Okwejjukanya Mu Ssomero Ly’omulimu Gwa Katonda
Ebibuuzo ebiddirira bijja kuddibwamu mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda mu wiiki etandika nga Agusito 25, 2003. Omulabirizi akubiriza essomero ajja kukubiriza essomero mu ddakiika 30 nga lyesigamiziddwa ku ebyo ebyasomebwa okuva mu wiiki eya Jjulaayi 7 okutuuka nga Agusito 25, 2003. [Eby’okwetegerezebwa: Bwe watabaawo kijuliziddwa oluvannyuma lw’ekibuuzo, kijja kukwetaagisa okukola okunoonyereza okukwo okusobola okufuna eky’okuddamu.—Laba ekitabo Ministry School, emp. 36-7.]
ENSONGA EZ’OKWOGERAKO
1. Miganyulo ki egiva mu kutunuulira omuntu gw’obuulira? [be lup. 125 but. 1-2; lup. 125 akasanduuko]
2. Singa ofuna ekiwuggwe nga tonnatandika kubuulira, kiki ekiyinza okukuyamba? [be lup. 128 but. 4-5]
3. Kiki ekinaakuyamba okwogera mu ngeri eya bulijjo ng’owa emboozi ku pulatifoomu? [be lup. 129 kat. 2; lup. 129 akasanduuko]
4. Emisingi egiri mu Eby’Abaleevi 16:4, 24, 26, 28; Yokaana 13:10; ne Okubikkulirwa 19:8 gikwata gitya ku ndabika yaffe, era lwaki kino kikulu? [be lup. 131 kat. 3; lup. 131 akasanduuko]
5. Omuntu omwetoowaze era ‘alina endowooza ennuŋŋamu’ y’afaanana atya? (1 Tim. 2:9, 10) [be lup. 132 kat. 1]
EMBOOZI 1
6. Wadde ng’Abakristaayo balina okuzibiikirizagananga bokka na bokka, kiki kye batakkiriza? (Bak. 3:13) [w01 7/15 lup. 22 but. 7-8]
7. Kituufu oba Kikyamu: Ennamba eraga ebintu nga bwe biddiriŋŋana eba nzijuvu. Nnyonnyola. [si lup. 282 but. 24-5]
8. Twandibadde na kiruubirirwa ki ekisingirayo ddala ekyandituleetedde okusoma Ekigambo kya Katonda, era lwaki kikulu nnyo okuba n’ekiruubirirwa ng’ekyo? [be lup. 24 kat. 1]
9. Omuntu ow’amagezi ‘atereka atya okumanya’? (Nge. 10:14) [w01 7/15 lup. 27 but. 4-5]
10. Lwaki ebintu Yobu bye yakolanga kyakulabirako kirungi? (Yobu 1:1, 8; 2:3) [w01-E 8/1 lup. 20 kat. 4]
OKUSOMA BAIBULI OKWA BULI WIIKI
11. Ab’oku kakiiko akafuzi baatuuka batya ‘okusalawo mu bumu’ nti Bannaggwanga abakkiriza kyali tekibeetaagisa kukomolebwa okusobola okulokolebwa? (Bik. 15:25)
12. Lwaki akakiiko akafuzi kaasaba Pawulo okutuukiriza ebintu ebimu ebyali mu Mateeka ga Musa ng’ate Yakuwa yali agaggyewo? (Bik. 21:20-26) [it-1 lup. 481 kat. 3; it-2 lup. 1163 kat. 6–lup. 1164 kat. 1]
13. Misango ki egy’obulimba gye baavunaana Pawulo egitujjukiza ebyogeddwa ku Bajulirwa ba Yakuwa gye buvuddeko awo? (Bik. 24:5, 6) [w01 12/15 lup. 22 kat. 7–lup. 23 kat. 2]
14. Pawulo yateekawo atya ekyokulabirako ng’omubuulizi w’Obwakabaka ne bwe yali mu kkomera okumala emyaka ebiri? (Bik. 28:30, 31)
15. Mu ngeri ki “abakulu abafuga” gye bali ekitundu ‘ky’enteekateeka ya Katonda,’ era kino kikwata kitya ku Bakristaayo? (Bar. 13:1, 2) [w00 8/1 lup. 4 kat. 5]