Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Twandisinzidde ku ki okulekera omuntu ekitabo?
Ekintu ekikulu ekisinziirwako kwe kuba nti omuntu alaze okusiima. Omuntu bw’alaga okusiima okwa nnamaddala, tuyinza okumulekera magazini bbiri, brocuwa, akatabo, oba ekitabo ekirala kyonna kye tuba tugaba omwezi ogwo. Tusobola okukimuwa ne bw’aba ng’alina ssente ntono oba nga talina ssente za kuwaayo okuwagira mulimu gw’ensi yonna. (Yob. 34:19; Kub. 22:17) Ku luuyi olulala, ebitabo byaffe eby’omuwendo tetwandibirekedde muntu atalaze kusiima.—Mat. 7:6.
Omuntu alaga atya okusiima? Omuntu bw’akkiriza okunyumya naffe, kiba kiraga nti asiima. Okussaayo omwoyo ku ebyo bye tumugamba, okuddamu ebibuuzo bye tuba tumubuuzizza, n’okuwa endowooza ye biba biraga nti ayagala okunyumya naffe. Bw’agoberera nga tumusomera mu Bayibuli, kiba kiraga nti awa Ekigambo kya Katonda ekitiibwa. Emirundi egisinga obungi, kiba kirungi okumubuuza obanga anaasoma ekitabo kye tumuwa. Ababuulizi basaanidde okukozesa amagezi okusobola okumanya omuntu aba alaze okusiima. Okugeza, bw’oba ng’obuulira ku luguudo tekyandibadde kirungi kumala gawa buli muntu aba akuyitako magazini, brocuwa, oba ebitabo ebirala. Singa tuba tulemereddwa okumanya nti omuntu alaze okusiima, kyandibadde kirungi okumulekera akapapula akaaniriza abantu mu nkuŋŋaana zaffe oba tulakiti.
Mu ngeri y’emu, omuwendo gw’ebitabo omubuulizi by’afuna okuva ku mmeeza y’ebitabo gulina kusinziira ku bitabo by’aba yeetaaga okusobola okutuukiriza obuweereza bwe so si ku busobozi bwe obw’okuwaayo okuwagira omulimu gw’ensi yonna. Ssente eziweebwayo teziba za kusasulira bitabo naye ziba za kuwagira ebyo byonna ebikolebwa mu mulimu gw’ensi yonna ogw’okubuulira. Ka tube mu mbeera ki ey’eby’enfuna, okusiima kujja kutuleetera okuwaayo n’omutima gwaffe gwonna mu bwetaavu bwaffe, so si ku bitufikkiridde okuwagira emirimu gy’Obwakabaka. (Mak. 12:41-44; 2 Kol. 9:7) Ate era kijja kutukubiriza okutwala ebitabo ebyo byokka bye twetaaga, ne kiba nti twewala okwonoona ssente ezaakozesebwa mu kukuba ebitabo ebyo.
[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 2]
Ababuulizi basaanidde okukozesa amagezi okusobola okumanya omuntu aba alaze okusiima