LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 11 lup. 116-122
  • Ebifo Mwe Tusinziza

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Ebifo Mwe Tusinziza
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EKIZIMBE KY’OBWAKABAKA
  • OKUZIMBA EBIZIMBE BY’OBWAKABAKA
  • EBIZIMBE EBITUUZA ENKUŊŊAANA ENNENE
  • Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu
    Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 11 lup. 116-122

ESSUULA 11

Ebifo Mwe Tusinziza

ABAWEEREZA ba Yakuwa baalagirwa okukuŋŋaananga awamu basobole okuyigirizibwa n’okuzziŋŋanamu amaanyi. (Beb. 10:23-25) Ekifo abantu ba Katonda Abayisirayiri kye baasooka okusinzizaamu ye “weema entukuvu, kwe kugamba, weema ey’okusisinkaniramu.” (Kuv. 39:32, 40) Nga wayiseewo ekiseera, Sulemaani mutabani wa Dawudi yazimba ennyumba, oba yeekaalu, eyali eweesa Katonda ekitiibwa. (1 Bassek. 9:3) Yeekaalu eyo bwe yazikirizibwa mu 607 E.E.T., Abayudaaya baatandika okusinziza Katonda mu makuŋŋaaniro. Bwe waayitawo ekiseera, yeekaalu yaddamu okuzimbibwa, era n’eddamu okuba entabiro y’okusinza okw’amazima. Yesu yayigiririzanga mu makuŋŋaaniro ne mu yeekaalu. (Luk. 4:16; Yok. 18:20) Lumu yakuba n’olukuŋŋaana ku lusozi.​—Mat. 5:1–7:29.

2 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Abakristaayo baakuŋŋaaniranga mu bifo ebya lukale ne mu maka g’ab’oluganda okuyigiriza Ekigambo kya Katonda n’okubeerako awamu ne bakkiriza bannaabwe. (Bik. 19:8, 9; Bar. 16:3, 5; Bak. 4:15; Fir. 2) Emirundi egimu baakuŋŋaaniranga mu bifo ebyesudde okwewala abantu abaali babayigganya. Mazima ddala, abaweereza ba Katonda ab’edda baafubanga nnyo okukuŋŋaana awamu basobole ‘okuyigirizibwa Yakuwa.’​—Is. 54:13.

3 Ne leero, Abakristaayo oluusi bakuŋŋaanira mu bifo ebya lukale ne mu maka g’ab’oluganda. Amaka g’ab’oluganda gatera n’okubaamu enkuŋŋaana z’okugenda okubuulira. Ab’oluganda abawaayo amaka gaabwe okubaamu enkuŋŋaana ng’ezo bagitwala nga nkizo ya maanyi. Bangi baganyuddwa nnyo mu by’omwoyo olw’okukkiriza ab’oluganda okukuŋŋaanira mu maka gaabwe.

EKIZIMBE KY’OBWAKABAKA

4 Ekifo ekikulu Abajulirwa ba Yakuwa mwe bakuŋŋaanira kye Kizimbe ky’Obwakabaka. Emirundi egisinga obungi, ab’oluganda bagula ettaka ne bazimbako Ekizimbe ky’Obwakabaka oba ne baddaabiriza ekizimbe kye basanzeeko. Okusobola okukekkereza ssente era n’okukozesa ebizimbe byaffe mu bujjuvu, Ekizimbe ky’Obwakabaka kimu kiyinza okukozesebwa ebibiina ebiwerako. Mu bitundu ebimu, ab’oluganda bapangisa ekizimbe mwe bakuŋŋaanira. Ekizimbe ky’Obwakabaka ekipya bwe kizimbibwa oba ekyo ekibadde mu mbeera embi ennyo bwe kiddaabirizibwa, kiba kisaanidde okuweebwayo eri Yakuwa. Kyokka, singa Ekizimbe ky’Obwakabaka ekiba kiddaabiriziddwa kiba tekibadde mu mbeera mbi nnyo, kiba tekyetaagisa kuddamu kukiwaayo eri Yakuwa.

5 Ebizimbe by’Obwakabaka tebisaanidde kuba bizimbe biwuniikiriza bantu. Wadde ng’enzimba yaabyo eyinza okwawukana okusinziira ku kifo mwe biba bizimbiddwa, ekikulu kwe kuba nti tusobola okubikuŋŋaaniramu. (Bik. 17:24) Ekizimbe ky’Obwakabaka kisaanidde okuba nga kituukagana n’embeera y’omu kitundu era nga kisaanira okubaamu enkuŋŋaana z’Ekikristaayo.

6 Ab’oluganda mu kibiina bawaayo ssente ezikozesebwa okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka mwe bakuŋŋaanira, n’okukola ku bintu ebirala. Mu Kizimbe ky’Obwakabaka tewabaawo kusolooza ssente, wabula mubaamu akasanduuko abo ababa bazze mu nkuŋŋaana mwe basobola okuteeka ssente. Buli omu awaayo kyeyagalire era n’omutima gwe gwonna.​—2 Kol. 9:7.

7 Ab’oluganda bonna mu kibiina bagitwala nga nkizo okuwaayo ssente ezikozesebwa mu kuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka, n’okukiddaabiriza. Obuvunaanyizibwa obw’okukola enteekateeka ey’okuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka butera kuweebwa mukadde oba muweereza. Okutwalira awamu, ebibinja by’obuweereza bye biyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka, era omulabirizi w’ekibinja oba omuyambi we be batwala obukulembeze mu kino. Ekizimbe ky’Obwakabaka kirina okuba nga kirabika bulungi munda n’ebweru, kisobole okuweesa Yakuwa n’ekibiina kye ekitiibwa.

Ab’oluganda bonna mu kibiina bagitwala nga nkizo okuwaayo ssente ezikozesebwa mu kuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka, n’okukiddaabiriza

8 Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba nga kikuŋŋaaniramu ebibiina ebisukka mu kimu, abakadde b’omu bibiina ebyo bassaawo Akakiiko Akalabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka, okukwanaganya ensonga ezikwata ku kizimbe ekyo. Ate era balonda ow’oluganda okuba omukwanaganya w’akakiiko ako. Ab’oluganda abali ku Kakiiko Akalabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka bakolera ku bulagirizi bw’obukiiko bw’abakadde okukakasa nti Ekizimbe ky’Obwakabaka kiyonjebwa era nti kiddaabirizibwa, ssaako n’okulaba nti ebikozesebwa okukiyonja weebiri. Kino kyetaagisa ebibiina byonna ebikuŋŋaanira mu kizimbe ekyo okukolera awamu.

9 Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba nga kikuŋŋaaniramu ebibiina ebisukka mu kimu, buli luvannyuma lwa kiseera ebibiina ebyo biyinza okukyusa ebiseera by’enkuŋŋaana. Abakadde basaanidde okukola enteekateeka eyo mu ngeri eraga nti bafaayo ku baganda baabwe. (Baf. 2:2-4; 1 Peet. 3:8) Tewali kibiina kisaanidde kusalirawo bibiina birala mu nsonga eyo. Omulabirizi w’ekitundu bw’akyalira ekimu ku bibiina ebikuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekyo, ebibiina ebirala biyinza okukyusa mu biseera by’enkuŋŋaana zaabyo eza wiiki eyo.

10 Ekizimbe ky’Obwakabaka kiyinza okukozesebwa okugattiramu abagole oba okuweeramu emboozi eweebwa ku mukolo gw’okuziika. Kyokka, Akakiiko k’Obuweereza kalina okusooka okuwa olukusa. Abakadde abali ku kakiiko ako beekenneenya okusaba kw’abo ababa baagala okukozesa ekizimbe ekyo, era ne basalawo nga bagoberera obulagirizi obubaweebwa ofiisi y’ettabi.

11 Abo ababa bakkiriziddwa okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka baba basuubirwa okweyisa mu ngeri eraga nti Bakristaayo ab’amazima. Tebasaanidde kukola kintu kyonna mu Kizimbe ky’Obwakabaka ekiyinza okwesittaza ab’oluganda oba okuleeta ekivume ku linnya lya Yakuwa n’ekibiina kye. (Baf. 2:14, 15) Okusinziira ku bulagirizi obuba buweereddwa okuva ku ofiisi y’ettabi, Ekizimbe ky’Obwakabaka era kiyinza okukozesebwa mu ngeri endala, gamba ng’okubaamu Essomero ly’Obuweereza bw’Obwakabaka oba Essomero lya Bapayoniya.

12 Ab’oluganda mu kibiina basaanidde okukiraga nti ekifo we bakuŋŋaanira bakiwa ekitiibwa. Engeri gye twambalamu ne gye twekolako, awamu n’enneeyisa yaffe bisaanidde okuba nga biweesa Yakuwa ekitiibwa. (Mub. 5:1; 1 Tim. 2:9, 10) Bwe tukolera ku kubuulirira okutuweebwa ku nsonga eno, kiba kiraga nti enkuŋŋaana z’Ekikristaayo tuzitwala nga nkulu.

13 Enkuŋŋaana bwe ziba zigenda mu maaso, kikulu nnyo ne watabaawo bizitaataaganya. Kiba kirungi abaana ne batuula ne bazadde baabwe. Abazadde abalina abaana abato bayinza okusabibwa okutuula mu bifo we batajja kutaataaganyiza balala bwe baba beetaaga okufulumya abaana ebweru okubakangavvula, oba okukola ku byetaago byabwe ebirala.

14 Ab’oluganda abatuukiriza ebisaanyizo baweebwa obuvunaanyizibwa obw’okwaniriza ababa bazze mu nkuŋŋaana. Basaanidde okuba obulindaala, okwoleka omukwano, era n’okukozesa amagezi. Obuvunaanyizibwa bwabwe buzingiramu okwaniriza abapya ababa bazze n’okubafaako, okuyamba ababa batuuse ekikeerezi okufuna aw’okutuula, n’okubala abazze mu nkuŋŋaana. Bwe kiba kyetaagisizza, abaaniriza abagenyi bajjukiza abazadde okufaayo ku baana baabwe baleme kuzannyira ku pulatifoomu, oba okuddukira mu Kizimbe ky’Obwakabaka ng’enkuŋŋaana tezinnatandika oba nga ziwedde. Bwe wabaawo omwana ataataaganya, omu ku baaniriza abagenyi ayinza okwogerako ne muzadde we mu ngeri ennungi n’amugamba amufulumye ebweru aleme kuwugula bawuliriza. Ebyo abaaniriza abagenyi bye bakola bisobozesa buli omu okunyumirwa enkuŋŋaana. Kiba kirungi okukozesa abakadde n’abaweereza okwaniriza abagenyi.

OKUZIMBA EBIZIMBE BY’OBWAKABAKA

15 Mu kyasa ekyasooka, Abakristaayo abamu baali bulungi mu by’enfuna okusinga abalala. Eyo ye nsonga lwaki omutume Pawulo yabagamba nti: “Olw’okwenkanankana, bye mulina ebisukka ku bye mwetaaga bikole ku bwetaavu bwabwe, nabo bye balina ebisukka ku bye beetaaga bikole ku bwetaavu bwammwe, wasobole okubaawo okwenkanankana.” (2 Kol. 8:14) Ne leero, enkola eyo y’egobererwa. Ssente eziweebwayo ebibiina okwetooloola ensi yonna zikuŋŋaanyizibwa wamu ne zikozesebwa mu kuzimba n’okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka. Ab’oluganda mu nsi yonna abooleka omwoyo ogwo omugabi basiimibwa nnyo ekibiina kya Yakuwa n’ab’oluganda abali mu bibiina ebiganyulwa mu ssente ezo.

16 Ofiisi y’ettabi y’esalawo Ebizimbe by’Obwakabaka ebibiina eby’enjawulo mwe birina okukuŋŋaanira. Ate era ofiisi y’ettabi y’esalawo ddi na wa awanaazimbibwa Ekizimbe ky’Obwakabaka ekipya, era y’esalawo ebizimbe ebirina okuddaabirizibwa mu kitundu ky’erabirira. Akatyabaga bwe kagwawo, enteekateeka zikolebwa okuddaabiriza Ebizimbe by’Obwakabaka ebiba byonoonese, era oluusi n’okuddaabiriza ennyumba z’ab’oluganda.

17 Ofiisi y’ettabi efuna bannakyewa okuyambako mu kugula ettaka, okukuba pulaani z’Ebizimbe by’Obwakabaka, okufuna olukusa olw’okuzimba, okubizimba, n’okubiddaabiriza. Olw’okuba Ebizimbe by’Obwakabaka byetaagibwa mu nsi nnyingi, bannakyewa bangi beetaagibwa. Ababuulizi bonna ababatize abatuukiriza ebisaanyizo era abaagala okuyambako mu mulimu gw’okuzimba, bakubirizibwa okujjuzaamu foomu esaba okuweereza nga bannakyewa bagiwe Akakiiko k’Obuweereza ak’ekibiina kyabwe. N’ababuulizi abatali babatize bayinza okuyambako mu kuzimba oba okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka eky’ekibiina mwe bali.

EBIZIMBE EBITUUZA ENKUŊŊAANA ENNENE

18 Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka baateranga kukuŋŋaana nga bali mu bibinja bitonotono, kyokka oluusi baakuŋŋaananga “abantu bangi.” (Bik. 11:26) Mu ngeri y’emu, abantu ba Yakuwa leero baba n’enkuŋŋaana ennene ez’olunaku olumu n’ez’ennaku essatu. Batera okupangisa ebifo mwe bafunira enkuŋŋaana ezo. Naye bwe watabaawo bifo bya kupangisa oba ng’ebiriwo si birungi, bayinza okuzimba Ekizimbe Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene, oba bayinza okukigula.

19 Oluusi ekizimbe kigulibwa ne kiddaabirizibwa, era ne kikozesebwa ng’Ekizimbe Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene. Kyokka emirundi egisinga obungi, ettaka ligulibwa era ekizimbe ekipya ne kizimbibwa. Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene tebyenkanankana, era ng’obunene bwabyo businziira ku bwetaavu obubaawo mu kitundu. Ofiisi y’ettabi bw’eba tennasalawo kugula oba kuzimba kizimbe ng’ekyo, esooka kubalirira ssente ezeetaagibwa era n’erowooza ne ku bwetaavu obuliwo.

20 Ofiisi y’ettabi eronda ab’oluganda okulabirira Ekizimbe Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene. Enteekateeka zikolebwa Ekizimbe Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene ne kiyonjebwa buli lwe wabaayo olukuŋŋaana olunene, buli luvannyuma lw’emyezi mukaaga, era n’okukiddaabiriza buli lwe kiba kyetaagisa. Kiba kirungi nnyo ab’oluganda bwe beewaayo okukola emirimu egyo. N’olwekyo, ababuulizi bakubirizibwa okuwagira enteekateeka ezo n’omutima gwabwe gwonna.​—Zab. 110:3; Mal. 1:10.

21 Ate era oluusi, Ebizimbe Ebituuza Enkuŋŋaana Ennene biyinza okukozesebwa mu ngeri endala, gamba ng’okubaamu amasomero g’ekibiina kya Yakuwa n’enkuŋŋaana ez’enjawulo ez’abalabirizi b’ebitundu. Okufaananako Ebizimbe by’Obwakabaka, ebizimbe ebyo tubikuŋŋaaniramu okusinza Yakuwa. N’olwekyo, bwe tuba tuli mu Kizimbe Ekituuza Enkuŋŋaana Ennene, empisa zaffe, ennyambala yaffe, n’engeri gye twekolako, bisaanidde okuba nga biweesa Yakuwa ekitiibwa.

22 Abantu bangi beeyongera okwegatta ku kibiina kya Yakuwa mu nnaku zino ez’enkomerero. Ekyo kiraga nti Yakuwa awa ekibiina kye omukisa. (Is. 60:8, 10, 11, 22) N’olwekyo, tusaanidde okuwagira enteekateeka ez’okufuna ebifo ebirungi eby’okusinzizaamu n’okubirabirira obulungi. Bwe tukola bwe tutyo, tuba tulaga nti tusiima enteekateeka ez’okuzimba ebizimbe mwe tukuŋŋaanira okusobola okuzziŋŋanamu amaanyi, naddala mu kiseera kino ng’olunaku lwa Yakuwa lusembedde.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share