LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • km 8/03 lup. 3-5
  • Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu
  • Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
  • Similar Material
  • Ebifo Mwe Tusinziza
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Kino Kye Kifo Mwe Tusinziza
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2015
  • Ekizimbe ky’Obwakabaka Tusaanidde Kukirabirira Tutya?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Akasanduuko K’ebibuuzo
    Obuweereza Bwaffe bw’Obwakabaka—2014
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka—2003
km 8/03 lup. 3-5

Tulabirire Bulungi Ekifo Kyaffe eky’Okusinzizaamu

1. Ekizimbe ky’Obwakabaka kirina mugaso ki?

1 Okwetooloola ensi waliwo ebibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebissuka mu 94,000. Ebibiina ebisinga obungi bikuŋŋaana okuyiga Baibuli n’okutabagana awamu ng’Abakristaayo mu Kizimbe ky’Obwakabaka, ekikola ng’ekifo ky’okusinza okulongoofu mu kitundu.

2. Lwaki kikulu okukuuma Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kiyonjo era nga kiweesa ekitiibwa?

2 Enteekateeka Ennungi ey’Okuyonja: Omulimu ogukolebwa mu kuddaabiriza n’okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka kintu kikulu nnyo mu buweereza obutukuvu. Ekitabo Benefit From Theocratic Ministry School empapula 61-2 kigamba: “Okuwagira Ekizimbe ky’Obwakabaka mu by’ensimbi, ab’oluganda bakitwala nga nkizo. Kyokka, okuyonja n’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka nayo bandigitutte nga nkizo y’amaanyi. Endabika y’Ekizimbe ky’Obwakabaka munda n’ebweru erina okuba ng’ewa ekifaananyi ekirungi ku kibiina kya Yakuwa.” Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba nga kikozesebwa emirundi egiwerako mu wiiki, kyetaagisa okukiyonjanga era n’okukikuuma nga kiri mu mbeera nnungi. Emirundi mingi, bannakyewa okuva mu bibiina ebikuŋŋaanira mu Kizimbe ky’Obwakabaka, bakola ku nsonga ezo. Nga bwe kyali mu biseera Baibuli we yawandiikibwa, ne leero abaweereza ba Yakuwa balina okuba abanyiikivu mu “kulongoosa n’okuddaabiriza” ekifo kyaffe eky’okusinzizaamu.​—2 Byom. 34:10.

3. Okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka kutegekebwa kutya, era baani abayinza okwenyigira mu nkizo eno?

3 Enteekateeka eya buli wiiki ey’okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka erina okutimbibwa. Ebibinja byonna omusomerwa ekitabo birina okukolera mu mpalo okukiyonja buli wiiki, nga bigoberera olukalala lw’ebintu ebirina okukolebwa. Bonna abasobola balina okwenyigira mu nkizo eya buli wiiki ey’okukuuma Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kiyonjo era nga kiweesa ekitiibwa. Nga bakolera wamu ne bazadde baabwe, abaana nabo bayinza okwenyigira mu kuyonja, mu ngeri eyo, ne batendekebwa okusiima enkizo eno. Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba nti kikozesebwa ebibiina ebissuka mu kimu, kikulu ebibiina ebyo okukolaganira awamu obuvunaanyizibwa bw’okuyonja buleme kubeera ku bantu batono.

4. Kiki ekirina okukolebwa ekibiina kisobole okumanya bye kirina okukola bwe kiba kiyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka?

4 Olukalala lw’ebintu ebirina okukolebwa luyinza okutimbibwa, bwe kiba kisoboka awaterekebwa ebintu ebikozesebwa. Olukalala luno lulina okunnyonnyola emirimu egy’okukolebwa buli wiiki nga mu gino mwe muli, okwera, okuyonja amadirisa, okusiimula ku mmeeza awafunirwa ebitabo, okuyiwayo kasasiro, n’okusiimula wansi. Emirimu egimu giyinza kukolebwa lumu na lumu so si buli wiiki, gamba ng’okusiiga vanisi ku mbaawo, okwoza entimbe, n’okuyonja amataala. Eddagala lyonna erikozesebwa mu kuyonja lirina okuterekebwa abaana we batatuuka era lirina okulambibwa obulungi. Engeri buli ddagala bwe lirina okukozesebwa erina okulagibwa.

5. Okwekuuma obubenje kikulu kwenkana wa, era biki ebirina okukeberebwa buli luvannyuma lwa kiseera? (Laba akasanduuko akali wansi.)

5 Kikulu nnyo okwekuuma obubenje mu Kizimbe ky’Obwakabaka. (Ma. 22:8) Akasanduuko akali wansi kalaga ebintu ebimu ebirina okukeberebwa buli luvannyuma lwa kiseera kisobozese okuziyiza obubenje.

6. Omulimu gw’okuddaabiriza n’okulongoosa Ekisenge ky’Obwakabaka gutabaganyizibwa gutya?

6 Okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka: Akakiiko k’abakadde kalina obuvunaanyizibwa obw’okulabirira omulimu gw’okuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka. Okutwalira awamu, omukadde, oba omuweereza alondebwa okukwataganya emirimu egikolebwa. Akola enteekateeka z’okulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka, ng’akakasa nti kiri mu mbeera nnungi era ng’ebikozesebwa ebimala weebiri. Kikulu okulaba nti tewaliwo mbeera ya kabi mu Kizimbe ky’Obwakabaka ne wabweru waakyo. Ekizimbe ky’Obwakabaka bwe kiba kikozesebwa ebibiina ebissuka mu kimu, obukiiko bw’abakadde bulonda akakiiko akakola enteekateeka z’okulabirira ekizimbe awamu n’ekifo. Akakiiko kano kakolera wansi w’obulagirizi bw’obukiiko bw’abakadde.

7. (a) Kiki ekikolebwa buli mwaka okukakasa nti Ekizimbe ky’Obwakabaka kikuumibwa nga kiri mu mbeera nnungi? (b) Bintu ki ebyetaagisa okufiibwako buli luvannyuma lwa kiseera? (Laba akasanduuko akali ku ddyo.)

7 Okukebera buli kanyomero konna ak’Ekizimbe ky’Obwakabaka kujja kukolebwanga omulundi gumu buli mwaka. Abakadde bavunaanyizibwa okussaawo enteekateeka ez’okufaayo mu bujjuvu ku bintu byonna ebyetaaga okukolebwako. Ababuulizi bayinza okusabibwa okuyamba awaba weetaagisa okuddaabiriza. Bonna balina okuba abeetegefu okufaayo ku nsonga wadde entono era balina okukola ku bintu ebiba byetaagisa okukolebwaako amangu.

8. Ddi abakadde lwe bayinza okutuukirira Akakiiko Akakola ku by’Okuzimba ku Ofiisi ya Sosayate ku bikwata ku kuddaabiriza?

8 Abakadde bwe balaba nti beetaga obuyambi oba obulagirizi mu kuddaabiriza Ekizimbe ky’Obwakabaka, bayinza okutuukirira Akakiiko Akakola ku by’Okuzimba ku Ofiisi ya Sosayate. Mu ebyo muyinza okubaamu okuddaabiriza ebisenge, n’akasolya.

9. Nkola ki erina okugobererwa bwe wabaawo obwetaavu bw’okupangisa omukozi?

9 Okukozesa Obulungi Ssente z’Ekibiina: Emirimu egisinga obungi egikolebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka ne mu luggya, gikolebwa bannakyewa. Okufuba kwabwe okw’okwerekereza, kyakulabirako kirungi ekyoleka okwagala era kuyamba nnyo mu kukendeeza ku nsaasaanya ya ssente. Bwe kiba kyetaagisa okupangisa abakozi okukola emirimu egimu, abakadde banoonya abo abanaakola omulimu omulungi ku ssente ensaamusaamu. Kino bakikola nga bassa mu buwandiike kalonda yenna akwata ku mulimu ogw’okukolebwa, era n’ebintu ebinaakozesebwa. Oluvannyuma, kopi z’obuwandiike buno ziweebwa abakozi ab’enjawulo abasaba okukola omulimu ogwo basobole okulamula ssente nga bamanyi bulungi buli kimu ekyetaagisa. Oluvannyuma abakadde balondako anaakola omulimu omulungi ku bbeeyi ensaamusaamu. Enkola eno erina okugobererwa ka kibe nti ow’oluganda y’asabye okukola omulimu oba okuleeta ebintu ebyetaagisa ku muwendo ogulagiddwa.

10. Kiki ekirina okukolebwa okukakasa nti ssente z’ekibiina zikozesebwa bulungi?

10 Bwe kiba nti ebibiina ebissuka mu kimu bikozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, akakiiko akakola ku kuddaabiriza tekalina kugatta ssente eziba mu nsako yako n’endala ez’ekibiina era kalaga abakadde ensaasaanya ya ssente mu buwandiike buli mwezi. Abakadde be bavunaanyizibwa okusaasaanya ssente z’ekibiina mu ngeri esaanira.

11. Kiki ekirina okukolebwa singa okulongoosa oba okuddaabiriza okw’amaanyi kwetaagisa?

11 Okulongoosa n’Okuddaabiriza okw’Amaanyi: Akakiiko akalabirira omulimu gw’okulongoosa bwe kalaba nti waliwo ekintu eky’amaanyi ekyetaagisa okukolwako ku Kizimbe ky’Obwakabaka, ensonga kagitegeeza obukiiko bw’abakadde okusobola okufuna obulagirizi. Bwe kiba kisaliddwawo nti okulongoosa oba okuddaabiriza okw’amaanyi kwetaagisa, oba nti obuyambi okuva wabweru w’ebibiina bwetaagisa, abakadde balina okutuukirira Akakiiko Akakola ku by’Okuzimba ku Ofiisi ya Sosayate. Ab’oluganda bano balina ebisaanyizo n’obumanyirivu, bawa amagezi n’obulagirizi ku ngeri y’okukolamu emirimu. Bwe kiba nti ssente ezinaakozesebwa nnyingi nnyo, kiba kyetaagisa okumanya omuwendo gwazo omutuufu era n’okuteekateeka ekiteeso eky’okwanjula eri ekibiina.​—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo mu Our Kingdom Ministry aka Febwali 1994.

12. Tusobola tutya okulaga nti tusiima enkizo yaffe ey’okubeerangawo mu nkuŋŋaana mu Kizimbe ky’Obwakabaka?

12 Nga tusiima nnyo enkizo yaffe ey’okukuŋŋaanira awamu mu Kizimbe ky’Obwakabaka! Tetwandyagadde kulagajjalira nkuŋŋaana zaffe oba okuzitwala nga si za muwendo. Ffenna tuyinza okuwagira enteekateeka eno etuzzaamu amaanyi nga twenyigira mu bujjuvu mu kulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka. Kino kigulumiza okusinza okulongoofu era kiweesa erinnya lya Yakuwa ekitiibwa. Ka tubeere bamalirivu okukuuma ekifo kyaffe eky’okusinzizaamu nga kiri mu mbeera nnungi.

[Akasanduuko akali ku lupapula 4]

Okulabirira Ekizimbe n’Ekifo

◻ Wabweru: Akasolya, langi, amadirisa n’ekipande ky’Ekizimbe ky’Obwakabaka biri mu mbeera nnungi?

◻ Oluggya: Oluggya lulabirirwa bulungi? Amakubo, enkomera, n’awasimba emmotoka biri mu mbeera nnungi?

◻ Munda: Wansi ku seminti, entimbe, entebe, eby’amasannyalaze n’eby’amazzi, ne we batereka ebitabo biri mu mbeera nnungi?

◻ Ebikozesebwa: Amataala, n’ebyuma by’amaloboozi, bikola bulungi?

◻ Kaabuyonjo: Nnyonjo, era eri mu mbeera nnungi?

◻ Ebiwandiiko by’Ekibiina: Ebiwandiiko eby’obwannannyini bituufu era biri mu mbeera ekkirizibwa mu mateeka?

[Akasanduuko akali ku lupapula 3]

Eby’Okukebera Okuziyiza Obubenje

◻ Ebyuma ebizikiza omuliro birina okubeera mu kifo ekyangu okutuukako era birina okukeberebwa buli mwaka.

◻ Mukakase nti ekizimbe kiriko ekyuma ekikwata laddu.

◻ Emiryango egifulumirwamu girina okulambibwa obulungi, nga myangu gya kutuukako era tegirina kuggalwa ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso.

◻ Ebisenge omuterekebwa ebintu ne kaabuyonjo birina okuba ebiyonjo, nga bitegekeddwa bulungi, nga tebiriimu bintu bikwata mangu muliro era nga tebiriimu kasasiro.

◻ Akasolya n’engogo birina okukeberebwanga era n’okuyonjebwanga.

◻ Amakubo n’ebifo awasimba emmotoka birina okubaamu amataala, era nga tebiriimu kintu kyonna ekiyinza okuleeta obuseerezi oba okuviirako okugwa.

◻ Eby’amasannyalaze n’ebiwujjo birina okukeberebwa n’okuddaabirizibwa.

◻ Awantu wonna awatonnya walina okuddaabirizibwa mu bwangu okusobola okwewala ebizibu eby’amaanyi.

◻ Ekizimbe kirina okuggalibwawo bwe kiba nti munda temuliimu muntu n’omu.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share