LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 16
  • Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Abaweereza Bye Bakola Bya Muganyulo Nnyo
    Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Siima Abo Yakuwa ne Yesu Be Batuwadde “ng’Ebirabo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okufuuka Abaweereza mu Kibiina?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 16

ESSOMO 16

Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?

Omuweereza mu kibiina ng’ayambako mu kuwa ab’oluganda ebitabo

Myanmar

Omuweereza mu kibiina ng’ayigiriza

Ayigiriza

Omuweereza mu kibiina ng’akubiriza olukuŋŋaana lw’obuweereza

Ekibinja ky’obuweereza

Omuweereza mu kibiina ng’ayambako mu kulongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka

Balongoosa Ekizimbe ky’Obwakabaka

Bayibuli eyogera ku bantu ba biti bibiri abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina​—‘abalabirizi n’abaweereza.’ (Abafiripi 1:1) Okutwalira awamu, mu buli kibiina mulimu abakaddè n’abaweereza. Biki abaweereza bye bakola okutuyamba?

Bayamba ku bakadde. Abaweereza baba basajja abalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa, abeesigika, era abafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe. Abamu baba bavubuka, ate abalala baba basajja bakulu. Bakola emirimu egitali gimu mu kibiina ne kisobozesa abakadde okwemalira ku kuyigiriza n’okulunda ekisibo kya Katonda.

Bakola emirimu mingi egy’omugaso mu kibiina. Abaweereza abamu baweebwa obuvunaanyizibwa obw’okwaniriza abo ababa bazze mu nkuŋŋaana. Abalala bakola ku byuma by’amaloboozi, abalala ku bitabo, abalala ku by’embalirira, ate abalala balaga ababuulizi ebitundu eby’okubuuliramu. Bayamba ne mu kulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka, era oluusi abakadde babasaba okuyamba ku bannamukadde. Abaweereza bakola n’omutima gumu emirimu gyonna egibaweebwa, era kino kireetera abalala okubawa ekitiibwa.​—1 Timoseewo 3:13.

Bateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi. Abaweereza balondebwa olw’okuba batuukiriza ebisaanyizo by’omu Byawandiikibwa. Bwe babaako bye bayigiriza mu nkuŋŋaana, banyweza okukkiriza kwaffe. Ekyokulabirako ekirungi kye bateekawo mu mulimu gw’okubuulira kituleetera naffe okuba abanyiikivu. Olw’okuba bakolagana bulungi n’abakadde, ekibiina kiba kisanyufu era kiba bumu. (Abeefeso 4:16) Abaweereza nabo bayinza okukulaakulana ne bafuuka abakadde.

  • Abaweereza baba ba luganda ba ngeri ki?

  • Mirimu ki abaweereza gye bakola egiyamba ekibiina okutambula obulungi?

MANYA EBISINGAWO

Buli lw’ogenda mu nkuŋŋaana, fuba okwogerako n’omukadde omu oba omuweereza omu okutuusa bonna lw’onoobamanya awamu n’ab’omu maka gammwe.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share