ESSOMO 4
Okusoma n’Okwogera nga Tosikattira
BW’OBA osoma mu ddoboozi eriwulikika, osikattira ng’otuuse ku bigambo ebimu? Oba bw’oba owa emboozi, olumu weesanga nti onoonya ebigambo ebituufu eby’okwogera? Bwe kiba bwe kityo, olina ekizibu mu kwogera n’okusoma. Omuntu bw’ayogera era bw’asoma nga tasikattira, ebigambo bye bivaayo bulungi. Kino tekitegeeza nti tasiriikiriramu ng’ayogera, ayogerera ku sipiidi, oba nti tasooka kulowooza ku by’agenda kwogera. By’ayogera biba binyuma okuwuliriza. Okwogera nga tosikattira kiteekebwako nnyo essira mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda.
Ebintu ebitali bimu biyinza okuviirako omuntu okwogera n’okusoma ng’asikattira. Ku nsonga zino wammanga kuliko gye weetaaga okukolako? (1) Obutamanya bigambo bimu. (2) Okusiriikiriramu we kiteetaagisa. (3) Obutategeka. (4) Obutasengeka bulungi by’ogenda kwogera. (5) Okumanya ebigambo ebitono. (6) Okuggumizibwa ebigambo ebingi. (7) Obutamanya mateeka gafuga lulimi.
Wadde abakuwuliriza mu Kizimbe ky’Obwakabaka tebajja kufuluma olw’okuba oyogera ng’osikattira, ebirowoozo byabwe biyinza okuwuguka. N’ekivaamu, bingi ku ebyo by’oyogera bajja kubisubwa.
Ku luuyi olulala, kyetaagisa okwegendereza ne tutayogeza malala, oboolyawo ne kiviirako abakuwuliriza okwesittala. Singa abantu bakitwala nti emboozi yo togiwadde mu bwesimbu, ekyo kiyinza okukulemesa okutuuka ku kigendererwa kyo. Wadde omutume Pawulo yali mwogezi alina obumanyirivu, yatuukirira Abakkolinso “mu bunafu ne mu kutya ne mu kukankana okungi,” mu ngeri eyo n’ategulumiza.—1 Kol. 2:3.
Eby’Okwewala. Abantu bangi balina omuze ogw’okuddiŋŋana ebigambo nga “ah-ah,” oba “mpozzi” nga boogera. Abalala emirundi mingi bakozesa ebigambo “tulaba nti,” “kwe kugamba” oba “okitegedde,” buli lwe baba boogera. Oyinza n’obutamanya nti otera okukozesa bigambo ng’ebyo. Oyinza okwegezaamu emboozi yo nga waliwo akuwuliriza era n’akubuulira buli lw’obyogera. Oyinza okwewuunya emirundi emmeka gy’obikozesa.
Abantu abamu batandika okusoma oba okwogera, kyokka nga tebannamaliriza sentensi baddayo emabega ate ne baddamu bye baba bamaze okwogera.
Ate abalala bwe baba boogera batandika n’ensonga emu ate baba tebannagimalayo, ne batandika ensonga endala. Wadde ng’ebigambo bibadde bivaayo bulungi, omuntu ayinza okutamattama olw’okuba ensonga azikyusa mbagirawo.
Engeri y’Okulongoosaamu. Bwe kiba nti buli kiseera oba onoonya ebigambo ebituufu eby’okwogera, weetaaga okufuba okuyigayo ebigambo ebirala. Weetegereze ebigambo ebippya by’otomanyi mu Omunaala gw’Omukuumi n’ebitabo ebirala by’oyinza okuba ng’osoma. Bikebere mu nkuluze, yiga engeri gye byatulwamu, n’amakulu gaabyo era obigatte ku by’omanyi. Bwe watabaawo nkuluze, saba omuntu amanyi obulungi olulimi akuyambe.
Bwe weemanyiiza okusoma mu ddoboozi eriwulikika kijja kukuyamba okulongoosa mu ngeri gy’osomamu ne gy’oyogeramu. Weetegereze ebigambo ebizibu, era bisome mu ddoboozi eriwulikika emirundi egiwerako.
Okusobola okusoma nga tosikattira, kyetaagisa okutegeera ebigambo ebyetaaga okusomerwa awamu. Emirundi mingi ebigambo byetaaga kusomerwa wamu okusobola okuggyayo ebirowoozo by’omuwandiisi. Weetegereze ebigambo ng’ebyo ebirina okusomerwa awamu. Bwe kiba kinaakuyamba, birambe. Ekiruubirirwa kyo si kusoma busomi bulungi bigambo naye era n’okuggyayo obulungi amakulu. Oluvannyuma lw’okwekkennenya sentensi emu, genda ku eddako okutuusa lw’onoomalako akatundu konna. Weetegereze engeri ebirowoozo gye bikwataganamu. Oluvannyuma weegezeemu ng’osoma mu ddoboozi eriwulikika. Soma akatundu enfunda n’enfunda okutuusa lw’onooba ng’osobola okukasoma nga totamattama oba okusiriikiriramu we kiteetaagisa. Oluvannyuma soma obutundu obulala.
Oluvannyuma, yongera ku sipiidi gy’osomerako. Bw’omala okutegeera engeri ebigambo gye bikwataganamu ne binnaabyo mu sentensi, ojja kusobola okubisomera awamu. Kino kijja kulongoosa nnyo mu ngeri gy’osomamu.
Kiba kirungi okwemanyiiza okusoma nga tosoose kuyitaayita mu by’ogenda okusoma. Ng’ekyokulabirako, nga tosoose kuyisaayisamu maaso, soma ekyawandiikibwa ky’olunaku n’ebikyogerako mu ddoboozi eriwulikika; bw’otyo bw’oba okola buli lunaku. Weemanyiize okusomera awamu ebigambo ebiggyayo amakulu mu kifo ky’okusoma ekimu ekimu.
Bw’oba ow’okwogera nga tosikattira, kikwetaagisa okusooka okulowooza nga tonnayogera. Kola bw’otyo ng’oyogera bulijjo. Manya ensonga z’oyagala okutegeeza abalala era n’engeri gy’oyagala okuzisengekamu; oluvannyuma olyoke otandike okwogera. Yogera mpola mpola. Bw’obaako ensonga gy’onnyonnyola, gimaleyo nga tonnaba kugenda ku nsonga ndala. Kijja kukuyamba singa okozesa sentensi ennyimpimpi.
Bw’oba omanyi ky’oyagala okwogera, ebigambo byo bijja kuvaayo bulungi. Emirundi egisinga, tekikwetaagisa kusooka kulonda bigambo by’ogenda kukozesa. Mu butuufu, ekisinga obulungi kwe kuba ng’omanyi bulungi ensonga z’oyagala okutegeeza abalala, olwo byo ebigambo n’obirowoozaako ng’oyogera. Singa ossa omwoyo ku nsonga z’ogenda okubuulira abalala mu kifo ky’ebigambo by’onookozesa, ebigambo bijja kuvaayo bulungi, era ojja kwogera okuviira ddala ku mutima. Naye kasita otandika okulowooza ku bigambo mu kifo ky’ensonga, ojja kutandika okutamattama. Bw’oneemanyiiza okukola bw’otyo, ojja kusobola okwogera nga tosikattira, ate nga kino kyetaagisa nnyo bwe tuba ab’okusoma obulungi.
Yakuwa bwe yamutuma okumukiikirira eri eggwanga lya Isiraeri ne mu maaso ga Falaawo ow’e Misiri, Musa yawulira nti tasobola. Lwaki? Teyali mwogezi mulungi. (Kuv. 4:10; 6:12) Musa alina bye yeekwasa, kyokka Katonda teyabikkiriza. Yakuwa yatuma Alooni agendere wamu ne Musa ng’omwogezi we, era n’amuyamba okwogera obulungi. Musa yasobola okwogera obulungi eri abantu kinnoomu, ebibinja by’abantu era n’eri eggwanga lyonna. (Ma. 1:1-3; 5:1; 29:2; 31:1, 2, 30; 33:1) Singa okola kyonna ky’osobola okulongoosa mu ngeri gy’oyogeramu ng’eno bwe weesiga Yakuwa, naawe oyinza okwogera mu ngeri eweesa Katonda ekitiibwa.