Ensigo Zirina Okufukirirwa Okusobola Okukula
1. Kiki ekisaanidde okufukirirwa kisobole okukula?
1 Ensigo ezisigibwa mu nnimiro zirina okufukirirwa okusobola okukula. Mu ngeri y’emu, ensigo ez’amazima ezisigibwa mu mitima gy’abantu abali mu kitundu kye tubuuliramu zirina okufukirirwa. (1 Kol. 3:6) Tulina okukola okuddiŋŋana tufukirire ensigo zino ez’akabonero nga tukozesa Ekigambo kya Katonda bwe tuba twagala zimere, zikule, era zibale.
2. Kiki kye tuyinza okukola ekinaatusobozesa okuddira omuntu?
2 Lekawo Ekibuuzo: Bw’oba oteekateeka ennyanjula yo, lwaki toteekateeka kibuuzo ekisikiriza ky’onoddamu ng’ozzeeyo okukyalira omuntu? Buuza ekibuuzo ekyo ng’omaliriza okwogera n’omuntu ku mulundi gw’osoose okumusisinkana, era kola enteekateeka ey’okumuddira era ofube okugituukiriza. Bangi bakisanze nga kya muganyulo okulonda esonga okuva mu katabo Baibuli Ky’Eyigiriza kwe banaasinziira okulaga omuntu engeri gye tuyigirizaamu Bayibuli.
3. Bintu ki bye tuyinza okuwandiika ng’omuntu gwe tusanze asiimye obubaka bwaffe?
3 Baako ne by’Owandiika: Nga waakamaliriza okwogera n’omuntu ku mulundi gw’osoose okumukyalira, baako ne by’owandiika. Wandiika erinnya lye ne w’abeera. Ate era, kiba kirungi okuwandiika ennaku z’omwezi n’ekiseera kwe musisinkanidde, ensonga gye mwogeddeko, n’ekitabo ky’omulekedde. Akubuulidde eddiini ye? Alina amaka? Ayogedde ku bimusanyusa n’ebimweraliikiriza? Ebintu ng’ebyo bijja kukuyamba okwogera ku nsonga ezinaamusikiriza bw’onooba ozzeeyo okumukyalira. Ate era, wandiika olunaku lwe mukkiriziganyizzaako okuddamu okusisinkana n’ekibuuzo ky’onoddamu.
4. Bwe kituuka ku kukola okuddiŋŋana, lwaki tetusaanidde kulekulira?
4 Tolekulira: Sitaani ajja kufuba nnyo ‘okutwala ekigambo’ ekisigiddwa mu mutima gw’omuntu. (Mak. 4:14, 15) N’olwekyo tolekulira singa enfunda n’enfunda ogenda ew’omuntu eyalaga okusiima n’otomusangayo. Osobola okumuweereza ebbaluwa oba okuleka akabaluwa wansi w’oluggi lwe? Payoniya omu yatandika okuyigiriza omukyala Bayibuli naye n’ataddamu kumusanga waka, n’olwekyo yamuweereza ebbaluwa. Oluvannyuma, mwannyinaffe bwe yamusanga awaka, omukyala yasiima nnyo olw’engeri mwannyinaffe gye yalagamu nti amufaako. Bwe tufukirira ensigo ez’amazima, tusobola okufuna essanyu eriva mu kulaba nga zimera, zikula, era nga ‘zibala ebibala ebikubisaamu emirundi asatu, nkaaga n’ekikumi.’—Mak. 4:20.