Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe Ebyesigamiziddwa ku Baibuli
1, 2. Abantu bangi batwala batya ebitabo byaffe, era kibuuzo ki ekijjawo?
1 Omusajja omu yawandiikira ekitebe ekikulu eky’Abajulirwa ba Yakuwa ng’agamba nti: “Okuviira ddala mu 1965 mbadde nsoma ebitabo byammwe, era bwe mba mbisoma nkebera mu Baibuli. Nkizudde nti ebitabo byammwe bikwatagana bulungi n’ebyo ebiri mu Baibuli. Bulijjo mbadde njagala okumanya amazima agakwata ku Katonda ne Yesu, era awatali kubuusabuusa nfunye eby’okuddamu mu bibuuzo byange okuva mu bitabo byammwe ne mu Baibuli.” Mu bbaluwa y’emu, omusajja oyo yasaba atandike okuyigirizibwa Baibuli.
2 Okufaananako omusajja oyo, abantu bangi nnyo okwetooloola ensi basiima ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli ebikubibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi.’ (Mat. 24:45) Buli mwaka, ebitabo bingi nnyo bikubibwa okusobola okuyamba abantu abeesimbu ‘okutegeerera ddala amazima.’ (1 Tim. 2:4) Tuyinza tutya okukozesa obulungi ebitabo byaffe ebyesigamiziddwa ku Baibuli?
3. Tuyinza tutya okwewala okukozesa obubi ebitabo?
3 Tobikozesa Bubi: Oluvannyuma lw’ekiseera, tuyinza okwesanga nga tulina ebitabo bingi bye tutajja kukozesa. Kiki ekiyinza okutuyamba obutakozesa bubi bitabo byaffe? Kitwetaagisa okukozesa amagezi nga tuggyayo ebitabo eby’okukozesa mu nnimiro. Mu kifo ky’okuggyayo ebitabo ebingi omulundi ogumu, tuyinza okuggyayo kimu oba bibiri oluvannyuma ne tuddayo okufuna ebirala nga biri tumaze okubigaba. Ekyo kijja kutuyamba obutatuuma bitabo bingi mu maka gaffe. Ate era bwe tuba nga tulina magazini nnyingi ze tutannaba kugaba, kyandibadde kirungi okukendeeza ku bungi bwa magazini ze tusaba.
4. Ekibiina kiyinza kukola ki bwe kiba nga kirina ebitabo bingi nnyo?
4 Ekibiina bwe Kiba nga Kirina Ebitabo Bingi: Ekibiina kyammwe bwe kiba nga kirina ebitabo ebimu nga bingi nnyo, omutabaganya ku nsonga ezikwata ku bitabo ayinza okubuuza ku bibiina ebiri mu kitundu kyammwe alabe oba nga biyinza okuweebwa ebimu ku bitabo ebyo. Oba ababuulizi bayinza okubigabira ab’eŋŋanda zaabwe abatali mu mazima, oba abo be bayigiriza Baibuli oba n’abalala. Abapya mu kibiina nabo bayinza okwagala ebimu ku bitabo ebyo.
5. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima ebitabo byaffe?
5 Twagala ebitabo byaffe bituukirize ekigendererwa kyabyo eky’okuyamba abantu abeesimbu okweyongera okuyiga ebikwata ku bigendererwa bya Yakuwa eby’ekitalo. Nga Yesu bw’ataayonoona mmere eyali esigaddewo oluvannyuma lw’okuliisa abantu mu ngeri ey’ekyamagero, naffe twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okukozesa obulungi ebitabo ebituweebwa ebyesigamiziddwa ku Baibuli. (Yok. 6:11-13) Obubaka obuwonya obulamu tebujja kusobola kutuuka ku mitima gy’abantu abaagala obutuukirivu singa ebitabo bisigala mu mayumba gaffe oba mu nsawo zaffe. N’olw’ensonga eyo, tulina okukozesa amagezi nga tuggyayo ebitabo eby’okukozesa mu nnimiro era tubikozese mu ngeri eneeganyula abalala.—Baf. 4:5.