Okugondera Abasumba Abalabirira Ekisibo n’Okwagala
“Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga.”—ABAEBBULANIYA 13:17.
1, 2. Byawandiikibwa ki ebiraga nti Yakuwa ne Yesu Basumba balungi?
YAKUWA KATONDA n’Omwana we Yesu Kristo Basumba balungi. Isaaya yalagula nti: “Laba, Mukama Katonda alijja ng’ow’amaanyi, n’omukono gwe gulimufugira. . . . Aliriisa ekisibo kye ng’omusumba, alikuŋŋaanya abaana b’endiga mu mukono gwe, n’abasitula mu kifuba kye, aliyitiriza mpola ezo eziyonsa.”—Isaaya 40:10, 11.
2 Obunnabbi obwo obukwata ku kukomezebwawo bwasooka kutuukirizibwa ng’ensigalira y’Abayudaaya baakomawo e Yuda mu 537 B.C.E. (2 Ebyomumirembe 36:22, 23) Bwaddamu okutuukirizibwa Kuulo Asinga Obukulu, Yesu Kristo bwe yaggya ensigalira y’abaafukibwako amafuta mu “Babulooni Ekinene” mu 1919. (Okubikkulirwa 18:2; Isaaya 44:28) Oyo gwe ‘mukono’ Yakuwa gw’akozesa okufuga, ogukuŋŋaanya endiga awamu era ne guzirunda n’okwagala. Yesu yennyini yagamba nti: “Nze musumba omulungi: era ntegeera ezange, n’ezange zintegeera.”—Yokaana 10:14.
3. Yakuwa alaga atya nti afaayo ku ngeri endiga ze gye ziyisibwamu?
3 Obunnabbi obuli mu Isaaya 40:10, 11 bulaga nti Yakuwa alabirira bulungi endiga ze. (Zabbuli 23:1-6) Mu buweereza bwe obw’oku nsi, Yesu naye yalumirirwanga abayigirizwa be n’abantu bonna okutwalira awamu. (Matayo 11:28-30; Makko 6:34) Ate era Yakuwa ne Yesu baanenya abasumba oba abakulembeze mu Isiraeri abaayisanga obubi endiga zaabwe. (Ezeekyeri 34:2-10; Matayo 23:3, 4, 15) Yakuwa yasuubiza nti: “Kye ndiva mponya ekisibo kyange, so teziriba nate muyiggo; nange ndisala omusango ogw’ensolo n’ensolo. Era ndissaawo ku zo omusumba omu, naye alizirunda, omuddu wange Dawudi; alizirunda, era ye aliba omusumba waazo.” (Ezeekyeri 34:22, 23) Mu kiseera kino eky’enkomerero, Yesu Kristo, Dawudi Asinga Obukulu, ye ‘musumba omu’ Yakuwa gwe yalonda okulabirira abaweereza Be bonna ku nsi—Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’endiga endala.’—Yokaana 10:16.
Ebirabo Okuva mu Ggulu Biweebwa Ekibiina
4, 5. (a) Kirabo ki eky’omuwendo Yakuwa kye yawa abantu be ku nsi? (b) Kirabo ki Yesu kye yawa ekibiina kye?
4 Yakuwa bwe yateerawo abaweereza be ab’oku nsi “omusumba omu,” Yesu Kristo, yawa ekibiina Ekikristaayo ekirabo eky’omuwendo. Ekirabo kino eky’Omukulembeze ow’omu ggulu kyalagulwako mu Isaaya 55:4 awagamba nti: “Laba, mmuwaddeyo okuba omujulirwa eri amawanga, omukulu era omugabe eri amawanga.” Abakristaayo abaafukibwako amafuta ‘n’ab’ekibiina ekinene’ bakuŋŋaanyizibwa okuva mu buli ggwanga, ebika, abantu, n’ennimi. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 7:9) Abantu bano abava mu mawanga ag’enjawulo bali “ekisibo kimu,” wansi w’obukulembeze ‘bw’omusumba omu,’ Kristo Yesu.
5 Yesu naye yawa ekibiina kye ku nsi ekirabo eky’omuwendo. Yateekawo abasumba abeesigwa abaweerereza wansi w’obulagirizi bwe, abalabirira ekisibo n’okwagala nga bakoppa Yakuwa ne Yesu. Omutume Pawulo yayogera ku kirabo kino mu bbaluwa ye eri Abakristaayo mu Efeso. Yawandiika nti: “Bwe yalinnya waggulu, yatwala abasibe, n’awa ebirabo mu bantu. . . . N’awa abalala okubeera abatume, n’abalala bannabbi, n’abalala ababuulizi, n’abalala abalunda n’abayigiriza. Olw’okutereeza abatukuvu, olw’omulimu ogw’okuweereza, olw’okuzimba omubiri gwa Kristo.”—Abaefeso 4:8, 11, 12, NW.
6. Abalabirizi abaafukibwako amafuta abaali ku bukiiko bw’abakadde baayogerwako batya mu Okubikkulirwa 1:16, 20, era kiki ekiyinza okwogerwa ku bakadde ab’endiga endala?
6 “Ebirabo mu bantu” be balabirizi, oba abakadde, abalondebwa Yakuwa n’Omwana we okuyitira mu mwoyo omutukuvu, okulunda endiga n’okwagala. (Ebikolwa 20:28, 29) Mu kusooka, abakadde bano bonna baali basajja Abakristaayo abaafukibwako amafuta. Mu Okubikkulirwa 1:16, 20, abo abaali ku bukiiko bw’abakadde mu kibiina ky’abaafukibwako amafuta, mu ngeri ey’akabonero baayogerwako nga “bamalayika” oba “emmunnyeenye” eziri mu mukono gwa Kristo ogwa ddyo ekiraga nti bali mu buyinza bwe. Wabula mu kiseera kino eky’enkomerero, ng’omuwendo gw’abakadde abaafukibwako amafuta abakyaliwo ku nsi gugenda gukendeera, abakadde Abakristaayo abasinga obungi mu bibiina ba ndiga ndala. Bano nabo basobola okugambibwa nti bali wansi w’omukono ogwa ddyo (oba, wansi w’obulagirizi) ogw’Omusumba Omulungi, Yesu Kristo, olw’okuba balondebwa abo abakiikirira Akakiiko Akafuzi nga balagirirwa omwoyo omutukuvu. (Isaaya 61:5, 6) Olw’okuba abakadde mu bibiina byaffe bagondera Kristo, Omutwe gw’ekibiina, kitugwanira okukolagana obulungi nabo.—Abakkolosaayi 1:18.
Okuwulira n’Okugondera Abakadde
7. Kubuulirira ki omutume Pawulo kwe yawa okukwata ku ngeri gye twanditutemu abalabirizi Abakristaayo?
7 Abasumba baffe ab’omu ggulu, Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo, batusuubira okuwulira n’okugondera abakadde be bawadde obuvunaanyizibwa mu kibiina. (1 Peetero 5:5) Omutume Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Mujjukirenga abo abaabafuga, abaababuulira ekigambo kya Katonda; era nga mutunuulira enkomerero y’empisa zaabwe, mugobererenga okukkiriza kwabwe. Muwulirenga abo ababafuga mubagonderenga: kubanga abo batunula olw’obulamu bwammwe, ng’abaliwoza bwe baakola; balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.”—Abaebbulaniya 13:7, 17.
8. Kiki Pawulo ky’atukubiriza ‘okutunuulira,’ era tusaanidde kulaga tutya ‘obuwulize’?
8 Weetegereze nti Pawulo atukubiriza ‘okutunuulira’ oba okwetegereza obulungi, engeri ennungi abakadde gye beeyisaamu era tukoppe ekyokulabirako kyabwe eky’okukkiriza. Ate era, atukubiriza okuba abawulize n’okugondera obulagirizi bw’abakadde bano. Omwekenneenya wa Baibuli ayitibwa R. T. France annyonnyola nti mu Luyonaani olwasooka ekigambo ekivvuunulwa “muwulirenga” tekitera kutegeeza “buwulize,” naye “bwe kivvuunulwa obutereevu kitegeeza ‘okusikirizibwa,’ amakulu nti okukkiriza obukulembeze bwabwe kyeyagalire.” Ng’oggyeko okuwulira abakadde olw’okuba Ekigambo kya Katonda kitulagira, tusikirizibwa okukikola olw’okuba bye bakola babikola ku lw’Obwakabaka n’olw’obulungi bwaffe. Awatali kubuusabuusa tujja kuba basanyufu bwe tugondera obukulembeze bwabwe.
9. Ng’ogyeko okuba abawulize, lwaki kyetaagisa ‘okugondera’ abakadde?
9 Ate twandikoze ki singa tuwulira nti engeri abakadde gye baba bakuttemu ensonga si nnungi? Wano kiba kyetaagisiza okubagondera. Kyangu okuba abawulize nga buli kintu kigenda nga bwe twagala, naye ekinaalaga nti tugondera abakadde kwe kukolera ku bye baba basazeewo ka kibe nti tetutegedde nsonga lwaki basazeewo bwe batyo. Peetero, oluvannyuma eyafuuka omutume bw’atyo bwe yakola.—Lukka 5:4, 5.
Ensonga Nnya Lwaki Twandikolaganye Bulungi n’Abakadde
10, 11. Mu ngeri ki abalabirizi gye ‘baabuulira ekigambo kya Katonda’ Bakristaayo bannaabwe mu kyasa ekyasooka era bakikola batya leero?
10 Mu Abaebbulaniya 13:7, 17, eziragiddwa waggulu, omutume Pawulo awa ensonga nnya lwaki tusaanidde okuwulira n’okugondera abakadde Abakristaayo. Esooka eri nti ‘baatubuulira ekigambo kya Katonda.’ Jjukira nti “ebirabo mu bantu” Yesu abiwa ekibiina “olw’okutereeza abatukuvu.” (Abaefeso 4:11, 12) Yakozesa abasumba abeesigwa, ng’abamu ku bo baaluŋŋamizibwa n’okuwandiikira ebibiina amabaluwa, okutereeza endowooza n’enneeyisa y’Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka. Era yakozesa abalabirizi ng’abo abaalondebwa omwoyo okuwa obulagirizi n’okunyweza Abakristaayo abaasooka.—1 Abakkolinso 16:15-18; 2 Timoseewo 2:2; Tito 1:5.
11 Leero, Yesu atuwa obulagirizi okuyitira mu ‘muddu omwesigwa’ akiikirirwa Akakiiko Akafuzi, era n’okuyitira mu bakadde. (Matayo 24:45) Olw’okuba tussa ekitiibwa mu ‘musumba omukulu,’ Yesu Kristo, tuwuliriza okubuulirira kwa Pawulo eyagamba: “Okumanyanga [abo] abafuba okukola emirimu mu mmwe, ababafuga mu Mukama waffe, abababuulirira.”—1 Peetero 5:4; 1 Abasessaloniika 5:12; 1 Timoseewo 5:17.
12. Mu ngeri ki abalabirizi gye “batunula olw’obulamu [bwaffe]”?
12 Ensonga ey’okubiri lwaki tusaanidde okukolagana obulungi n’abalabirizi Abakristaayo eri nti “batunula olw’obulamu [bwaffe].” Singa batulabamu endowooza oba enneeyisa eyinza okuba ey’akabi gye tuli mu by’omwoyo, banguwa okutubuulirira nga bwe kiba kyetaagisa okusobola okututereeza. (Abaggalatiya 6:1) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okutunula’ butereevu kitegeeza “okusula nga teweebase.” Okusinziira ku mwekenneenya wa Baibuli omu, “kitegeeza omusumba asigala ng’atunula ekiseera kyonna.” Ng’oggyeko okuba nti balina okufuba okwenyweza mu by’omwoyo, abakadde oluusi babulwa n’otulo nga balowooza ku mbeera yaffe ey’ebyomwoyo. Tetwandikolaganye bulungi n’abasumba abakola kyonna kye basobola okulabirira obulungi endiga nga Yesu Kristo, “omusumba w’endiga omukulu” bw’akola?—Abaebbulaniya 13:20.
13. Abalabirizi n’Abakristaayo bonna bavunaanyizibwa eri ani era mu ngeri ki?
13 Ensonga ey’okusatu lwaki twandikolaganye bulungi n’abalabirizi eri nti batunula “ng’abaliwoza bwe baakola.” Abalabirizi bakijjukira nti baweerereza wansi w’obulagirizi bw’Abasumba ab’omu ggulu, Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (Ezeekyeri 34:22-24) Yakuwa ye Nnannyini ndiga, ze “yeegulira n’omusaayi [gw’Omwana we],” era abalabirizi bavunaanyizibwa eri Yakuwa ku ngeri gye bayisaamu ekisibo ekirina okulabirirwa mu ngeri ‘ey’obusaasizi.’ (Ebikolwa 20:28, 29) Bwe kityo, ffenna tuvunaanyizibwa eri Yakuwa ku ngeri gye tutwalamu obulagirizi bw’atuwa. (Abaruumi 14:10-12) Bwe tuwulira abakadde era kiba kiraga nti tugondera Kristo, Omutwe gw’ekibiina.—Abakkolosaayi 2:19.
14. Kiki ekiyinza okuviirako abalabirizi okukola emirimu gyabwe ‘n’okusinda,’ era kino kivaamu ki?
14 Pawulo yawa ensonga ey’okuna lwaki tusaanidde okugondera abalabirizi Abakristaayo. Yawandiika: “Balyoke bakolenga bwe batyo n’essanyu so si na kusinda: kubanga ekyo tekyandibagasizza mmwe.” (Abaebbulaniya 13:17) Abakadde Abakristaayo beetisse obuvunaanyizibwa obuzito omuli okuyigiriza, okulunda endiga, okuwoma omutwe mu kubuulira, okulabirira ab’omu maka gaabwe, n’okukola ku bizibu mu kibiina. (2 Abakkolinso 11:28, 29) Bwe tutakolagana bulungi nabo tuba twongera ku mugugu omuzito gwe beetisse. Kino kiyinza okubaleetera okukola emirimu gyabwe ‘n’okusinda,’ kinyiiza Yakuwa era naffe ebituviiramu biyinza obutaba birungi. Kyokka bwe tukolagana obulungi nabo, bajja kukola emirimu gyabwe n’essanyu, era kino kireetawo obumu n’essanyu nga tukola omulimu gw’okubuulira Obwakabaka.—Abaruumi 15:5, 6.
Okulaga nti Tuli Bawulize
15. Tusobola tutya okulaga nti tugondera era tuwuliriza abalabirizi?
15 Waliwo engeri nnyingi mwe tusobola okukolaganira obulungi n’abakadde. Abakadde bataddewo enteekateeka empya z’okugenda mu nnimiro ku nnaku n’ebiseera ebitali bya bulijjo, era nga kino kitwetaagisa okukyusakyusa mu biseera byaffe? Ka tufube okuwagira enteekateeka ng’ezo. Kino kijja kutuviiramu emikisa mingi. Tugenda kukyaza Omulabirizi w’obuweereza gye tukuŋŋaanira Okusoma Ekitabo okw’Ekibiina? Ka ffenna tufube nga bwe tusobola okwenyigira mu buweereza mu wiiki eyo. Tusabiddwa okuwa emboozi mu Ssomero ly’Omulimu gwa Katonda? Tusaanidde okufuba okubaawo tuwe emboozi eyo. Omulabirizi Akubiriza Okusoma Ekitabo atutegeezezaako nti ffe tulina enkizo ey’okuyonja Ekizimbe ky’Obwakabaka? Ka tukole kyonna kye tusobola okumuwagira okusinziira ku maanyi gaffe n’embeera y’obulamu bwaffe. Mu ngeri zino n’endala nnyingi, tulaga nti tugondera abasajja Yakuwa n’Omwana we be balonze okulabirira ekibiina.
16. Singa omukadde aba takoze bintu nga bwe kirina kuba, lwaki tekitegeeza nti tuba batuufu okumujeemera?
16 Ebiseera ebimu, omukadde ayinza obutakola bintu nga bwe kiragiddwa omuddu omwesigwa n’Akakiiko ke Akafuzi. Singa yeeyongera okukola bw’atyo, ajja kuvunaanyizibwa eri Yakuwa, ‘omusumba era omulabirizi w’obulamu bwaffe.’ (1 Peetero 2:25) Naye omukadde bw’akola ensobi tekitegeeza nti tuba batuufu okumujeemera. Yakuwa tawagira bajeemu.—Okubala 12:1, 2, 9-11.
Yakuwa Awa Omukisa Abo Abakolagana Obulungi n’Abakadde
17. Twanditutte tutya abalabirizi baffe?
17 Yakuwa Katonda amanyi nti abasajja b’alonda okuweereza ng’abalabirizi tebatuukiridde. Kyokka, abakozesa era okuyitira mu mwoyo gwe, alunda endiga ze ku nsi. Ekituufu kiri nti, abakadde—naffe ffenna—“amaanyi amangi ennyo” ge tukozesa ‘gava eri Katonda, so si eri ffe.’ (2 Abakkolinso 4:7) N’olwekyo, tusaanidde okwebaza Yakuwa olw’ebyo by’akola ng’ayitira mu bakadde abeesigwa, era tusaanidde okukolagana obulungi nabo.
18. Bwe tugondera abalabirizi baffe, mu butuufu tuba tukola ki?
18 Abalabirizi bafuba nnyo okutuukana n’ebisaanyizo by’abasumba Yakuwa balonda okulunda endiga ze mu nnaku ez’oluvannyuma, nga bwe tusoma mu Yeremiya 3:15 nti: “Ndibawa abasumba ng’omutima gwange bwe guli abalibaliisa n’okumanya n’okutegeera.” Awatali kubuusabuusa, abakadde be tulina bakola omulimu mulungi nnyo ogw’okuyigiriza n’okukuuma endiga za Yakuwa. Ka tweyongere okulaga akusiima kwaffe olw’omulimu gwabwe ogw’amaanyi nga tukolagana nabo, tubawulira era nga tubagondera. Bwe tunaakola bwe tutyo, tujja kuba tulaga nti tusiima Abasumba ab’omu ggulu, Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo.
Okwejjukanya
• Yakuwa ne Yesu Kristo bakiraze batya nti Basumba balungi?
• Ng’oggyeko okuwulira abalabirizi, lwaki kyetaagisa okubagondera?
• Mu ngeri ki ez’enjawulo mwe tuyinza okulagira nti tugondera abalabirizi?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 29]
Abakadde Abakristaayo bagondera obukulembeze bwa Kristo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 31]
Waliwo engeri nnyingi mwe tusobola okulagira nti tuli bawulize eri abakadde Yakuwa b’alonze