Okutandika Okuyigiriza Abantu Baibuli, nga Muyimiridde ku Mulyango, ng’Okozesa Essimu oba Okuyitira mu Bbaluwa
1, 2. Tuyinza tutya okutandika okuyiga Baibuli n’abantu abalina eby’okukola ebingi?
1 Leero abantu balina eby’okukola bingi. Kyokka bangi balina ennyonta ey’eby’omwoyo. Tuyinza tutya okubayamba ? (Mat. 5:3) Ababuulizi bangi basobola okuyiga Baibuli n’abantu nga boogera nabo ku miryango, ku ssimu, oba nga bawandiika ebbaluwa. Naawe oyinza okugaziya obuweereza bwo ng’okola bw’otyo?
2 Okusobola okuyigiriza abantu ng’abo Baibuli, tulina okuba abeetegefu okubalaga engeri gye tuyinza okuyigamu nabo. Kino tuyinza kukikola tutya?
3. Lwaki wanditandise okuyiga n’omuntu Baibuli lw’osoose okwogera naye, era kino kiyinza kukolebwa kitya?
3 Nga Muyimiridde ku Mulyango: Bw’osanga omuntu ayagala okunyumya ebikwata ku Baibuli, bikkula ku lupapula awali akatundu ke wategese, gamba ng’essomo erisooka mu brocuwa Atwetaagisa. Soma akatundu ako, mubuuze ekibuuzo era mukubaganye ebirowoozo ku kyawandiikibwa kimu oba bibiri ebijuliziddwa. Kino kiyinza okukolebwa mu ddakiika nga ttaano oba kkumi nga muyimiridde ku mulyango. Omuntu bw’ayagala okumanya ebisingawo, kola enteekateeka oddeyo mukubaganye ebirowoozo ku katundu kamu akaddako oba bubiri.—Ebirowoozo ebirala ebiyinza okukozesebwa mu kutandikirawo okuyigiriza abantu Baibuli biri mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Jjanwali 2002, lup. 6.
4. Bwe tuba tuzzeemu okukyalira abantu, tuyinza tutya okutandika okubayigiriza Baibuli nga tuyimiridde ku miryango?
4 Enkola y’emu eyinza okweyambisibwa okutandika okuyigiriza omuntu Baibuli ng’ozzeeyo okumukyalira. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuwa omuntu brocuwa Atwetaagisa n’omulaga erinnya lya Katonda ng’okozesa essomo 2, obutundu 1-2. Bw’oddamu okumukyalira omulundi omulala muyinza okukubaganya ebirowoozo ku ekyo Baibuli ky’eyogera ku ngeri za Yakuwa, mu butundu 3-4. Ate ku mulundi omulala, muyinza okukubaganya ebirowoozo ku butundu 5-6 n’ebifaananyi ebiri ku lupapula 5 okusobola okumulaga engeri okusoma Baibuli gye kuyinza okutuyamba okutegeera Yakuwa. Bino byonna bisobola okukolebwa nga muyimiridde ku mulyango.
5, 6. (a) Lwaki abantu abamu bayinza okuba nga bandyagadde okuyigirizibwa Baibuli ku ssimu oba okuyitira mu kubawandiikira amabaluwa? (b) Tuyinza tutya okutandika okuyigiriza abantu Baibuli nga tukozesa essimu?
5 Nga Tukozesa Essimu oba nga Tuwandiika Ebbaluwa: Abantu abamu bayinza okuba abeetegefu okuyigira Baibuli ku ssimu okusinga okuyiga nabo maaso ku maaso. Lowooza ku kyokulabirako kino: Mwannyinaffe omu bwe yali ng’abuulira nnyumba ku nnyumba, yasanga omukyala eyalina abaana era ng’alina n’eby’okukola bingi. Mwannyinaffe bwe yalemererwa okuddamu okumusanga awaka, yasalawo okumukubira essimu. Omukyala oyo yamugamba nti talina biseera bya kukubaganya birowoozo ku Baibuli. Mwannyinaffe yamugamba: “Mu ddakiika nga 10 oba 15 oyinza okubaako ekippya ky’oyiga ne bwe kiba ku ssimu.” Omukyala yamuddamu nti: “Kale bwe kiba ku ssimu, awo nja kusobola.” Mu bbanga ttono, baatandika okuyigira ku ssimu obutayosa. Abamu basobodde okufuna abantu be bayigiriza Baibuli okuyitira mu kubawandiikira amabaluwa. Enkola eno ebadde yamuganyulo nnyo naddala eri abo ababeera mu bifo awatali kibiina.
6 Waliwo abamu ku abo b’okyalira oba b’omanyi abandyagadde okuyigira Baibuli ku ssimu oba okuyitira mu kubawandiikira amabaluwa? Osobola okugoberera ekyokulabirako ekyogeddwako waggulu oba oyinza okugamba obugambi omuntu nti: “Bw’oba oyagala, tuyinza okukubaganya ebirowoozo ku Baibuli nga tukozesa essimu. Ekyo tekikwanguyire?” Bwe tutuukanya programu yaffe ey’okuyigiriza abantu Baibuli n’embeera zaabwe, tuyinza okubayamba ‘okufuna okumanya okukwata ku Katonda.’—Nge. 2:5; 1 Kol. 9:23.