“Ebiro eby’Okulaba Ennaku”—Tuyinza Tutya Okubyaŋŋanga?
1 Okuddirira mu by’enfuna, okusalibwako ku mulimu, n’ebbula ly’emirimu bye bigambo ebimanyiddwa ennyo. Wadde abaweereza ba Yakuwa ‘tebali kitundu kya nsi’ eyeeyawudde ku Katonda, balina okubeera mu nsi omuli ebizibu ng’ebyo eby’eby’enfuna. (Yok. 17:15, 16; 1 Kol. 7:31) Olw’okufaayo, abalabirizi abatambula baawandiikirwa ebbaluwa nga basabibwa boogere ku bizibu ab’oluganda bye boolekaganye nabyo, engeri gye babyaŋŋanga, era n’obuyambi n’okubuulirirwa ebyetaagisa.
2 Eri ab’oluganda bangi, okuddirira mu by’enfuna okuliwo kubagguliddewo emikisa mingi egy’okugaziya emirimu gyabwe egy’Ekikristaayo. Ekirungi ennyo, abamu bakozesezza ebiseera byabwe eby’eddembe okukola nga bannakyewa mu programu eriwo ey’okuzimba Kingdom Hall. Abalala beenyigidde mu kukola nga bapayoniya abawagizi era nga bapayoniya aba bulijjo. Omwoyo ogw’okwewaayo kyeyagalire ddala gusanyusa nnyo!
3 Ku luuyi olulala, abamu bakisanze nga kizibu nnyo okusigala nga tebagudde lubege bwe boolekagana n’ebizibu eby’ensimbi. Bonna emitwe gy’amaka Abakristaayo balina obuvunaanyizibwa obw’amaanyi okulabirira obulungi ab’omu maka gaabwe. (1 Tim. 5:8) Naye okweraliikirira engeri y’okufunamu ssente ez’okukola ku byetaago by’omu maka kireeseewo ebizibu mu bufumbo obumu. Ebbula ly’emirimu n’okusalibwako ku mirimu byongedde ku bweraliikirivu, ne kireetera bangi okuwulira nga tebagasa. Eky’ennaku, mu mbeera zino, engeri Omukristaayo gy’atunuuliramu obutali butuukirivu bwa baganda be eyinza obutaba nnungi ne kimuleetera enneewulira embi era n’okuddirira mu buweereza bw’Obwakabaka. Akubiriza bino byonna awatali kubuusabuusa ye mulabe wa Yakuwa omukulu, “katonda ow’emirembe gino,” Setaani Omulyolyomi. Kati olwo, kiki ky’oyinza okukola okukuuma obugolokofu bwo era osigale ng’oli munywevu mu by’omwoyo mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku’?—Nge. 27:11; 2 Kol. 4:4; 2 Tim. 3:1.
4 Eriiso Lyo Likuumire Wamu: Lowooza ku makulu agali mu bigambo bya Yesu: ‘Ettabaaza y’omubiri lye liiso: eriiso lyo bw’olikuumira wamu, omubiri gwo gwonna gunaabanga n’okutangaala.’ (Mat. 6:22) Yee, tulina okubeera n’engeri ey’obulamu obwangu, “ng’amaaso gaffe tugateeka ku biruubirirwa eby’Obwakabaka, ng’ebintu ebirala byonna tubissa mu kifo eky’okubiri.” (The Watchtower aka Jjulaayi 15, 1989, olupapula 14) Kino kisoboka kitya?
5 Mu makumi g’emyaka egiyise, amaka Amakristaayo mangi gasobodde okubeera n’omutindo gw’obulamu omulungi awatali kukuluusana nnyo. N’ekivuddemu, “baganda baffe oluusi kibazibuwalira okumanya kye kitegeeza ‘okubeera n’obulamu obwangu’ nnaddala bwe kiba nti eri abasinga obungi, kibadde tekibeetaagisa kwerekereza ebintu bingi,” bw’atyo omulabirizi omu atambula bw’agamba. Olw’okubeera mu bantu abaagala ennyo okufuna ebintu, abalowooza ennyo ku by’okwesanyusaamu, ab’oluganda bano bakkirizza endowooza yaabwe okwonoonebwa ensi eno ekulembeza eby’amasanyu.
6 Bw’obuulirirwa okubeera mu bulamu obwangu, kiki ky’olowooza? Oboolyawo ogamba nti, bwe weegeraageranya ne baliraanwa bo, obulamu bwo si bwa waggulu nnyo, okusinziira ku ssuubi lyo ery’omu biseera eby’omu maaso. Jjukira ekyokulabirako The Watchtower kye kaawa: “Abakristaayo abagoberera okubuulirira kwa Yesu okusooka okunoonya Obwakabaka beeyongera mu maaso ku sipiidi ennungi mu kweyigiriza Baibuli obutayosa, okubeerawo mu nkuŋŋaana, ne mu buweereza bw’ennimiro. Okweyongera mu maaso ng’okwo bukuumi bwennyini eri obutagwa. Kiyinza okugeraageranyizibwa ku kuvuga akagaali. Abo abaali bagezezzaako okukuuma akagaali akatatambula nga kali busimba bamanyi obukulu bw’okweyongera mu maaso nga katambula. Mu ngeri y’emu, kasita oba nti weeyongera mu maaso ku sipiidi ennungi mu nkola y’emirimu gy’eby’omwoyo, okuumibwa obutagwa lubege n’okugwa.”—Baf. 3:16.
7 Ekifo ky’okulowooza ku ngeri y’okukuumamu omutindo gw’obulamu bwo, lwaki tolowooza ku ngeri gy’oyinza okugonzaamu engeri y’obulamu bwo? Oluvannyuma lw’okutujjukiza okubeera obulindaala, The Watchtower kaatukubiriza obuteerabira nti “bwe tweggyako ebintu ebizitowa byonna kiyinza okutusobozesa okubeera n’ebiseera eby’okuyiga, okweteekerateekera enkuŋŋaana, n’eby’okuyamba abalala. ‘Buli lwe nsendebwa okugula ekintu kye seetaaga, oba okukkiriza omulimu gwe seetaaga, nneekomako bwe nzijukira nti nnina okufuula obulamu bwange obwangu,’ bw’atyo Omukristaayo omusuubuzi bwe yagamba. ‘Ebiseera ebimu nnina okwekubiriza n’amaanyi.’ Okwo si kujjukizibwa kulungi nnyo eri ffe ffenna? Bw’olowooza ku ky’oyagala okukola, oboolyawo okugaziya ennyumba yo oba ekintu ekirala kyonna, lwaki teweebuuza: Kino kinaaba kya muganyulo eri embeera yange ey’eby’omwoyo n’ey’ab’omu maka gange, oba kinaagireetera okuddirira? Mazima ddala nneetaaga ebintu byonna abantu b’ensi bye banoonya, oba nnyinza okubeerawo nga sibirina?” (The Watchtower aka Jjulaayi 15 1989, olupapula 12) Ekyo kye tubadde tumanyiiridde kati kiyinza okuba nga tekikyasoboka mu by’ensimbi, wadde okuba eky’amagezi ng’embeera z’eby’enfuna zigenda zikyukakyuka.
8 Okugula ebintu ebisukkiridde ku mabanja nakyo kireetedde ab’oluganda abamu ebizibu mu by’ensimbi. Okukozesa kaadi ezeeyambisibwa okugula ebintu ku bbanja mu ngeri etali ya magezi nakyo kyongedde ku buzibu. Kisingako obulungi okubeera n’enkola ey’okutereka ensimbi, mu ngeri eyo ojja kubeera n’ezimala okugula ebintu ng’osasulirawo. Mazima ddala, okulindako nga tonnabaako ky’ogula kiyambye bangi okutegeera nti kye baali bategese okufuna, mu butuufu kyali tekyetaagisa.
9 Ssaawo Ekyokulabirako Ekirungi: Gwe kennyini oyinza okubaako bingi by’okola okuyamba ab’omu maka go. Yigiriza abaana bo omuganyulo gw’okukozesa sente mu ngeri esanyusa Yakuwa. Nabo bayambe okubeera ‘n’eriiso eritunula awamu.’ Essira lisse ku kunoonya eby’omwoyo okusinga okunoonya ebintu by’ensi. Jjukira nti, abavubuka bajja kukukoppa. Engeri gye bakozesaamu sente zaabwe eyinza okwoleka engeri gwe kennyini gy’okozesaamu ebintu byo. Weebuuze, Nterekawo ssente ez’okuwaayo eri omulimu gw’Obwakabaka obutayosa? N’obwesigwa ntuukiriza bye nneeyama okuwaayo ssente okulabirira Kingdom Hall, bapayoniya ab’enjawulo, abaminsani, n’omulimu gw’Obwakabaka ogw’ensi yonna? Nnaddala kati nga tugaba ebitabo byaffe mu nkola y’okutona, twagala okukijjukiranga nti obuvunaanyizibwa obusinga obw’okuwagira omulimu gw’ensi yonna buli ku ffe.
10 Bulamu bwa ngeri ki bwe tulaga abaana baffe? Tubakubiriza okufuna ebbanja basobole okwefunira ennyumba eyaabwe ku bwabwe? Tukisemba nti abaakafumbiriganwa balina okufuna ebintu byonna ebikozesebwa awaka ebiri ku mulembe amangu ddala nga bwe kisoboka? Bye twogera bibakubiriza okwenyigira mu buweereza obw’ekiseera kyonna mu myaka gyabwe egisooka egy’obufumbo? Endowooza ezo ziyamba abato okutambuliza obulamu bwabwe ku musingi omunywevu? Okusinziira ku bukulu bw’ebiseera bye tulimu, nga kya magezi nnyo okukubiriza engeri y’obulamu obunywevu mu by’omwoyo era obwangu!—Baf. 1:27.
11 Kozesa Okutegeera mu bya Bizineesi: Mu myezi egyakayita egibaddemu ebizibu mu by’enfuna abo abakuumye obulamu bwabwe nga bwangu basobodde okutuuka ku buwanguzi. Tutegeera obutuufu bw’okulabula kwa Pawulo: “Temulimbibwanga; Katonda tasekererwa; kubanga omuntu kyonna ky’asiga era ky’alikungula.” (Bag. 6:7) Obuzibu bwonna bwe tufuna mu by’ensimbi kati buyinza okuba nga buva ku kulemererwa okukozesa okutegeera. ‘Omuntu alina okutegeera alaba akabi ne yeekweka: naye abatalina magezi bayita buyisi ne bafiirwa.’ (Nge. 22:3) Kati olwo, kiki buli omu ku ffe ky’ayinza okukola okukakasa nti yeeyisa n’okutegeera?
12 Ekyokulabirako kya Yesu kituukirawo bulungi: “Ani ku mmwe bw’aba ng’ayagala okuzimba ennyumba, atasooka kutuula n’abalirira eby’emirimu gyayo oba ng’alina eby’okugimala? Mpozzi bw’aba ng’amaze okuteekawo omusingi bw’atayinza kugimaliriza, bonna abalaba batanula okumusekerera, nga bagamba nti Omuntu ono yasooka okuzimba n’atayinza kumala.” (Luk. 14:28-30) Yee, tuteekwa okubalirira ebikwata ku kye tugenda okukola mu bizineesi. Naye oyinza okubuuza, ani yandisobodde okutegeererawo engeri ebiseera bino gye byandibaddemu ebizibu?
13 Kiki ekyaliwo ennimiro y’omusajja omu omugagga bwe yayaza? Yalowooza nti singa amenya amawanika ge n’azimba amalala agasingawo obunene, yandigambye: “Emmeeme, olina ebintu bingi ebiterekeddwa eby’emyaka emingi; wummula, olye, onywe, osanyuke.” Naye Katonda yamugamba ki? “Musiru ggwe, mu kiro kino emmeeme yo banaagikuggyako; kale ebintu by’otegese binaaba by’ani?” Kiki kye tuyinza okuyigira ku kino? Yesu annyonnyola: “Bw’atyo bw’ali eyeeterekera obugagga, so nga si mugagga eri Katonda.” Kale nno jjukira nti, kikulu okwekkaanya kye tuteekateeka okukola, okusinziira ku ndowooza ya Yakuwa!—Luk. 12:16-21.
14 Omutume Pawulo atuyamba okubeera n’endowooza ennungi bwe yabuulirira Timoseewo: “Naye okutya Katonda wamu n’obutayaayaananga ge magoba amangi; kubanga tetwaleeta kintu mu nsi, kubanga era tetuyinza kuggyamu kintu; naye bwe tuba n’emmere n’ebyokwambala, ebyo binaatumalanga.” (Italiki zaffe.) Weetegereze okulabula Pawulo kwe yagattako: “Naye abaagala okugaggawala bagwa mu kukemebwa ne mu mutego n’okwegomba okungi okw’obusirusiru okwonoona, okunnyika abantu mu kubula n’okuzikirira.”—1 Tim. 6:6-9.
15 Weewale okusaasaanya ennyo ensimbi. Twala ekyokulabirako kya Yusufu ng’ali mu Misiri. Ebiseera bwe byali nga birungi yatereka ebintu. Enkyukakyuka bwe zajjawo, yalina bye yeetaaga era n’okuyamba abalala. N’olwekyo, kola embalirira eneekusobozesa okubeera ne bye weetaaga ng’ebizibu bizze.—Lub. 41:46-57.
16 Saba Obuyambi: Obutali butebenkevu mu by’enfuna obuli mu nsi mazima ddala buyinza okukosa omuntu mu mbeera ye ey’eby’omwoyo. Kati olwo twandikoze ki? Goberera amagezi g’omuyigirizwa Yakobo: “Asabenga . . . Ayitenga abakadde b’ekibiina.” Abakadde b’ekibiina mazima ddala babudaabuda era ne bawa amagezi ag’omuganyulo. “Bamusabirenga,” Yakobo abuulirira, ‘nga bamusiigako amafuta mu linnya lya Yakuwa. N’okusaba okw’okukkiriza kunaawonya omulwadde, ne Mukama waffe alimuyimusa.’—Yak. 5:13-16, NW.
17 Abakadde, mwogere mu ngeri ey’ekisa. Mukulaakulanye engeri ereetera abalala okubassaamu obwesige. Kino kijja kuyamba abennyamivu okubeesiga. Era “mwogere mu ngeri ezzaamu amaanyi.” (1 Bas. 5:14, NW) Tekyetaagisa kuvunaana balala oba okuwakana. Tewali kirungi kiva mu kulumiriza engeri omuntu gy’atakozesezza magezi. Wabula, zimba. Siima obwesigwa. Wa amagezi amalungi. Bayambe okukola embalirira ennungi. We kyetaagisa, bayambe okuzuula obuyambi gavumenti bw’ewa era bayambe okujjuzaamu foomu ebusaba. Kya lwatu, ebizibu by’ensimbi bwe bireka ow’oluganda mu mbeera embi, jjukira obuvunaanyizibwa bwo obw’omu Byawandiikibwa obw’okutuukirira bakadde banno okusalawo buyambi ki obuyinza okumuweebwa.—Yak. 2:15-17.
18 Nga “ekibonyoobonyo ekinene” kisembera era nga n’eby’enfuna by’ensi eno byeyongera okwonooneka, ka fenna tunywerere ku ssuubi lyaffe ery’Obwakabaka! Jjukira ekisuubizo Yakuwa kye yawa Baluki, omuwandiisi wa Yeremiya. Mu kifo ‘ky’okunoonya ebikulu’ kati, amaaso go gasse ku biruubirirwa by’Obwakabaka, kubanga ‘emmeeme yo’, obulamu bwo, Yakuwa bwe yeeyamye okukuuma.—Yer. 45:5; Mat. 24:21, 22.