ekyo bwe kibaawo, jjukira ebigambo bya Yesu ebiri mu Makko 10:29, 30: “Mazima mbagamba nti, tewali muntu eyaleka ennyumba, baganda be, bannyina, nnyina, kitaawe, abaana, oba ebibanja ku lwange ne ku lw’amawulire amalungi ataliweebwa emirundi 100 mu kiseera kino—amayumba, baganda be, bannyina, bamaama, abaana, ebibanja, awamu n’okuyigganyizibwa—era n’obulamu obutaggwaawo mu nteekateeka y’ebintu egenda okujja.” N’olwekyo, fuba nnyo okwongera okunyweza enkolagana yo ne Yakuwa era n’okutambulira ku mitindo gye egy’obutuukirivu.
Ekiseera bwe kinaatuuka n’oyagala okubatizibwa, tegeeza omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde. Abakadde bajja kukubaganya naawe ebirowoozo nga bakozesa ebibuuzo ebiri mu bitundu ebiddako okulaba obanga otuukiriza ebisaanyizo by’okubatizibwa. Oyinza okutandika okuyita mu bibuuzo ebyo mu kiseera kyo eky’okwesomesa.
Bw’oba oyita mu bibuuzo ebyo, soma ebyawandiikibwa byonna ebiweereddwa era obifumiitirizeeko. Oyinza okubaako by’owandiika mu katabo kano oba awalala. Ebyo by’oba owandiise oyinza okubikozesa ng’oyita mu bibuuzo n’abakadde. Ebimu ku bibuuzo ebyo bwe biba nga bikuzibuwalira okutegeera, osobola okubuuza oyo akuyigiriza Bayibuli oba omu ku bakadde.
Bw’oba otudde n’abakadde ng’oddamu ebibuuzo ebyo, tokitwala nti olina okukozesa ebigambo bingi oba okukunnyonnyola ennyo. Ekisinga obulungi kwe kuddamu ebibuuzo obutereevu era mu bigambo byo. Bw’oba oddamu ebibuuzo, kiba kirungi n’okozesa ekyawandiikibwa kimu oba bibiri okulaga nti ky’ozzeemu kyesigamiziddwa ku Bayibuli.
Abakadde bwe bakiraba nti waliwo enjigiriza za Bayibuli ezisookerwako z’otannaba kutegeera bulungi, bakola enteekateeka wabeewo akuyamba, obe ng’osobola okunnyonnyola ensonga obulungi, ekyo kikusobozese okubatizibwa ku mulundi omulala.
[Eri abakadde: Obulagirizi obw’okugoberera nga mubuuza abo abaagala okubatizibwa ebibuuzo buli ku lupapula 208-212.]