BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO
Oyinza otya okufuna essanyu mu bufumbo?
Amagezi agali mu Bayibuli gasobola okuyamba abafumbo okufuna essanyu kubanga gava eri Yakuwa Katonda eyatandikawo obufumbo. Bayibuli etuyigiriza engeri ennungi ezisobola okutuleetera essanyu mu bufumbo ate n’etukubiriza okwewala ebiyinza okubwonoona. Ate era esobola okutuyamba okuyiga okuwuliziganya obulungi ne tweyongera okufuna essanyu mu bufumbo bwaffe.—Soma Abakkolosaayi 3:8-10, 12-14.
Omwami n’omukyala basaanidde okuwaŋŋana ekitiibwa. Buli omu bw’atuukiriza obuvunaanyizibwa Katonda bwe yamuwa mu bufumbo, basobola okuba abasanyufu.—Soma Abakkolosaayi 3:18, 19.
Kiki ekisobozesa obufumbo okuwangaala?
Obufumbo busobola okuwangaala singa abafumbo baba baagalana. Katonda atuyigiriza engeri gye tusaanidde okwagalanamu. Ye n’Omwana we Yesu, baatuteerawo ekyokulabirako ku ngeri y’okwolekamu okwagala okwa nnamaddala.—Soma 1 Yokaana 4:7, 8, 19.
Abafumbo bwe bakijjukira nti Katonda ye yatandikawo obufumbo, buli omu ajja kufuba okunywerera ku munne. Katonda ayagala obufumbo bube bwa lubeerera era tayagala maka kusattulukuka. Obufumbo busobola okuwangaala kubanga Katonda yatonda omusajja n’omukazi nga buli omu asobola okujjuuliriza munne mu by’omubiri ne mu nneewulira. Ate era yabatonda mu kifaananyi kye, nga basobola okwoleka okwagala nga ye.—Soma Olubereberye 1:27; 2:18, 24.