Kozesa Bulungi Ebitabo Byaffe
1. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kya Yesu eky’okusiima ebyo Yakuwa by’atuwa?
1 Yesu bwe yamala okuliisa ekibiina ky’abantu mu ngeri ey’ekyamagero, yalagira bakuŋŋaanye emmere eyali efisseewo. (Mat. 14:19-21) Ekyo Yesu kye yakola, kiraga nti tusaanidde ‘okulaga okusiima’ nga tukozesa bulungi ebyo byonna Yakuwa by’atuwa okuyitira mu “omuwanika omwesigwa.”—Bak. 3:15; Luk. 12:42; Mat. 24:45-47.
2. Tuyinza tutya okwewala okwetuumako magazini?
2 Magazini: Bwe tutagaba magazini, ziyinza okutwetuumako. Bwe kiba nti tutera okufissaawo magazini, tusaanidde okukendeeza ku muwendo gwe tusaba. Ate zo magazini enkadde? Ebyo ebizirimu biba bikyali bya mugaso. Bwe kiba nti tukyalinawo magazini enkadde, oboolyawo omulabirizi w’obuweereza oba omukadde omulala asobola okutuyamba okulaba engeri y’okuzigabamu.
3, 4. Biki bye tusaanidde okulowoozaako nga tuggyayo ebitabo ku Kizimbe ky’Obwakabaka?
3 Ebitabo Ebirala: Bwe kiba nti omwezi oguddako mugenda kugaba kitabo kirala, sooka okebere olabe oba ng’okyalinayo kopi z’ekitabo ekyo eka nga tonnagenda kufuna birala ku kizimbe ky’Obwakabaka. Gyayo ebyo byokka bye weetaaga okukozesa mu wiiki, era ng’omaze okubigaba osobola okuddayo n’ofuna ebirala.
4 Bw’oba ng’oyagala ebitabo ebibyo ku bubwo, lagiriza ebyo byokka bye weetaaga. Wandiika erinnya lyo mu bbanga eriragiddwa mu kitabo ekyo. Ekyo kijja kukuyamba okuzuula ekitabo kyo nga kikubuzeeko. Bw’oba ng’okozesa Watchtower Library eri ku CD-ROM era ng’obadde weeterekera magazini ezizo ku bubwo, kiyinza obutakwetaagisa kulagiriza mizingo gya Watchtower ne Awake!
5. Kiki kye tusaanidde okulowoozaako nga tugaba ebitabo byaffe?
5 Okugaba Ebitabo: Ebitabo byaffe tubiwa abo bokka abalaga okusiima okwa nnamaddala. Kijjukire nti okusingira ddala ffe tuvunaanyizibwa okusasulira ebyo bye tukozesa mu buweereza. Bw’oba ng’owa omuntu ekitabo, teweerabira kumutegeeza nkizo gy’alina ey’okuwagira omulimu gw’ensi yonna ng’awaayo kyeyagalire.
6. Lwaki ebitabo byaffe tubitwala nga bya muwendo nnyo, era kino kituleetera kubikozesa tutya?
6 Yesu yaliisanga abantu emmere ey’omubiri mu ngeri ey’ekyamagero, naye emirundi egisinga obungi yabaliisanga bya mwoyo. Yesu yagamba: “Omuntu taba mulamu na mmere yokka, naye na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Yakuwa.” (Mat. 4:4) Ebitabo byaffe biyigiriza amazima ga Baibuli agasobozesa abantu okufuna obulamu obutaggwaawo. (Yok. 17:3) Olw’okuba bya muwendo nnyo, tetusaanidde kubyonoona!