LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 12/06 lup. 1
  • Ddayo n’Eri Abo Ababa Balaze Okusiima Okutonotono

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ddayo n’Eri Abo Ababa Balaze Okusiima Okutonotono
  • Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
  • Similar Material
  • Okuddiŋŋana Kuviirako Okufuna Abayizi ba Baibuli
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Yamba Abo ‘Abaagala’
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Kakasa Nti Oddayo!
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2000
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2011
See More
Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2006
km 12/06 lup. 1

Ddayo n’Eri Abo Ababa Balaze Okusiima Okutonotono

1 Bangi ku ffe leero tuli mu mazima kubanga waliwo eyalaba nti tusiima obubaka bw’Obwakabaka era n’akomawo gye tuli, oboolyawo emirundi egiwerako, okukulaakulanya okusiima okwo kwe twalaga. Mu ngeri y’emu naffe tusaanidde okuwulira nga tuvunaanyizibwa okuddayo eri abo bonna ababa balaze okusiima okutonotono. Mazima ddala, omulimu gwaffe ‘ogw’okufuula abantu abayigirizwa’ guzingiramu okuddayo eri abo ababa balaze okusiima.​—Mat. 28:19, 20.

2 Tegeera Abo Abalaze Okusiima: Omuntu ne bw’aba nga takkirizza bitabo byaffe, endabika ye ey’oku maaso, eddoboozi lye oba ebigambo by’akozesa biyinza okulaga nti alina okusiima okutonotono eri obubaka bw’Obwakabaka. Nga tusinziira ku ebyo, tuyinza okuddamu okumukyalira. Ow’oluganda omu alina omuntu gwe yaddiŋŋana okumala wiiki ttaano ez’omuddiriŋŋanwa kyokka n’atasobola kumuwa kitabo kyonna. Bwe yamukyalira omulundi ogw’omukaaga, omuntu oyo yakkiriza ebitabo byaffe era n’atandika okuyiga Baibuli.

3 Bw’olaba nti omuntu alaze okusiima, ddayo mangu, oboolyawo nga waakayita ennaku ntono. Towa ‘mubi’ bbanga kukwakula ekyo ekiba kisigiddwa mu mutima gw’omuntu oyo. (Mat. 13:19) Singa olagaana n’omuntu ekiseera lw’onaddamu okumukyalira, kakasa nti oddayo.​—Mat. 5:37.

4 Mu Kubuulira okw’Oku Nguudo: Ofuba okuddayo eri abo abalaga okusiima b’osanga ng’obuulira embagirawo oba ku nguudo? Ku nkomerero y’emboozi yammwe osobola okugamba nti: “Nnyumiddwa nnyo emboozi yaffe. Nnyinza kukusanga wa tusobole okunyumyamu nate?” Bwe kiba kisaanira, ababuulizi abamu bayinza okusalawo okuwa abo ababa balaze okusiima ennamba zaabwe ez’essimu oba nabo okubasaba ezaabwe. Abantu bwe baba batera okukulaba mu kitundu kye kimu ng’obuulira ku nguudo, tekijja kubazibuwalira kukuwa nnamba zaabwe ez’essimu oba okukubuulira gye babeera. Ne bwe bagaana okukuwa endagiriro zaabwe, osobola okugezaako okubayamba okweyongera okusiima amazima omulundi omulala lw’oba ozzeemu okubasisinkana.

5 Kituwa essanyu bwe tulaba ebimera bye twasimba era ne tufukirira nga bikula bulungi. Mu ngeri y’emu tusobola okufuna essanyu lingi bwe tuddiŋŋana abantu era ne tubayamba okukulaakulana mu by’omwoyo. (1 Kol. 3:6) Kifuule kiruubirirwa kyo okuddiŋŋana abo bonna ababa balaze okusiima okutonotono.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share