LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • be essomo 21 lup. 150-lup. 152 kat. 5
  • Okusoma Ebyawandiikibwa ng’Oggumiza Awasaanira

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Okusoma Ebyawandiikibwa ng’Oggumiza Awasaanira
  • Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Similar Material
  • Okuguumiza Ebigambo Ebiggyayo Amakulu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okunnyonnyola Obulungi Ebyawandiikibwa
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Okuggumiza Ensonga Enkulu
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
  • Kubiriza Abalala Okukozesa Baibuli
    Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
See More
Ganyulwa mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda
be essomo 21 lup. 150-lup. 152 kat. 5

ESSOMO 21

Okusoma Ebyawandiikibwa ng’Oggumiza Awasaanira

Kiki ky’osaanidde okukola?

Ggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu. Soma ng’oyoleka enneewulira etuukirawo.

Lwaki Kikulu?

Bw’osoma ebyawandiikibwa ng’oggumiza awasaanira, amakulu agabirimu gavaayo bulungi.

BW’OBA obuulira abalala ku bigendererwa bya Katonda ng’oli mu nnimiro oba ng’owa emboozi ku pulatifomu, by’oyogera bisaanidde okwesigamizibwa ku Kigambo kya Katonda. Kino kizingiramu okusoma obulungi Ebyawandiikibwa.

Okuggumiza Obulungi Kizingiramu Okwoleka Enneewulira. Olina okulaga enneewulira etuukagana n’Ebyawandiikibwa by’oba osoma. Lowooza ku byokulabirako bino. Ng’osoma Zabbuli 37:11, mu ddoboozi eriwulikika, eddoboozi lyo lirina okulaga nti weesunga emirembe egisuubizibwa mu lunyiriri olwo. Bw’oba osoma Okubikkulirwa 21:4, awoogera ku nkomerero y’okubonaabona n’okufa, eddoboozi lyo lisaanidde okulaga nti weesunga ekiseera ekyo eky’ekitalo. Okubikkulirwa 18:2, 4, 5, awatukubiriza okufuluma mu “Babulooni Ekinene,” walina okusomebwa mu ddoboozi eriraga nti kino kirina okukolebwa mu bwangu. Kya lwatu, enneewulira gye twoleka nga tusoma erina okuba ng’etuukirawo bulungi. Enneewulira etuukirawo esinziira ku bigambo by’oba osoma mu kyawandiikibwa era n’amakulu ge kiwa.

Ggumiza Ebigambo Ebituufu. Singa wabaawo ebigambo by’oyagala okussaako essira mu kyawandiikibwa, bisome ng’obiggumiza. Ng’ekyokulabirako, bw’oba osoma Matayo 6:33, tojja kuggumiza bigambo “n’obutuukirivu bwe” oba “ebyo byonna,” bw’onooba oyagala kunnyonnyola kye kitegeeza “okusooka okunoonya obwakabaka.”

Bw’oba olina ekitundu mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, oyinza okwagala okusoma Matayo 28:19. Bigambo ki by’olina okuggumiza? Bw’oba ng’oyagala kukubiriza ab’oluganda okufuna be bayigiriza Baibuli, ggumiza ebigambo “mufuule amawanga gonna abayigirizwa.” Ku luuyi olulala, bw’oba oteekateeka kwogera ku buvunaanyizibwa bw’Omukristaayo obw’okubuulira abagwira amazima ga Baibuli, oba okukubiriza ababuulizi abamu okuweereza mu bitundu awali obwetaavu obusingako, oyinza okuggumiza ebigambo “amawanga gonna.”

Emirundi mingi, ekyawandiikibwa kikozesebwa okuddamu ekibuuzo omuntu ky’aba abuuzizza oba okukakasa ensonga abalala gye bawakanya. Singa oggumiza buli kigambo ekiri mu kyawandiikibwa, abakuwuliriza bayinza okulemererwa okutegeera ensonga gy’oyagala okussaako essira. Ensonga gy’oyagala okubalaga mu byawandiikibwa oyinza okuba nga ggwe ogitegeera bulungi, naye bo bayinza obutagitegeera.

Ng’ekyokulabirako, bw’oba osoma Zabbuli 83:18, mu Baibuli erimu erinnya lya Katonda, n’oggumiza ebigambo “oli waggulu nnyo,” omuntu gw’osomera ayinza obutategeera linnya lya Katonda eriri mu lunyiriri olwo. Olina okuggumiza erinnya “Yakuwa.” Kyokka, bw’oba okozesa ekyawandiikibwa kye kimu okunnyonnyola ebikwata ku bufuzi bwa Yakuwa, olina okuggumiza ebigambo “oli waggulu nnyo.” Mu ngeri y’emu, bw’oba okozesa Yakobo 2:24 okulaga nti kikulu okuba n’okukkiriza okuliko ebikolwa, bw’oggumiza ebigambo “aweebwa obutuukirivu” mu kifo ky’ekigambo “bikolwa,” kiyinza okuleetera abamu ku bakuwuliriza obutakitegeera.

Ekyokulabirako ekirala ekirungi kisangibwa mu Abaruumi 15:7-13. Ennyiriri ezo kitundu kya bbaluwa omutume Pawulo gye yawandiikira ekibiina ekyalimu ab’Amawanga n’Abayudaaya. Mu nnyiriri ezo omutume annyonnyola nti obuweereza bwa Kristo tebuganyula Bayudaaya bakomole bokka naye era buganyula n’ab’Amawanga, ne kiba nti nabo basobola ‘okuwa Katonda ekitiibwa olw’okusaasira.’ Awo Pawulo n’alyoka ajuliza ebyawandiikibwa bina, okulaga nti ab’amawanga balina enkizo eyo. Wandisomye otya ennyiriri ezo okusobola okuggumiza ensonga Pawulo gye yalina mu birowoozo? Osobola okuggumiza ebigambo “ab’Amawanga” mu lunyiriri 9, “mmwe ab’amawanga” mu lunyiriri 10, “mmwe ab’amawanga mwenna” ne “ebika byonna” mu lunyiriri 11, era ne “ab’amawanga” mu lunyiriri 12. Gezaako okusoma Abaruumi 15:7-13 ng’oggumiza ebigambo ebyo. Bw’okola bw’otyo, ensonga Pawulo gye yali annyonnyola etegeerekeka bulungi.

Engeri ez’Enjawulo ez’Okuggumizaamu. Ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu bisobola okuggumizibwa mu ngeri eziwerako. Engeri gy’oggumizaamu erina okuba ng’etuukagana bulungi n’ekyawandiikibwa awamu n’ekigendererwa ky’emboozi. Engeri ezimu ez’okuggumiza ze zino wammanga.

Okukyusakyusa mu ddoboozi osobole okuggyayo amakulu. Kino osobola okukikola ng’oyongeza ku ddoboozi oba ng’olikendeezaako. Mu nnimi nnyingi osobola okweyambisa engeri eno okuggumiza. Naye ate mu nnimi ezimu, ekyo kiyinza okukyusiza ddala amakulu g’ebigambo. Ate era okusobola okuggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu, oyinza okukendeeza ku sipiidi ng’obisoma. Bwe kiba nti mu lulimi lw’oyogera tekisoboka kuggumiza bigambo ebimu mu ngeri eno, kijja kukwetagisa okukozesa engeri endala yonna etera okweyambisibwa mu lulimi olwo okusobola okuggumiza ensonga gy’oyagala.

Okusiriikiriramu. Osobola okusiriikiriramu nga tonnasoma nsonga nkulu eri mu kyawandiikibwa oba oluvannyuma lw’okugisoma, oba oyinza okukola byombi. Okusiriikiriramu nga tonnasoma nsonga nkulu kireetera abakuwuliriza okwekkaanya ekiddako, ate okusiriikiriramu ku nkomerero kiggumiza ebyo ebiba bisomeddwa. Kyokka, bw’osiriikiriramu wano na wali, tewajja kubaawo nsonga evaayo.

Okuddamu ebigambo. Oyinza okuggumiza ensonga enkulu singa oddamu n’osoma ekigambo oba ebigambo ebiggyayo ensonga. Abasinga kye batera okukola, kwe kusoma ekyawandiikibwa kyonna ate oluvannyuma ne baddamu okusoma ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu.

Obubonero. Osobola okukozesa obubonero okuggumiza ebigambo by’oyogera.

Eddoboozi erisaanira. Mu nnimi ezimu, eddoboozi ly’okozesa ng’osoma lisobola okuggyayo amakulu era ne lyawula ebigambo ebimu ku binnaabyo. Kyokka era obwegendereza bwetaagisa, naddala singa ebigambo by’oba osoma biba bikiina.

Omulala bw’Aba nga y’Asomye Ekyawandiikibwa. Nnyinimu bw’aba nga y’asomye ekyawandiikibwa, ayinza okuggumiza ebigambo ebikyamu oba n’obutaggumizayo n’ekimu. Kati olwo wandikoze ki? Kiba kirungi okusooka okunnyonnyola ensonga lwaki ekyawandiikibwa ekyo kisomeddwa. Ng’omaze okuginnyonnyola, oyinza okumulaga ebigambo ebiggyayo amakulu gennyini agali mu kyawandiikibwa.

ENGERI GY’OYINZA OKUYIGA OKUGGUMIZA

  • Bw’oba ogenda okusoma ekyawandiikibwa kyonna, sooka weebuuze: ‘Nneewulira ki eyolesebwa mu bigambo bino? Nnyinza kugyoleka ntya nga nsoma?’

  • Weekenneenye buli kyawandiikibwa ky’oteekateeka okukozesa era weebuuze: ‘Lwaki ŋŋenda kukozesa ekyawandiikibwa kino? Bigambo ki bye nneetaaga okuggumiza okusobola okuggyayo ensonga enkulu?’

EBY’OKUKOLA: (1) Weekenneenye ekyawandiikibwa ky’oteekateeka okukozesa mu buweereza bw’ennimiro. Kisomemu emirundi egiwerako ng’oyoleka enneewulira etuukirawo. Ng’omaze okutegeera engeri gy’oyagala okukikozesaamu, kisome mu ddoboozi eriwulikika ng’oggumiza ebigambo ebiggyayo ensonga gy’oyagala. (2) Ng’okozesa akatabo ke tuyigiririzaamu Baibuli, londamu akatundu kamu akalimu ebyawandiikibwa. Weekenneenye engeri ebyawandiikibwa gye bikozeseddwamu. Saza ku bigambo ebiggyayo ensonga enkulu. Soma akatundu konna mu ddoboozi eriwulikika ng’oggumiza awali ebigambo ebiggyayo ensonga enkulu mu byawandiikibwa.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share