Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Biki bye tusaanidde okukola okukakasa nti wabaawo obukuumi obumala ku Kizimbe ky’Obwakabaka?
Olw’okuba tuli mu biseera ebizibu, tusaanidde okukakasa nti wabaawo obukuumi obumala ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Nga bwe tufuba okulaba nti amaka gaffe gabaamu obukuumi obumala, tusaanidde okufaayo ne ku Kizimbe kyaffe eky’Obwakabaka. Buvunaanyizibwa bw’abakadde okukakasa nti wabaawo obukuumi obumala ku Kizimbe ky’Obwakabaka. Ensonga eno nkulu nnyo kubanga mu nsi ezitali zimu waliwo ebintu ebyonooneddwa oba ebibbiddwa ku bizimbe by’Obwakabaka.
Bwe muba mumaze okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, kikulu nnyo okuggala obulungi amadirisa, enzigi, awamu ne geeti. Obuvunaanyizibwa obwo busaanidde okuweebwa ab’oluganda abeesigika, era ebyo basaanidde okubikola ne bwe waba wabaddewo embaga ku Kizimbe kyammwe eky’Obwakabaka oba okuyonja.
Bwe muba mulina we musimba ebidduka, walina okubaawo ekitangaala ekimala ng’obudde buzibye. Ekyo kiyamba ab’oluganda obutafuna bisago nga bava ku Kizimbe ky’Obwakabaka era kiyinza okulemesa ababbi okubba ebidduka. Mu bibiina ebimu enkuŋŋaana bwe ziba zigenda mu maaso abo abaaniriza abagenyi bafuluma mu mpalo ne bakebera awasimbibwa ebidduka okukakasa nti tebibbibwa era nti tebyonoonebwa.
Mu nsi ezimu, ab’oluganda baba balina okusiba enzigi ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso. Bwe kiba kibeetaagisa okukola bwe mutyo, ab’oluganda abaaniriza abagenyi basaanidde okubeera ku mulyango ekiseera kyonna okukakasa nti abantu abakyamu tebayingira mu Kizimbe ky’Obwakabaka. Abakadde basaanidde okusalawo ebiyinza okukolebwa okukakasa nti wabaawo obukuumi obumala n’okugoberera amateeka g’omu kitundu kyammwe agakwata ku bifo omukuŋŋaanira abantu abangi. Bwe muba ab’okusiba enzigi ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso, ab’oluganda balina okutegeezebwa nga bukyali.
Twagala ab’oluganda awamu n’abantu abalala obuteeraliikirira nga bazze mu nkuŋŋaana zaffe. Ate era tetwandyagadde bintu ebikozesebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka kwonoonebwa oba kubbibwa. N’olwekyo, abakadde basaanidde okulowooza ku mbeera ey’omu kitundu kyabwe n’okusalawo ebiyinza okukolebwa okukakasa nti wabaawo obukuumi obumala ku Kizimbe ky’Obwakabaka.