LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • mwb21 Jjanwali lup. 5
  • Munyweze Obufumbo Bwammwe

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Munyweze Obufumbo Bwammwe
  • Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
  • Similar Material
  • Okufuna Essanyu mu Bufumbo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2016
  • Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika
    Ekyama eky’Okufuna Essanyu mu Maka
  • Oluvannyuma lw’Okugattibwa
    Engeri gy’Oyinza Okusigala mu Kwagala kwa Katonda
  • Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Obulamu bw’Ekikristaayo n’Obuweereza Bwaffe—Akatabo k’Enkuŋŋaana—2021
mwb21 Jjanwali lup. 5
Omwami ne mukyala we booza engoye era basanyufu.

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Munyweze Obufumbo Bwammwe

Ebirayiro abantu bye bakuba nga bafumbiriganwa Yakuwa abitwala nga bikulu nnyo, era ayagala omwami n’omukyala buli omu anywerere ku munne. (Mat 19:5, 6) Waliwo abaweereza ba Katonda bangi abalina essanyu mu bufumbo bwabwe. Kyokka, tewali bufumbo butuukiridde obutaliimu bizibu. Tusaanidde okwewala endowooza egamba nti okwawukana oba okugattululwa y’engeri y’okugonjoolamu ebizibu ebiba bizzeewo mu bufumbo. Abafumbo bayinza batya okunyweza obufumbo bwabwe?

Mulowooze ku bintu bino ebitaano.

  1. Kuuma omutima gwo nga weewala ebintu gamba ng’okuzannyirira n’omuntu atali munno mu bufumbo n’eby’okwesanyusaamu ebirimu ebikolwa eby’obugwenyufu, kubanga ebintu ng’ebyo byonoona obufumbo.​—Mat 5:28; 2Pe 2:14.

  2. Nyweza enkolagana yo ne Yakuwa era fuba okukola ebimusanyusa mu bufumbo bwo.​—Zb 97:10.

  3. Weeyongere okwambala omuntu omuggya, era n’okukola ebintu ebitonotono ebinaaleetera munno mu bufumbo okulaba nti omwagala.​—Bak 3:8-10, 12-14.

  4. Yogera ne munno mu ngeri eraga nti omuwa ekitiibwa.​—Bak 4:6.

  5. Buli omu asasule munne ekimugwanira mu ngeri eraga nti amufaako era nti amwagala.​—1Ko 7:3, 4; 10:24.

Abakristaayo bwe bassa ekitiibwa mu bufumbo, baba balaga nti bawa oyo eyatandikawo enteekateeka eyo ekitiibwa.

MULABE VIDIYO, TULINA ‘OKUDDUKA N’OBUGUMIIKIRIZA’​—GOBERERA AMATEEKA, OLUVANNYUMA MUDDEMU BIBUUZO BINO:

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Tulina ‘Okudduka n’Obugumiikiriza’​—Goberera Amateeka.’ Ow’Oluganda ne Mwannyinaffe Calou basanyufu oluvannyuma lw’okuwuliriza okwogera okukwata ku bufumbo mu Kizimbe ky’Obwakabaka.

    Wadde ng’obufumbo buyinza okutandika obulungi, kusoomoozebwa ki okuyinza okujjawo?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Tulina ‘Okudduka n’Obugumiikiriza’​—Goberera Amateeka.’ Ow’Oluganda ne Mwannyinaffe Calou boogera mu bukkakkamu ku bizibu bye balina. Bayibuli embikkule eri ku mmeeza.

    Emisingi gya Bayibuli giyinza gitya okuyamba abo abawulira nti obufumbo bwabwe tebukyalimu ssanyu?

  • Ekifaananyi ekyaggibwa mu vidiyo, ‘Tulina ‘Okudduka n’Obugumiikiriza’​—Goberera Amateeka.’ Ow’Oluganda Calou asomera mukyala we n’abaana be ekitabo ‘Ekitabo Kyange eky’Engero za Bayibuli.’

    Okusobola okufuna essanyu mu bufumbo bwammwe mukolere ku misingi gya Bayibuli

    Mateeka ki Yakuwa ge yateerawo abafumbo?

  • Obufumbo okusobola okubaamu essanyu, biki buli omu ku bafumbo by’alina okukola?

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share