LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • jl essomo 15
  • Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?
  • Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Similar Material
  • Engeri Ekibiina Gye Kitegekeddwamu
    Nyumirwa Obulamu Emirembe Gyonna!—Okukubaganya Ebirowoozo ku Bayibuli
  • “Mulundenga Ekisibo kya Katonda Ekyabakwasibwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • ‘Musse Ekitiibwa mu Abo Abakola Ennyo mu Mmwe’
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
See More
Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
jl essomo 15

ESSOMO 15

Abakadde Bayamba Batya Ekibiina?

Omukadde anyumyako n’abalala mu kibiina

Finland

Omukadde ng’ayigiriza mu kibiina

Ng’ayigiriza

Abakadde nga bazzaamu amaanyi abamu ku b’oluganda mu kibiina

Nga bakyalidde ab’Oluganda

Omukadde n’abuulira

Nga babuulira

Ffe tetulina bakulembeze basasulwa musaala, wabula nga bwe kyali mu kibiina Ekikristaayo nga kyakatandika, ab’oluganda abalina ebisaanyizo balondebwa ‘okulabirira ekibiina kya Katonda.’ (Ebikolwa 20:28) Abakadde abo abalina ebisaanyizo eby’eby’omwoyo be balunda ekisibo kya Katonda. Kino tebakikola ‘lwa buwaze wabula kyeyagalire; era si lwa kwagala kubaako bye beefunira, naye lwa kwagala kuweereza.’ (1 Peetero 5:1-3) Biki bye bakola okutuyamba ?

Batufaako era batukuuma. Abakadde bakulembera ekibiina era bayambako mu kukikuuma mu by’omwoyo. Olw’okuba bakimanyi nti Katonda y’abawadde obuvunaanyizibwa obwo obukulu, tebakajjala ku bantu ba Katonda, wabula bafuba okukola ebyo ebituyamba okuba n’obulamu obulungi era obw’essanyu. (2 Abakkolinso 1:24) Ng’omusumba bw’afaayo ennyo ku buli kimu ku bisolo bye, abakadde nabo bafuba okumanya buli omu mu kibiina.​—Engero 27:23.

Batuyigiriza okukola Katonda by’ayagala. Buli wiiki, abakadde bakubiriza enkuŋŋaana mu kibiina okunyweza okukkiriza kwaffe. (Ebikolwa 15:32) Abasajja abo abaweereza n’obunyiikivu be bawoma omutwe mu mulimu gw’okubuulira. Babuulira wamu naffe era batutendeka okubuulira n’okuyigiriza.

Batuzzaamu amaanyi. Okusobola okutuyamba kinnoomu okunyweza enkolagana yaffe ne Yakuwa, abakadde b’omu kibiina kyaffe bayinza okutukyalira mu maka gaffe, oba okwogerako naffe nga tugenze mu nkuŋŋaana ne batuzzaamu amaanyi nga bakozesa Ebyawandiikibwa.​—Yakobo 5:14, 15.

Ng’oggyeeko obuvunaanyizibwa bwe baba nabwo mu kibiina, abakadde balina n’ebirala ebitwala ebiseera byabwe. Abasinga obungi balina emirimu gye bakola okweyimirizaawo, era balina n’amaka. Ab’oluganda abo abakola ennyo tusaanidde okubawa ekitiibwa.​—1 Abassessalonika 5:12, 13.

  • Abakadde mu kibiina balina buvunaanyizibwa ki?

  • Abakadde balaga batya nti batufaako?

MANYA EBISINGAWO

Baani abasaanidde okuweereza ng’abakadde? Soma 1 Timoseewo 3:1-10, 12, 12, ne Tito 1:5-9, olabe ebisaanyizo abo abaweereza ng’abakadde n’abaweereza bye balina okutuukiriza.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share