Enteekateeka Empya Ekwata ku Tterekero ly’Ebitabo mu Kizimbe ky’Obwakabaka
Okumala emyaka mingi, ebibiina okwetooloola ensi biganyuddwa mu kweyambisa etterekero ly’ebitabo eriri mu Kizimbe kyabwe eky’Obwakabaka, edda eryayitibwanga etterekero ly’ebitabo ery’Essomero ly’Omulimu gwa Katonda. Mu kiseera eky’emabega, kyalowoozebwa nti kyali kyetaagisa buli kibiina okubeera n’etterekero lyakyo ery’ebitabo. Kyokka, okuva Ebizimbe by’Obwakabaka bingi kati bwe bikozesebwa ebibiina ebisukka mu kimu, ate ng’ebimu ku byo bikozesa olulimi olugwira, kirabika nti ekisinga obulungi kiri nti buli lulimi lwandibadde n’etterekero limu nga lirimu buli kitabo ekyetaagibwa buli kibiina ekikuŋŋaanira mu buli Kizimbe ky’Obwakabaka. Mu Bizimbe by’Obwakabaka omuli ebisenge ebikuŋŋaanirwamu ebisukka mu kimu, mu buli kisenge mwandibaddemu etterekero ly’ebitabo erya buli lulimi olwogerwa ekibiina ekikuŋŋaaniramu.
Kisuubirwa nti enteekateeka eno ejja kukekkereza ensimbi era n’ekifo. N’ekirala, okugatta awamu amaterekero abiri oba n’okusingawo ag’ebibiina, kirabika kijja kusobozesa okubeera n’amaterekero agasingawo obulungi. Singa amaterekero gano gagattibwa wamu, kopi z’ebitabo ebifaanagana ziyinza okuterekebwa ne zikozesebwa ng’Ebizimbe by’Obwakabaka ebippya bizimbiddwa. Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kibaamu kompyuta ne disiki eriko Watchtower Library, abamu bayinza okukisanga nga kya muganyulo nnyo okugyeyambisa.
Ow’oluganda omu, bwe kiba kisoboka omu ku abo abakubiriza Essomero ly’Omulimu gwa Katonda, yajja okuvunaanyizibwa ku tterekero ly’ebitabo eriri mu buli Kizimbe ky’Obwakabaka. Ajja kuliteekangamu buli kitabo ekyetaagisa era awandiike munda w’eddiba lya buli kitabo okulaga nti kya mu tterekero ly’ebitabo ery’omu Kizimbe ky’Obwakabaka. Waakiri omulundi gumu buli mwaka ajja kukeberanga ebitabo ebiri mu tterekero okukakasa nti tewali kibulamu era nti n’ebitabo ebirimu biri mu mbeera nnungi. Ebitabo eby’omu materekero gano tebirina kufulumizibwa wabweru w’Ekizimbe ky’Obwakabaka.
Bonna abakolagana n’ekibiina beeyongera okusiima etterekero eriri mu Kizimbe ky’Obwakabaka. N’olwekyo, abakadde bajja kwagala okukakasa nti ekibiina kyabwe kisobola okweyambisa etterekero eriri mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Ka tulage nti kinnoomu tusiima enteekateeka eno nga tetwonoona bitabo ebiririmu era nga tubikozesa ‘okuvumbula okumanya okukwata ku Katonda.’—Nge. 2:5.