ESSOMO 5
Okusiriikiriramu We Kisaanira
BW’OBA oyogera, kikulu okusiriikiriramu buli lwe kiba kyetaagisa. Okusirikiriramu ng’okwo kwetaagisa k’obe ng’owa emboozi oba ng’oyogera n’omuntu. Bw’otosiriikiriramu, by’oyogera biyinza obutategeerekeka bulungi. Era okusiriikiriramu kusobozesa ensonga enkulu okujjukirwa.
Omanya otya aweetaagisa okusiriikiramu? Wandisiriikiridde kumala bbanga ki?
Siriikiriramu ng’Ogoberera Obubonero Obweyambisibwa mu Kuwandiika. Obubonero obwo bukulu nnyo mu lulimi. Buyinza okulaga nti sentensi ekomye oba nti ky’osoma kibuuzo. Mu nnimi ezimu bukozesebwa okulaga awali ebigambo ebijuliziddwa. Obubonero obumu bulaga engeri ebigambo ebimu mu sentensi gye bikwatagana ne binnaabyo. Oli bw’aba yeesomera yekka, obubonero obuli mu ebyo by’asoma aba asobola okubulaba. Naye bw’aba asomera abalala, eddoboozi lye lirina okwoleka amakulu g’obubonero bwonna obuli mu by’asoma. (Okumanya ebisingawo, laba Essomo 1, “Okusoma Obulungi.”) Singa tosiriikiriramu w’oba osanze obubonero ng’obwo, b’osomera bayinza obutategeera by’osoma era n’amakulu gayinza obutavaayo.
Ng’oggyeko obubonero obwo, engeri ebirowoozo gye bisengekeddwamu mu sentensi nayo esobola okukuyamba okumanya w’osaanidde okusiriikiriramu. Omuyimbi omu omwatiikirivu yagamba: “Si nze nsingayo okukuba piyano. Naye nkizudde nti omuntu bw’asiriikiriramu we kisaanira afuuka mukugu.” N’okwogera bwe kutyo bwe kuli. Bw’osiriikiriramu we kisaanira by’oba oyogera byeyongera okuba ebinyuvu era n’amakulu g’ebyo by’oyogera gajja kuvaayo bulungi.
Nga weetekateeka okusomera abalala, kiba kya muganyulo okulamba mu by’ogenda okusoma. Saza akasittaze mu kifo w’ogenda okusiriikiramu akatono. Saza obusittaze bubiri mu bifo w’ojja okusiriikiriramu akaseera akawanvuko. Bwe wabaawo ebigambo ebikuzibuwalira okusoma era nga bikuleetera n’okusiriikirira we kiteetaagisa buli lw’oba obisoma, birambe. Ddamu okusoma awali ebigambo ebyo. Aboogezi bangi abalina obumanyirivu bakola bwe batyo.
Tekiba kizibu kumanya awakwetaagisa okusiriikiriramu ng’oyogera n’abantu kubanga oba omanyi by’oyagala okubategeeza. Kyokka, singa olina omuze gw’okusiriikiriramu we kiteetaagisiza, by’oyogera tebijja kutegeerekeka. Amagezi agayinza okukuyamba mu nsonga eno osobola okugasanga mu Ssomo 4, “Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira.”
Siriikiriramu ng’Ova ku Nsonga emu Okudda ku Ndala. Bw’oba ogenda ku nsonga endala, okusiriikiriramu akatono kuyinza okuyamba abakuwuliriza okufumiitiriza ku bye waakogera, era n’okutegeera obulungi ensonga eddako. Nga bwe kiri ekikulu omugoba w’ekidduka okukendeeza ku sipiidi ng’agenda okuweta okuva mu luguudo olumu okudda mu lulala era kikulu nnyo n’omwogezi okusiriikiriramu ng’akyusa okuva ku nsonga emu okudda ku ndala.
Emu ku nsonga eziremesa aboogezi abamu okusiriikiriramu nga bava ku nsonga emu okudda ku ndala kwe kuba n’eby’okwogera ebingi. Ate abalala eyo eyinza okuba nga ye ngeri gye boogeramu bulijjo. Oboolyawo n’abantu abalala be babeera nabo boogera mu ngeri y’emu. Kyokka omuntu bw’aba nga bw’atyo bw’ayogera, aba tasobola kuyigiriza bulungi. Bw’oba n’ensonga gy’oyagala abalala bawulire era bajjukire, osaanidde okuwaayo ebiseera ebimala okuginnyonnyola obulungi. Kitegeere nti okusiriikiriramu ng’oyogera kikusobozese okuggyayo obulungi ensonga.
Bw’oba ow’okuwa emboozi nga weeyambisa ensonga enkulu z’owandiise ku lupapula, gitegeke mu ngeri eneekusobozesa okulaba amangu w’olina okusiriikiriramu, ng’ova ku nsonga emu enkulu okudda ku ndala. Emboozi bw’eba ya kusoma busomi, lamba w’oviira ku nsonga emu enkulu okudda ku ndala.
Bw’oba ova ku nsonga emu okudda ku ndala osiriikirira kiwanvuko okusinga bw’osiriikiriramu ng’ogoberera obubonero obweyambisibwa mu kuwandiika, kyokka ate nga tosiriikirira kiwanvu nnyo. Bw’osiriikirira ekiseera ekiwanvu ennyo kiyinza okuwa abalala ekifaananyi nti tewategese bulungi era nti onoonyereza bunoonyereza kya kwogera.
Siriikiriramu ng’Olina ky’Oggumiza. Bw’oba olina ekibuuzo oba ekigambo ky’oyagala okuggumiza osobola okusiriikiriramu nga tonnakyogera oba nga waakakyogera. Bw’osiriikiriramu mu ngeri eyo, kisobozesa abawuliriza okwesunga ky’ogenda okwogera oba okufumiitiriza ku by’oyogedde. Okusiriikiriramu okw’ebika ebyo byombi kuba n’ebigendererwa bya njawulo. Salawo ekika ky’oyagala okukozesa. Jjukira nti okusiriikiriramu ng’olina ky’oyagala okuggumiza wandikweyambisizza ku nsonga nkulu zokka. Bwe kitaba kityo, amakulu g’ensonga ezo gayinza obutavaayo.
Yesu bwe yamala okusoma ekitundu mu kkuŋŋaaniro e Nazaleesi, yeeyambisa enkola eno ey’okusiriikiriramu. Yasoma mu muzingo gwa Isaaya awoogera ku mulimu gwe yaweebwa. Kyokka, nga tannalaga makulu g’ebyo bye yasoma, yazingako omuzingo, n’aguddiza omuweereza era n’atuula. Awo, nga bonna mu kkuŋŋaaniro bamusimbye amaaso, yagamba: ‘Leero ekyawandiikibwa kino kye muwulidde kituukiriziddwa.’—Luk. 4:16-21.
Siriikiriramu ng’Embeera Zikyetaagisa. Era kiyinza okukwetaagisa okusiriikiriramu bwe wabaawo ebitaataaganya. Omwana akaaba oba ebidduka ebiyitawo biyinza okukwetaagisa okusiriikiriramu ng’obadde oyogera n’omuntu gw’osanze mu buweereza bw’ennimiro. Singa ekiba kitaataaganya mu kifo w’oyogerera tekiba kya maanyi nnyo, oyinza okukangula ku ddoboozi ne weeyongera mu maaso okwogera. Naye singa okutaataaganya kuba kwa maanyi ate nga tekusalako, oteekwa okusiriikiriramu. N’abakuwuliriza bajja kuba tebawulira by’oyogera. N’olwekyo, siriikiriramu buli we kyetaagisa osobole okuyamba abakuwuliriza okuganyulwa mu bujjuvu mu ebyo by’obategeeza.
Siriikiriramu ng’Olindirira Okukuddamu. Ka kibe nti abakuwuliriza tekibeetaagisa kubaako bye baddamu ng’owa mboozi, kikulu okubawayo akaseera okweddamu mu birowoozo ebibuuzo by’obabuuza. Singa obuuza ebibuuzo ebyetaagisa abakuwuliriza okulowoolereza naye n’otasiriikiriramu kimala, ebibuuzo ebyo tebijja kuba na makulu.
Kya lwatu, tetusaanidde kusiriikiriramu nga twogera ku platifomu wokka naye era ne bwe tuba tubuulira. Abantu abamu tebasiriikiriramu nga boogera. Ekyo bwe kiba nga kizibu kyo, fuba nnyo okukikolako. Mu ngeri eyo ojja kulongoosa mu ngeri gy’onyumyamu n’abalala era n’engeri gy’obuuliramu. Bw’osiriikiriramu, ojja kusobola okuggumiza ensonga enkulu n’okuyamba abawuliriza okussaayo omwoyo.
Bw’oba onyumya n’omuntu wabaawo okuwaanyisa ebirowoozo. Abantu bajja kukuwuliriza singa naawe obawuliriza nga boogera. Kino kyetaagisa okusiriikiriramu akaseera akamala basobole okuwa endowooza yaabwe.
Nga tuli mu buweereza bwaffe obw’omu nnimiro, okubuulira kuvaamu ebirungi singa tukubaganya ebirowoozo n’abantu. Oluvannyuma lw’okulamusa omuntu, Abajulirwa bangi babuuza ekibuuzo. Basiriikiriramu abeeko ky’addamu, era ne bassaayo omwoyo ng’ayogera. Nga bakubaganya naye ebirowoozo, bamuwa emikisa egiwerako okubaako by’addamu. Bakimanyi bulungi nti okusobola okuyamba omuntu kibeetaagisa okutegeera endowooza ye ku nsonga eba eyogerwako.—Nge. 20:5.
Kya lwatu, abamu tebajja kuddamu mu ngeri nnungi. Naye ekyo tekyalemesa Yesu kuwa bantu mukisa okubaako kye boogera ka babeere abo abaamuziyizanga. (Mak. 3:1-5) Bw’owa omuntu omukisa okwogera, ayinza okwoleka ekiri ku mutima gwe. Ekimu ku bigendererwa by’obuweereza bwaffe kwe kutuuka ku mutima gw’abantu babeeko kye basalawo ku nsonga enkulu ezisangibwa mu Kigambo kya Katonda.—Beb. 4:12.
Kikulu nnyo okusiriikiriramu we kisaanira nga tuli mu buweereza bwaffe. Bwe tusiriikiriramu we kisaanira, bye twogera bitegeerekeka bulungi era bijjukirwa.