Akasanduuko K’ebibuuzo
◼ Mu kibiina, ani asaanidde okugatta abagole oba okuwa emboozi ku mukolo gw’okuziika?
Watchtower eya Ddesemba 1, 1975, yannyonnyola ebigambo “ordained minister” (munnaddiini atongozeddwa) nga bwe bikozesebwa mu mateeka. Era okusinziira ku Watchtower eyo, mu kibiina, abakadde n’abaweereza be bagwa mu kiti ekyo. N’olwekyo, bwe kiba nti okusinziira ku mateeka g’eggwanga abo abagatta abagole balina kuba bannaddiini abaatongozebwa, ab’oluganda abaweereza ng’abakadde oba abaweereza mu kibiina be bokka abalina okugatta abagole. (Bwe muba nga mwagattibwa naye ng’eyabagatta yali tatuukiriza bisaanyizo ebyo, tekyetaagisa kuddamu kugattibwa.)
Musaanidde okumanya amateeka g’omu kitundu kyammwe agakwata ku nsonga eyo n’okugagoberera.
Abo ababa bagenda okugattibwa bwe baba nga bandyagadde ow’oluganda assaawo ekyokulabirako ekirungi (naye nga si mukadde oba muweereza), y’aba awa emboozi eweebwa ku mukolo ogw’okugatta abagole, enteekateeka eyinza okukolebwa ow’oluganda oyo n’awa emboozi eyo. Oluvannyuma, omukadde oba omuweereza atuukiriza ebisaanyizo ebiri mu mateeka g’omu nsi yammwe eby’okugatta abagole y’alina okubalayiza, kubanga okulayiza abagole kwe kubagatta.
Abo ababa bagenda okugattibwa bwe baba baagala okukozesa Ekizimbe ky’Obwakabaka, balina okuwaayo okusaba kwabwe eri akakiiko k’ekibiina ak’obuweereza. (Laba “Akasanduuko k’Ebibuuzo” mu Kingdom Ministry eya 1975.)
Okuwa emboozi ku mukolo gw’okuziika kya njawulo ku kugatta abagole. Tewali tteeka lisinziirwako kulonda anaawa emboozi ku mukolo gw’okuziika. N’olwekyo, abo abafiiriddwa be basaanidde okulonda ow’oluganda assaawo ekyokulabirako ekirungi okuwa emboozi ku mukolo gw’okuziika. Basobola okulonda ow’oluganda yenna ne bwe kiba nti si mukadde oba si muweereza.