LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 2/03 lup. 6
  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 2/03 lup. 6

Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda

Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki eya Febwali 24, 2003. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Jjanwali 6 okutuuka ku Febwali 24, 2003. [Eby’okwetegerezebwa: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.​—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]

ENSONGA EZ’OKWOGERAKO

1. Kituufu oba Kikyamu: Ekisobozesa omuntu okusoma obulungi kwe kukakasa nti ebisomebwa biwulikika nga bituufu, wadde nga byawukanako katono ku ebyo ebiri mu buwandiike. Nnyonnyola. [be lup. 83]

2. Jjuzza mu Mabanga: Okusobola okusoma obulungi omuntu alina okusoma ․․․․․․․․, mu ddoboozi eriwulikika. [be lup. 85]

3. Lwaki kikulu okwogera mu ngeri etegeerekeka? (1 Kol. 14:8, 9) [be lup. 86]

4. Bintu ki ebiyinza okuleetera ebigambo obutategeerekeka, era kiki kye tuyinza okukola okusobola okwogera mu ngeri etegeerekeka? [be emp. 87-8]

5. Bigambo ki ebyakozesebwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu myezi ebiri egiyise by’oyagala okugezaako okwatula obulungi? [be lup. 92]

EMBOOZI 1

6. Kituufu oba Kikyamu: Amaaso gaffe gayinza okutuyamba okuwuliriza. Nnyonnyola. [be lup. 14]

7. Jjuzza mu Mabanga: ․․․․․․․․, ․․․․․․․․, ne ․․․․․․․․, bintu Katonda bye yatuwa ebituyamba okutegeera obudde. [si lup. 279 kat. 7]

8. Jjuzza mu Mabanga: Nga bwe kikozesebwa mu Baibuli, ekigambo “olunaku” kiyinza okutegeeza ekiseera kya ssaawa ․․․․․․․․, ssaawa ․․․․․․․․, emyaka ․․․․․․․․, oba ․․․․․․․․, naye ng’ekiba kyogerwako kye kiraga ekiseera ekiba kitegeezebwa. [si lup. 279 kat. 8]

9. Ekyokulabirako kya Kaana, Makko ne Eriya biyinza bitya okutuyamba okwolekagana n’ebintu ebimalamu amaanyi? Tuyinza tutya okukozesa ebyokulabirako bino okuyamba abalala? [w01 2/1 emp. 20-3]

10. Okutegeera ebikwata ku mizannyo egimu egy’omu biseera eby’edda, kiyinza kitya okutuyamba okutegeera ennyiriri za Baibuli ezimu? Ekyo kyandikutte kitya ku bulamu bwaffe? [w01 1/1 emp. 28-31]

OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI

11. Kituufu oba Kikyamu: Okuva Obwakabaka bwa Katonda bwe bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914, tekikyetaagisa kusaba nti, “Obwakabaka bwo bujje.” (Mat. 6:10) Nnyonnyola. [be lup. 279; w96-E 6/1 lup. 31]

12. Kituufu oba Kikyamu: Ebigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 11:24 bitegeeza nti abo Yakuwa be yazikiriza n’omuliro mu Sodomu ne Gomola bajja kuzuukizibwa. Nnyonnyola.

13. Eby’okwerobozaamu: Omuddu omwesigwa era ow’amagezi Yesu gwe yayogerako mu Matayo 24:45-47 ye (a) Akakiiko Akafuzi ak’Abajulirwa ba Yakuwa; (b) Ekibiina ky’Abakristaayo bonna abaafukibwako amafuta abali ku nsi; (c) Yesu Kristo kennyini. Omuddu ono awa emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera ekituufu ab’omu “nnyumba” abakiikirira (a) abaafukibwako amafuta kinnoomu; (b) ab’endiga endala; (c) bonna abasoma ebitabo eby’Ekikristaayo. Mukama waffe yalonda omuddu era n’amusigira ebintu bye byonna mu mwaka (a) 1914; (b) 33 C.E.; (c) 1919. [w93 5/1 lup. 16-18; era laba w90 3/15 lup. 14.]

14. Eby’okwerobozaamu: Ekiragala ekyogerwako mu lugero lwa Yesu oluli mu Matayo 13:47-50 kizingiramu ekibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta ne (a) Obwakabaka bwa Katonda obufugibwa Masiya; (b) bannaabwe ab’endiga endala; (c) Kristendomu.

15. Okusinziira ku bigambo bya Yesu ebiri mu Matayo 5:24, kiki kye wandikoze singa omanya nti musinza muno omukoze ekibi? [g96 2/8 emp. 26-7]

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share