LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 7/05 lup. 2
  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
  • Subheadings
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 11
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 18
  • Wiiki Etandika Jjulaayi 25
  • Wiiki Etandika Agusito 1
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2005
km 7/05 lup. 2

Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza

Wiiki Etandika Jjulaayi 11

Oluyimba 13

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina n’ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Kozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba bituukirawo mu kitundu kyammwe) okulaga ebyokulabirako ku ngeri y’okugabamu Watchtower aka Jjuuni 15 ne Awake! aka Jjuuni 22. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu buli kyakulabirako, laga engeri ey’enjawulo ey’okukwatamu omuntu agamba nti “Sirina biseera.”​—Laba akatabo Reasoning, Emp. 19-20.

Ddak. 17: Okugaba Brocuwa mu Jjulaayi ne Agusito. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku lupapula olw’omunda. Mu bufunze nnyonnyola engeri y’okukozesaamu olupapula olw’omunda era oyogere ne ku kasanduuko akali ku lupapula 3 awamu n’ensonga enkulu eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005, olupapula 8. Yogera ku nnyanjula ezituukirawo mu kitundu kyammwe eziraga engeri y’okugabamu brocuwa ku mulundi gw’osoose okukyalira omuntu. Laga ebyokulabirako ebikwata ku nnyanjula bbiri oba ssatu. Omubuulizi omuto y’aba alaga ekyokulabirako ekimu.

Ddak. 18: “Okubuulira Abantu Bangi nga Bwe Kisoboka.”a Ng’okubaganya ebirowoozo ku katundu 5, mwejjukanye ennyanjula ezituukirawo mu kitundu kyammwe eziri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjuuni 2005 ku lupapula 6.

Oluyimba 64 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 18

Oluyimba 35

Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Mu bufunze yogera ku ebyo ebiri mu Watchtower aka Agusito 15, 2000 ku lupapula 32. Yogera ku miganyulo egiri mu kunywerera ku nteekateeka y’okwesomesa Baibuli buli lunaku ne bwe tuba nga tugenze okuwummulako mu kifo ekirala era nga tetuli mu mirimu gyaffe egya bulijjo.

Ddak. 15: “Okuyamba Abayizi ba Baibuli Okukulaakulana​—Ekitundu 11.”b Laga ekyokulabirako ng’omubuulizi ateekateeka n’omubuulizi omuppya okuddayo eri omuntu eyalaga okusiima. Bejjukanya bye baawandiika omulundi gwe baasooka okukyalira omuntu era ne balondamu kye banaayogerako nga bazzeeyo. Bateekateeka ennyanjula ennyangu era n’ekibuuzo kye banaaleka nga bafundikira. Ekyokulabirako kikomekkerezebwa nga bateekateeka okwegezaamu bye bateeseteese.

Ddak. 20: Yamba Abalala Okutegeera Baibuli. Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza nga kwesigamiziddwa ku katabo Sinza Katonda, ku lupapula 24-5, obutundu 3-6. Kozesa ebibuuzo ebiri mu katabo. Yogera ne ku ebyo ebiri mu brocuwa A Book for All People, ku lupapula 32.

Oluyimba 5 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Jjulaayi 25

Oluyimba 58

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Soma lipoota y’eby’embalirira n’ebbaluwa eraga nti essente ezaaweebwayo ku sosayate zaatuuka. Ng’okozesa ebirowoozo ebiri ku lupapula 8 (bwe biba nga bituukirawo mu kitundu kyammwe), laga engeri y’okugabamu Watchtower aka Jjulaayi 1 ne Awake! aka Jjulaayi 8. Ennyanjula endala ezituukirawo ziyinza okukozesebwa. Mu kimu ku byokulabirako, laga engeri y’okugabamu magazini embagirawo mu katale oba mu kifo ekirala kyonna ekya lukale.

Ddak. 10: Yigiriza Omwana Wo Amazima Agategeere. (Ma. 6:7) Kwogera kw’omukadde nga kwesigamiziddwa ku Watchtower aka Agusito 15, 2002, empapula 30-1. Yogera ku misingi egy’omu Byawandiikibwa egiyinza okuyamba omuzadde alina munne mu bufumbo atali mukkiriza okutendeka abaana.

Ddak. 20: “Ebbanja Lye Tulina eri Abantu.”c Yogera ne ku ebyo ebiri mu Omunaala gw’Omukuumi aka Jjulaayi 1, 2000, ku lupapula 21, akatundu 13.

Oluyimba 37 n’okusaba okufundikira.

Wiiki Etandika Agusito 1

Oluyimba 83

Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi okuwaayo lipoota zaabwe eza Jjulaayi. Saba abawuliriza okubikkula ekitabo Ministry School ku lupapula 70 mukubaganye ebirowoozo ku katundu 1-2 n’akasanduuko akalina omutwe, “How to Comment at Meetings (Engeri y’Okuddamu Ebibuuzo mu Nkuŋŋaana).”

Ddak. 15: “Yamba Abaana Bo Okukulaakulana mu Buweereza.” Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo. Lagayo ekyokulabirako ng’omuzadde n’omwana we bakozesa ennyanjula ennyangu. Omuzadde akomekkereze eky’okulabirako ng’annyonnyola mu bufunze engeri omulimu gwaffe gye guwagirwamu okuwaayo okwa kyeyagalire.

Ddak. 15: Ogezezzaako Okutuukanya Ennyanjula yo n’Embeera Eriwo? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo nga kwesigamiziddwa ku Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2005, ku lupapula 6.  Mwejjukanye ebirowoozo ebyaweebwa era mulage engeri gye muyinza okugabamu ebitabo mu Agusito nga mukozesa ennyanjula etuukana n’embeera. Lagayo ekyokulabirako kimu oba bibiri.

Oluyimba 98 n’okusaba okufundikira.

[Obugambo obuli wansi]

a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma kubaganya ebirowoozo n’abawuliriza ng’okozesa ebibuuzo.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share