Bw’Oba Totera Kusanga Muntu Waka
Waliwo omuntu eyasiima obubaka bwaffe gw’ototera kusanga waka? Oyinza okuba ng’ofubye okumuddira osobole okufukirira ensigo ey’amazima, naye nga tomusanga. (1 Kol. 3:6) Ababuulizi abamu bawandiikira omuntu oyo gwe batasanze waka ebbaluwa oba babaako obubaka obutono bwe bawandiika ne babuleka wansi w’oluggi lw’ennyumba ye. Abalala bwe bamanya nti kiyinza okuba ekizibu okuddamu okusanga omuntu oyo awaka, bamusaba ennamba ye ey’essimu ne bamubuuza obanga bayinza okumukubira, oba okumuweereza mesegi. Bwe tuddira omuntu, bwe tumuweereza mesegi oba e-mail, bwe tumukubira essimu, oba bwe tuleka akabaluwa wansi w’oluggi lwe, tuyinza okubala nti twamuddira. Wadde ng’omuntu oyo tatera kubeera waka, tusobola okweyongera okumuyigiriza amazima.