Mubikozese mu Kifo ky’Okubitereka
Ebibiina bingi birina ebimu ku bitabo ebikadde mu bungi. Lwaki tofunayo ebimu ku bitabo ebyo by’otalina mu tterekero lyo ery’ebitabo? Kyo kituufu nti abamu ku mmwe muyinza okuba nga musobola okukozesa Watchtower Library eri ku ka CD okusoma ebimu ku bitabo ebyo ebikadde. Wadde kiri kityo, waliwo emiganyulo egiva mu kuba n’ebitabo bino mu tterekero lyo. Olina omuyizi wa Bayibuli akulaakulana? Mukubirize okufuna ebitabo bino ebikadde asobole okukola etterekero ly’ebitabo erirye. Akubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda asaanidde okukakasa nti etterekero ly’ebitabo eriri mu Kizimbe ky’Obwakabaka lirimu ebitabo bino. Ebitabo ebyo ebikadde bikyali bya mugaso. Mu kifo ky’ekibiina okubitereka, tekyandibadde kirungi ne tubikozesa!