ESSOMO 1
Okusoma Obulungi
EBYAWANDIIKIBWA bigamba nti Katonda ayagala abantu aba buli kika ‘okufuna okumanya okutuufu okw’amazima.’ (1 Tim. 2:4) N’olw’ensonga eyo, abantu abo okusobola okutegeerera ddala amazima, tulina okusoma Baibuli mu ngeri enneetusobozesa okubayamba okutegeera obulungi amazima agagirimu.
Kikulu nnyo abakulu n’abato okusoma Baibuli n’ebitabo ebiginnyonnyola mu ddoboozi eriwulikika. Ng’Abajulirwa ba Yakuwa, tulina obuvunaanyizibwa obw’okutegeeza abalala ebikwata ku Yakuwa n’amakubo ge. Emirundi mingi ekyo kizingiramu okusomera omuntu omu oba ekibiina ky’abantu. Era tusoma mu ngeri ng’eyo mu maka gaffe. Mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda, ab’oluganda bonna, abato n’abakulu, bawabulibwa ne kibayamba okulongoosa mu ngeri gye basomamu.
Okusoma Baibuli mu lujjudde, ka kibe mu buweereza bw’ennimiro oba mu kibiina, kintu ekirina okutwalibwa nga kikulu. Baibuli yaluŋŋamizibwa Katonda. Ate era, “Ekigambo kya Katonda kiramu, era kikozi, . . . era [kisobola] okwawula okulowooza n’okufumiitiriza okw’omu mutima.” (Beb. 4:12) Ekigambo kya Katonda kirimu amazima ag’omuwendo ennyo agatayinza kusangibwa walala wonna. Kiyinza okuyamba omuntu okumanya Katonda omu ow’amazima, okufuna enkolagana ennungi naye, awamu n’okwaŋŋanga ebizibu ebibeerawo mu bulamu. Kiraga engeri omuntu gy’asobola okufuna obulamu obutaggwaawo mu nsi empya eya Katonda. Twandibadde n’ekiruubirirwa eky’okusoma Baibuli obulungi nga bwe kisoboka.—Zab. 119:140; Yer. 26:2.
Engeri y’Okusomamu Obulungi. Waliwo bingi ebizingirwa mu kusoma, naye ekisooka kwe kusoma obulungi. Ekyo kitegeeza okusoma ekyo kyennyini ekiri ku lupapula. Weegendereze oleme okubuuka ebigambo, oba ennukuta ezisembayo ez’ebigambo, oba okubisoma obubi olw’okuba bifaanagana n’ebirala.
Okusobola okusoma obulungi ebigambo, kijja kukwetaagisa okwekkaanya sentensi eziriraanyeewo. N’olwekyo olina okuteekateeka obulungi. Oluvannyuma lw’ekiseera, ng’otandise okutegeera obulungi engeri ebirowoozo gye bikwataganamu, ojja kweyongera okusoma obulungi.
Obubonero obukozesebwa mu kuwandiika olulimi bukulu nnyo. Obubonero obwo buyinza okulaga aweetaagisa okusiriikiriramu ng’osoma, obuwanvu bw’ekiseera eky’okusiriikiriramu, era ne we kyetaagisa okukyusa mu ddoboozi. Mu nnimi ezimu, bw’olemererwa okukyusa mu ddoboozi ng’akabonero bwe kaba kalaze, ekyandibadde ekibuuzo kiba tekikyali kibuuzo oba n’amakulu g’ebigambo ebyo gayinza okukyuka. Yiga engeri obubonero obukozesebwa mu kuwandiika gye bukozesebwamu mu lulimu lwo. Ekyo kye kijja okukusobozesa okusoma mu ngeri ennungi. Kijjukire nti ekiruubirirwa kyo kwe kuggyayo amakulu, so si kusoma busomi bigambo.
Kyetaagisa okwegezaamu bw’oba ow’okusoma obulungi. Sooka osomeyo akatundu kamu, ate kaddemu enfunda n’enfunda okutuusa lw’obeera ng’osobola okukasoma nga tokola nsobi. Bw’okamala genda ku kalala. Mu nkomerero, fuba okusoma empapula eziwerako nga tobuuka bigambo, nga tobiddiŋŋana, oba okubisoma obubi. Oluvannyuma lw’okukola ebyo, saba omuntu akuwulirize ng’osoma, era akutegeeze wa w’okoze ensobi.
Oluusi, obutalaba bulungi n’ekitangaala ekitono biyinza okuleetera omuntu okufuna obuzibu mu kusoma. Singa ebintu ebyo bikolwako, omuntu aba asobola okusoma obulungi.
Oluvannyuma lw’ekiseera, ab’oluganda abasoma obulungi bayinza okusabibwa okusoma mu lujjudde mu Kusoma Ekitabo okw’Ekibiina ne mu Kuyiga okwa Omunaala gw’Omukuumi. Kyokka, okusobola okutuukiriza obuvunaanyizibwa obwo, tekitegeeza kwatula bulungi bigambo kyokka. Okusobola okusoma obulungi mu lujjudde, olina okuyiga engeri ennungi ez’okusoma. Kino kizingiramu okumanya nti buli kigambo mu sentensi kirina omugaso. Toyinza kubuusa maaso bigambo ebimu n’ofuna ekifaananyi ekituufu ku ekyo ekiba kyogerwako. Singa osoma bubi ebigambo, wadde nga weesomera wekka, amakulu tegajja kuvaayo. Okusoma obubi kiyinza okuva ku butassaayo mwoyo ku mateeka agafuga olulimi oba ku bigambo ebirala ebiriraanye awo w’osoma. Fuba okutegeera amakulu ga buli kigambo mu sentensi gy’osoma. Era weetegereze engeri obubonero obuli mu sentensi gye buyinza okukyusaamu amakulu agali mu sentensi. Jjukira nti amakulu gaggibwayo ebigambo ebimu mu sentensi. Weetegereze ebigambo ng’ebyo, kibe nti bw’oba osoma mu ddoboozi eriwulikika, obisomera wamu so si kusoma kigambo kinnakimu. Kikulu nnyo ggwe kennyini okutegeera obulungi by’osoma bw’oba ow’okusomera abalala obulungi.
Pawulo yawandiika bw’ati eri omukadde Omukristaayo eyalina obumanyirivu: ‘Nyiikirira okusoma mu lujjudde.’ (1 Tim. 4:13) Awatali kubuusabuusa ffenna tuyinza okukulaakulana mu kusoma mu lujjudde.