ESSOMO 7
Okuggumiza Ensonga Enkulu
OMUSOMI omulungi talowooza ku sentensi eyo yokka gy’aba asoma oba akatundu mw’eri. Wabula, alowooza ne ku nsonga enkulu eziri mu kitundu ky’aba asoma. Ekyo kimuyamba okumanya wa w’alina okuggumiza.
Singa ekyo takikola, ensonga enkulu tezijja kweyoleka bulungi ng’asoma. Ate era bw’aba amalirizza okusoma, kiyinza okuzibuwalira abawuliriza okujjukira ensonga enkulu ezibaddemu.
Okuggumiza ensonga enkulu kisobozesa amakulu g’ekyawandiikibwa ekiba kisomebwa okuvaayo obulungi. Ate era amakulu gajja kuvaayo bulungi singa tuggumiza ensonga enkulu nga tusoma obutundu mu katabo nga tuyigiriza omuntu Baibuli oba nga tuli mu nkuŋŋaana z’ekibiina. Kikulu nnyo okuggumiza ensonga enkulu ng’owa emboozi ey’okusoma obusomi, gamba ng’ezo eziweebwa ku nkuŋŋaana zaffe ennene.
Engeri y’Okuggumizaamu. Mu ssomero ly’omulimu gwa Katonda, oyinza okuweebwa ekitundu eky’okusoma okuva mu Baibuli. Kiki ekirina okuggumizibwa? Bwe wabaawo ensonga enkulu okwesigamiziddwa ebyo by’ogenda okusoma, kiba kirungi okugiggumiza obulungi ng’osoma.
Ka kibeere nti ogenda kusoma kitontome, lugero oba ekintu ekirala, abakuwuliriza bajja kuganyulwa nnyo singa osoma bulungi. (2 Tim. 3:16, 17) Okusobola okusoma obulungi olina okulowooza ku kitundu ky’ogenda okusoma era n’abakuwuliriza.
Bw’oba ng’ogenda kusoma obutundu mu katabo ng’oyigiriza omuyizi wa Baibuli oba mu lukuŋŋaana lw’ekibiina, nsonga ki enkulu z’olina okuggumiza? Eby’okuddamu mu bibuuzo by’oba otwala ng’ensonga enkulu ezeetaaga okuggumizibwa. Ate era ggumiza ensonga ezikwatagana n’emitwe emitono egiri mu kitundu ky’osoma.
Tekiba kirungi okusoma obusomi buli mboozi gy’owa mu kibiina. Kyokka, obw’olumu, emboozi ez’okusoma obusomi ziweebwa mu nkuŋŋaana ennene, abawuliriza ne basobola okufuna obubaka bwe bumu ddala mu nkuŋŋaana zonna ennene. Okusobola okuggumiza ensonga enkulu mu mboozi ng’eyo, omwogezi alina okusooka okugiyitamu n’obwegendereza. Nsonga ki enkulu ezigirimu? Alina okuzitegeera. Ensonga enkulu si bye bintu ye by’awulira nti bimusanyusa. Wabula bye birowoozo ebikulu emboozi yonna kwe yeesigamiziddwa. Emirundi egimu ensonga enkulu mu mboozi ez’okusoma obusomi y’eyanjula ebigenda okuttottolebwa. Emirundi egisinga, ensonga enkulu zirambikibwa oluvannyuma lw’okuwa obujulizi obuziwagira. Oluvannyuma lw’okutegeera we ziri, omwogezi asaanidde okuzisazaako. Zitera kuba ntono, nga tezisukka nnya oba ttaano. Kati olwo aba alina okwegezaamu, ng’asoma mu ngeri eneesobozesa abawuliriza okuzitegeera. Awo we ziri walina okweyoleka obulungi. Singa awa emboozi ng’aggumiza awali ensonga enkulu, abawuliriza tebajja kuzeerabira. Omwogezi yandibadde n’ekiruubirirwa ekyo.
Waliwo engeri nnyingi omwogezi gy’ayinza okuggumizaamu by’asoma ne kisobozesa abawuliriza okutegeera ensonga enkulu. Ayinza okwongeramu ebbugumu, okukyusa ku sipiidi gy’ayogererako, okwoleka enneewulira etuukana n’ebigambo by’asoma, okukozesa obubonero obutuukirawo, oba okukozesa n’engeri endala nnyingi.