LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • w13 11/15 lup. 26-30
  • Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu
  • Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Subheadings
  • Similar Material
  • ‘ALIBASITULIRA MU KIFUBA KYE’
  • “MBATEEREDDEWO EKYOKULABIRAKO”
  • ‘NYWERERA KU KIGAMBO EKYESIGWA’
  • ‘MUBE BYAKULABIRAKO ERI EKISIBO’
  • ‘MUYAMBE ABANAFU’
  • “Mulundenga Ekisibo kya Katonda Ekyabakwasibwa”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2011
  • Gondera Abasumba Yakuwa b’Alonze
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
  • Yamba Abo Abaabula Okuva mu Kisibo
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2008
  • Okugondera Abasumba Abalabirira Ekisibo n’Okwagala
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2007
See More
Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2013
w13 11/15 lup. 26-30
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 26]

Abasumba, Mukoppe Abasumba Abasinga Obukulu

“Kristo yabonaabona ku lwammwe, ng’abalekera ekyokulabirako mulyoke mutambulirenga mu bigere bye.”​—1 PEET. 2:21.

WANDIZZEEMU OTYA?

  • Abasumba mu kibiina bayinza batya okukoppa Yakuwa?

  • Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu Kristo?

  • Lwaki abakadde bakyalira bakkiriza bannaabwe?

1, 2. (a) Endiga bwe zirabirirwa obulungi, biki ebivaamu? (b) Lwaki abantu bangi abaaliwo mu kiseera kya Yesu, baalinga endiga ezitalina musumba?

ENDIGA zikula bulungi singa omusumba waazo aba azirabirira bulungi. Akatabo akamu akakwata ku kulunda endiga kagamba nti: ‘Singa omusumba atwala butwazi endiga ku ttale n’azireka eyo, ebiseera ebisinga obungi endiga ezo zirwalalwala era tazifunamu bulungi magoba.’ Naye singa omusumba aba afaayo ku buli emu ku ndiga ze, endiga ze ziba nnamu bulungi era tezitera kulwalalwala.

2 Mu ngeri y’emu, engeri abakadde gye balabiriramu buli emu ku ndiga ezaabakwasibwa erina kinene ky’ekola ku mbeera ey’eby’omwoyo ey’ekibiina. Lumu Yesu yasaasira ekibiina ky’abantu olw’okuba “baali babonaabona era nga basaasaanye ng’endiga ezitalina musumba.” (Mat. 9:36) Lwaki abantu abo baali mu mbeera eyo? Kubanga abo abaali balina okubayigiriza Amateeka ga Katonda baali bakambwe era nga bannanfuusi. Mu kifo ky’okuyamba ekisibo n’okukirabirira, abakulembeze b’eddiini mu Isiraeri baatikkanga abantu “emigugu emizito.”​—Mat. 23:4.

3. Abakadde bwe baba balabirira endiga, kiki kye basaanidde okujjukira?

3 Leero abasumba mu kibiina balina obuvunaanyizibwa bwa maanyi. Endiga ze balabirira za Yakuwa ne Yesu, ‘omusumba omulungi.’ (Yok. 10:11) Endiga ezo ‘zaagulwa muwendo munene’ Yesu gwe yasasula ‘n’omusaayi gwe ogw’omuwendo.’ (1 Kol. 6:20; 1 Peet. 1:18, 19) Yesu ayagala nnyo endiga ezo ne kiba nti yatuuka n’okuwaayo obulamu bwe ku lwazo. Bwe baba balabirira endiga, abakadde basaanidde okukijjukira nti bavunaanyizibwa eri Yesu Kristo, “omusumba w’endiga omukulu.”​—Beb. 13:20.

4. Kiki kye tugenda okuyiga mu kitundu kino?

4 Kati olwo abasumba basaanidde kuyisa batya endiga? Kyo kituufu nti ab’oluganda mu kibiina bakubirizibwa ‘okuwuliranga abo ababakulembera.’ Kyokka n’abakadde mu kibiina bakubirizibwa okwewala ‘okukajjala ku abo Katonda b’alinako obwannannyini.’ (Beb. 13:17; soma 1 Peetero 5:2, 3.) Abakadde bayinza batya okukulembera ekibiina nga tebakajjadde ku kisibo? Mu ngeri endala, abakadde bayinza batya okulabirira endiga nga tebakozesezza bubi buyinza Katonda bwe yabawa?

‘ALIBASITULIRA MU KIFUBA KYE’

5. Ebigambo ebiri mu Isaaya 40:11 bituyigiriza ki ku Yakuwa?

5 Ng’ayogera ku Yakuwa, nnabbi Isaaya yagamba nti: “Aliriisa ekisibo kye ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.” (Is. 40:11) Ekyawandiikibwa ekyo kiraga nti Yakuwa afaayo nnyo ku bantu be ababa banafuye oba abo ababa beetaaga obuyambi. Ng’omusumba bw’afuba okumanya ebyetaago bya buli emu ku ndiga ze era n’afuba okubikolako, Yakuwa amanyi ebyetaago bya buli omu ku baweereza be era abikolako. Era ng’omusumba bw’asitulira mu kyambalo kye akaana k’endiga akaba kaakazaalibwa, Yakuwa, “Kitaffe ow’okusaasira,” ajja kutuwanirira nga tuli mu biseera ebizibu. Ajja kutubudaabuda nga tuli mu mbeera enzibu oba nga twetaaga okulabirirwa mu ngeri ey’enjawulo.​—2 Kol. 1:3, 4.

6. Abakadde bayinza batya okukoppa Yakuwa?

6 Abasumba mu kibiina balina bingi bye bayigira ku Kitaffe ow’omu ggulu. Okufaananako Yakuwa, nabo balina okufaayo ennyo ku byetaago by’endiga. Abakadde bwe bamanya ebyetaago by’ab’oluganda awamu n’ebizibu bye boolekagana nabyo, baba basobola okumanya kye basaanidde okukola okusobola okubayamba. (Nge. 27:23) Abakadde bwe baba ab’okuyamba bakkiriza bannaabwe, baba balina okuba n’empuliziganya ennungi nabo. Wadde nga beewala okweyingiza mu nsonga ezitabakwatako, abakadde tebabuusa maaso ebyo bye balaba ne bye bawulira mu kibiina era bafuba “okuyamba abeetaaga okuyambibwa.”​—Bik. 20:35; 1 Bas. 4:11.

7. (a) Abasumba baayisanga batya endiga za Yakuwa mu kiseera kya Ezeekyeri ne Yeremiya? (b) Okuba nti Yakuwa yalekera awo okukolagana n’abasumba abataali beesigwa, kiyigiriza ki abakadde leero?

7 Lowooza ku basumba b’abantu ba Katonda abaaliwo mu kiseera kya Ezeekyeri ne Yeremiya. Yakuwa yalekera awo okukolagana n’abasumba abo olw’okuba baali tebalabirira bulungi ndiga ze. Yakuwa yagamba nti: “Endiga zange zaafuuka kya kulya eri ensolo zonna ez’omu nsiko olw’obutabaawo musumba, so n’abasumba bange tebanoonya ndiga zange, naye abasumba ne beeriisa bokka ne bataliisa ndiga zange.” (Ez. 34:7-10; Yer. 23:1) Okufaananako abasumba abo, abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu nabo ba mululu era beefaako bokka. N’olw’ensonga eyo, Katonda tasobola kukolagana nabo. Ekyo kiraga nti kikulu nnyo abasumba mu kibiina okufuba okulabirira obulungi endiga za Yakuwa.

“MBATEEREDDEWO EKYOKULABIRAKO”

8. Abakadde bayinza batya okukoppa Yesu nga batereeza bakkiriza bannaabwe?

8 Olw’okuba abantu bonna tebatuukiridde, abamu ku bantu ba Katonda bayinza okulwawo okutegeera ekyo Yakuwa kyabeetaagisa. Bayinza okulemererwa okukolera ku kubuulirira okuba kubaweereddwa okuva mu Byawandiikibwa, oba bayinza okweyisa mu ngeri eraga nti tebannakula bulungi mu by’omwoyo. Kiki abakadde kye basaanidde okukola mu mbeera ng’eyo? Basaanidde okukoppa Yesu eyayoleka obugumiikiriza ng’akolagana n’abayigirizwa be. Enfunda n’enfunda, abayigirizwa be baakaayananga ku ani ku bo eyandibadde asinga obukulu mu Bwakabaka. Wadde kyali kityo, Yesu yeeyongera okubayigiriza n’okubakubiriza okuba abeetoowaze. (Luk. 9:46-48; 22: 24-27) Yesu bwe yanaaza abayigirizwa bwe ebigere, yabateerawo ekyokulabirako ekirungi mu kwoleka obwetoowaze. Ne leero, abakadde balina okuba abeetoowaze.​—Soma Yokaana 13:12-15; 1 Peet. 2:21.

9. Ndowooza ki abayigirizwa ba Yesu gye baalina eyali yeetaaga okutereezebwa?

9 Omutume Yokaana ne Yakobo baali balowooza nti okuba omusumba kitegeeza kufuga balala. Abatume abo baasaba Yesu okubawa ebifo eby’oku mwanjo mu Bwakabaka. Yesu yatereeza endowooza yaabwe ng’abagamba nti: “Mumanyi nti abo abafuga amawanga babakajjalako n’abakulu babafugisa buyinza. Naye tekirina kuba bwe kityo mu mmwe; buli ayagala okuba omukulu mu mmwe ateekeddwa okubeera omuweereza wammwe.” (Mat. 20:25, 26) Abatume baalina okwewala okukajjala ku bakkiriza bannaabwe.

10. Yesu ayagala abakadde bayise batya ekisibo, era kyakulabirako ki ekirungi Pawulo kye yateekawo mu nsonga eyo?

10 Yesu ayagala abakadde bayise bulungi ekisibo, nga naye bwe yakola. Ayagala babe beetegefu okuweereza bakkiriza bannaabwe, so si kubafuga. Omutume Pawulo yayoleka obwetoowaze ng’aweereza bakkiriza banne. Yagamba abakadde b’omu kibiina ky’Efeso nti: “Mumanyi bulungi nti okuva ku lunaku lwe nnatuuka mu ssaza ly’e Asiya, nnabeera nammwe ekiseera kyonna nga mpeereza Mukama n’obuwombeefu.” Omutume Pawulo yali ayagala abakadde babe beetoowaze era bafube okuweereza abalala. Yagamba nti: “Mbalaze mu bintu byonna nti mulina okuyamba abeetaaga okuyambibwa.” (Bik. 20:18, 19, 35) Pawulo yagamba ab’oluganda mu Kkolinso nti si ye yalina obuyinza ku kukkiriza kwabwe. Mu kifo ky’ekyo yakiraga nti yali mukozi munaabwe olw’essanyu lyabwe. (2 Kol. 1:24) Abakadde basaanidde okukoppa Pawulo nga booleka obwetoowaze era nga bafuba okuweereza abalala.

‘NYWERERA KU KIGAMBO EKYESIGWA’

11, 12. Omukadde ayinza atya okuyamba mukkiriza munne okusalawo obulungi?

11 Omukadde alina ‘okunywerera ku kigambo ekyesigwa ng’ayigiriza.’ (Tit. 1:9) Naye ekyo asaanidde okukikola “mu mwoyo omukkakkamu.” (Bag. 6:1) Mu kifo ky’okukaka bakkiriza banne okukola ekintu ekimu, omusumba omulungi afuba okubatuuka ku mutima. Ng’ekyokulabirako, omukadde ayinza okuyamba mukkiriza munne okusalawo obulungi ng’akubaganya naye ebirowoozo ku misingi gya Bayibuli oba ekimu ku bitundu ebyafulumira mu bitabo byaffe. Ayinza okukubiriza ow’oluganda okulowooza ku ngeri ebyo by’asalawo gye biyinza okukwata ku nkolagana ye ne Yakuwa. Ate era ayinza okukubiriza mukkiriza munne okusaba Yakuwa amuwe obulagirizi nga tannasalawo. (Nge. 3:5, 6) Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ne mukkiriza munne, omukadde amuleka ne yeesalirawo.​—Bar. 14:1-4.

12 Obuyinza bwonna abakadde bwe balina buva mu Byawandiikibwa. N’olwekyo, kikulu nnyo abakadde okukozesa obulungi Bayibuli n’okukakasa nti amagezi gonna ge bawa geesigamiziddwa ku Bayibuli. Bwe bakola batyo, kibayamba obutakozesa bubi buyinza obwabaweebwa. Abakadde basaanidde okukijjukira nti endiga ze balunda si zaabwe, era buli omu mu kibiina avunaanyizibwa eri Yakuwa ne Yesu olw’ebyo by’asalawo.​—Bag. 6:5, 7, 8.

‘MUBE BYAKULABIRAKO ERI EKISIBO’

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]

Abakadde bayamba ab’omu maka gaabwe okweteekateeka nga tebannagenda kubuulira (Laba akatundu 13)

13, 14. Abakadde bayinza batya okuteerawo abalala mu kibiina ekyokulabirako ekirungi?

13 Oluvannyuma lw’okugamba abakadde mu kibiina ‘obutakajjala ku abo be bakwasiddwa,’ omutume Peetero yabakubiriza ‘okuba ebyokulabirako eri ekisibo.’ (1 Peet. 5:3) Omukadde ayinza atya okuteerawo ekisibo ekyokulabirako ekirungi? Lowooza ku bisaanyizo bibiri ow’oluganda “aluubirira omulimu gw’obulabirizi” by’alina okutuukiriza. Alina okuba ng’alina “endowooza ennuŋŋamu” era “ng’afuga bulungi amaka ge.” Omukadde bw’aba alina amaka, alina okuba ng’afuga bulungi ab’omu maka ge kubanga “omuntu bw’aba nga tamanyi ngeri ya kufugamu ba mu nnyumba ye, anaalabirira atya ekibiina kya Katonda?” (1 Tim. 3:1, 2, 4, 5) Okusobola okufuuka omukadde, ow’oluganda alina okuba n’endowooza ennuŋŋamu, kwe kugamba, alina okuba ng’ategeera bulungi emisingi egiri mu Bayibuli era ng’agikolerako mu bulamu bwe. Asigala nga mukkakkamu mu mbeera enzibu era asooka kufumiitiriza nga tannasalawo. Abakadde bwe booleka engeri ennungi kireetera ab’oluganda mu kibiina okubeesiga.

14 Abakadde era basobola okuteerawo abalala ekyokulabirako ekirungi nga batwala obukulembeze mu mulimu gw’okubuulira nga Yesu bwe yakola. Bwe yali ku nsi, Yesu yatwala omulimu gw’okubuulira nga mukulu nnyo. Yayigiriza abayigirizwa be engeri y’okukolamu omulimu ogwo. (Mak. 1:38; Luk. 8:1) Leero, ab’oluganda mu kibiina kibazzaamu amaanyi okubuulirako awamu n’abakadde, okulaba obunyiikivu bwe booleka nga bakola omulimu gw’okubuulira, n’okulaba engeri gye bayigirizaamu abalala Bayibuli. Abakadde bwe baba abanyiikivu mu mulimu gw’okubuulira wadde nga balina eby’okukola bingi, kikubiriza abalala mu kibiina nabo okuba abanyiikivu. Abakadde era basobola okuteerawo ab’oluganda ekyokulabirako ekirungi nga beeteekerateekera bulungi enkuŋŋaana, nga bazeenyigiramu, era nga beenyigira ne mu mirimu emirala, gamba ng’okulongoosa n’okulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka.​—Bef. 5:15, 16; soma Abebbulaniya 13:7.

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 30]

Abakadde bassaawo ekyokulabirako ekirungi mu mulimu gw’okubuulira (Laba akatundu 14)

‘MUYAMBE ABANAFU’

15. Lwaki abakadde basaanidde okukyalira bakkiriza bannaabwe?

15 Omusumba omulungi afuba okubaako ky’akolawo mu bwangu okuyamba endiga eba efunye obuvune oba eba erwadde. Mu ngeri y’emu, abakadde basaanidde okubaako kye bakolawo mu bwangu okuyamba ow’oluganda aba afunye ekizibu oba oyo aba yeetaaga okuyambibwa mu by’omwoyo. Abakadde kiyinza okubeetaagisa okukola ku byetaago by’omubiri ebya bannamukadde oba eby’abalwadde. Naye okusingira ddala beetaaga okukola ku byetaago by’abantu ng’abo eby’omwoyo. (1 Bas. 5:14) Abavubuka mu kibiina bayinza okuba nga boolekagana ‘n’okwegomba okw’omu buvubuka.’ (2 Tim. 2:22) Abakadde basobola okuyamba ab’oluganda mu kibiina nga bafunangayo ekiseera okubakyalira, ne bafuba okutegeera ebizibu bye boolekagana nabyo, era ne babazzaamu amaanyi nga bakozesa Ebyawandiikibwa. Singa abakadde babaako kye bakolawo mu bwangu okuyamba ab’oluganda, ebizibu bingi bisobola okwewalibwa.

16. Singa ow’oluganda aba alwadde mu by’omwoyo, kiki abakadde kye basobola okukola okumuyamba?

16 Watya singa ow’oluganda mu kibiina aba alwadde mu by’omwoyo era ng’enkolagana ye ne Yakuwa eri mu kabi? Yakobo yawandiika nti: “Waliwo omuntu yenna mu mmwe alwadde? Ayite abakadde b’ekibiina, bamusabire era bamusiigeko amafuta mu linnya lya Yakuwa. Era okusaba okw’okukkiriza kujja kuwonya omulwadde era Yakuwa ajja kumussuusa. Ate era bw’aba ng’alina ebibi bye yakola bijja kumusonyiyibwa.” (Yak. 5:14, 15) Abakadde bwe bakitegeerako nti waliwo omuntu “alwadde” mu by’omwoyo, basaanidde okubaako kye bakolawo mu bwangu okumuyamba ne bwe kiba nti ‘tabayise.’ Abakadde bwe basabira bakkiriza bannaabwe oba bwe basabirako awamu nabo era ne bafuba okubayamba, basobola okubazzaamu amaanyi ne basobola okweyongera okuweereza Yakuwa nga basanyufu.​—Soma Isaaya 32:1, 2.

17. Abakadde bwe bafuba okukoppa ‘omusumba omukulu,’ biki ebivaamu?

17 Abakadde bafuba okukoppa Yesu Kristo, ‘omusumba omukulu,’ mu buli kimu kye bakola mu kibiina kya Yakuwa. Bakola kinene nnyo mu kuyamba bakkiriza bannaabwe okwongera okunywera mu by’omwoyo n’okuweereza Yakuwa n’obwesigwa. Ebyo byonna bituleetera okusiima n’okutendereza Yakuwa, Omusumba waffe atageraageranyizika.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share