LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb20 Noovemba lup. 7
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira nga Tukozesa Essimu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira nga Tukozesa Essimu
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
  • Similar Material
  • “Ebiro eby’Okulaba Ennaku”—Tuyinza Tutya Okubyaŋŋanga?
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2001
  • Okuwa Obujulirwa nga Tukozesa Essimu kya Muganyulo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2009
  • Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okulekawo Kye Munaayogerako ng’Ozzeeyo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
  • Bw’Oba Totera Kusanga Muntu Waka
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2020
mwb20 Noovemba lup. 7
Ebifaananyi: Ow’oluganda omuvubuka abuulira n’ow’oluganda ne mwannyinaffe nga bakozesa essimu. 1. Ow’oluganda ayogera ne munnabizineesi ku ssimu. 2. Munnabizineesi awuliriza obubaka bw’ow’oluganda ku ssimu.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okubuulira nga Tukozesa Essimu

LWAKI KIKULU: Okubuulira nga tukozesa essimu y’emu ku ngeri gye tusobola “okuwa obujulirwa mu bujjuvu ku mawulire amalungi.” (Bik 20:24)a Etusobozesa okubuulira abantu be tutasobola kutuukako olw’embeera ezitali zimu.

ENGERI Y’OKUKIKOLAMU:

  • Ow’oluganda y’omu yeeteekerateekera okubuulira ku ssimu ng’anoonya ebyawandiikibwa era ng’abaako by’awandiika mu katabo.

    Weeteeketeeke. Londa ensonga etuukirawo. Oluvannyuma wandiika ensonga enkulu z’oyagala okwogerako. Ate era oyinza okuwandiika mesegi ennyimpimpi eraga ensonga lwaki okubidde omuntu singa aba takutte ssimu yo. Kirungi okutuula ku mmeeza ng’olina by’ogenda okwogera n’eby’okukozesa gamba ng’essimu eriko JW Library® oba jw.org®

  • Ow’oluganda omuvubuka ayamba ow’oluganda akaddiye ng’ayogera n’omuntu ku ssimu.

    Kkakkana. Yogera mu ngeri eya bulijjo. Ssaako akamwenyumwenyu era kozesa ebitundu byo eby’omubiri ng’olinga ayogera n’omuntu akulaba. Weewale okusiriikirira we kiteetaagisa. Kiba kirungi okubuulira ng’oli n’abalala. Omuntu gw’obuulira bw’akubuuza ekibuuzo kiddemu mu ddoboozi eriwulikika, gw’obuulira naye asobole okukuyamba okufuna eky’okuddamu

  • Ow’oluganda omuvubuka aweereza omuntu linki ya vidiyo eri ku jw.org.

    Lekawo kye munaayogerako ku mulundi oguddako. Omuntu bw’alaga okusiima, osobola okulekawo ekibuuzo ky’onoddamu ng’ozzeemu okumukubira essimu. Ate era osobola okumusuubiza nti ojja kumuweereza akatabo ng’okozesa e-mail, mesegi, oba okukamutwalira. Oba osobola okumusuubiza nti ojja kumuweereza vidiyo oba ekitundu eky’okusoma ng’okozesa mesegi oba e-mail. Bwe kiba kituukirawo, mubuulire ku kitundu eky’okuyigirizibwa Bayibuli ekiri ku mukutu gwaffe

a Bwe kiba nga kikkirizibwa mu kitundu kyammwe okubuulira nga tukozesa essimu, osaanidde okugoberera amateeka agakwata ku ngeri y’okukozesaamu ebintu ebikwata ku bantu abalala.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share