Kristo Akulembera Ekibiina Kye
“Laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”—MATAYO 28:20.
1, 2. (a) Bwe yali awa ekiragiro ky’okufuula abantu abayigirizwa, kiki Yesu azuukiziddwa kye yasuubiza abagoberezi be? (b) Yesu yakulembera atya ekibiina Ekikristaayo ekyasooka?
NGA tannagenda mu ggulu, Yesu Kristo Omukulembeze waffe eyali azuukiziddwa, yalabikira abayigirizwa be era n’abagamba: “Mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Kale mugende, mufuule amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n’Omwana n’[o]mwoyo [o]mutukuvu; nga mubayigiriza okukwata byonna bye nnabalagira mmwe: era, laba, nze ndi wamu nammwe ennaku zonna okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.”—Matayo 23:10, NW; 28:18-20.
2 Yesu yawa abayigirizwa be omulimu gw’okuwonya obulamu nga bafuula abantu abayigirizwa, ate era n’abasuubiza okubeera nabo. Ebyafaayo ebikwata ku Bakristaayo abaasooka ebiri mu kitabo ky’Ebikolwa by’Abatume, bikakasiza ddala nti Kristo yakozesa obuyinza obwamuweebwa okukulembera ekibiina Ekikristaayo ekyali kyakatandikibwawo. Yatuma “omubeezi” gwe yali asuubizza, kwe kugamba omwoyo omutukuvu—okuzzaamu amaanyi abagoberezi be n’okubawa obulagirizi mu mulimu gwabwe ogwo. (Yokaana 16:7; Ebikolwa 2:4, 33; 13:2-4; 16:6-10) Yesu eyali azuukiziddwa, yakozesa bamalayika okuyamba abayigirizwa be. (Ebikolwa 5:19; 8:26; 10:3-8, 22; 12:7-11; 27:23, 24; 1 Peetero 3:22) Ate era, Omukulembeze waffe yawa ekibiina obulagirizi ng’assaawo abasajja abaalina ebisaanyizo okuweereza ku kakiiko akafuzi.—Ebikolwa 1:20, 24-26; 6:1-6; 8:5, 14-17.
3. Bibuuzo ki ebigenda okukubaganyizibwako ebirowoozo mu kitundu kino?
3 Naye ate kiri kitya mu kiseera kyaffe, ekiseera eky’enkomerero y’enteekateeka y’ebintu’? Yesu Kristo akulembera atya ekibiina Ekikristaayo leero? Era tuyinza tutya okulaga nti tukkiriza obukulembeze obwo?
Mukama Waffe Alina Omuddu Omwesigwa
4. (a) Baani abayitibwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’? (b) Kiki Mukama ky’awadde omuddu we okulabirira?
4 Bwe yali awa obunnabbi obukwata ku kubeerawo kwe, Yesu yagamba: “Kale aluwa nate omuddu oyo omwesigwa era ow’amagezi, mukama we gwe yasigira ab’omu nju ye, okubawanga emmere yaabwe mu kiseera kyayo? Omuddu oyo alina omukisa, mukama we gw’alisanga ng’azze ng’akola bw’atyo. Mazima mbagamba nti alimusigira ebintu bye byonna.” (Matayo 24:45-47) ‘Mukama ono’ ye Mukulembeze waffe, Yesu Kristo, era alonze ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi,’ nga kino kye kibiina ky’Abakristaayo abaafukibwako amafuta abali ku nsi, okulabirira ebintu bye.
5, 6. (a) Mu kwolesebwa omutume Yokaana kwe yafuna, “ettabaaza omusanvu eza zaabu” ne “emmunyeenye omusanvu” bikiikirira ki? (b) “Emmunyeenye omusanvu” okubeera mu mukono gwa Yesu ogwa ddyo, kiraga ki?
5 Ekitabo ky’Okubikkulirwa kiraga nti omuddu omwesigwa era ow’amagezi ali wansi w’obuyinza bwa Yesu Kristo. Mu kwolesebwa okukwata ku “lunaku lwa Mukama waffe,” omutume Yokaana yalaba ‘ettabaaza musanvu eza zaabu, era ne wakati w’ettabaaza yalaba afaanana ng’omwana w’omuntu ng’akutte mu mukono gwe ogwa ddyo emmunyeenye musanvu.’ Yesu bwe yali annyonnyola Yokaana amakulu g’okwolesebwa okwo yagamba: “Ekyama ky’emmunyeenye omusanvu z’olabye mu mukono gwange ogwa ddyo n’ettabaza omusanvu eza zaabu [kye kino]: Emmunyeenye omusanvu be bamalayika b’ekkanisa omusanvu n’ettabaaza ze kkanisa omusanvu.”—Okubikkulirwa 1:1, 10-20.
6 “Ettabaaza omusanvu eza zaabu” zikiikirira ebibiina Ebikristaayo eby’amazima byonna ebiriwo mu “lunaku lwa Mukama waffe,” olwatandika mu mwaka 1914. Ate “emmunyeenye omusanvu”? Okusookera ddala, zaali zikiikirira abalabirizi bonna abaafukibwako amafuta abaali balabirira ebibiina by’omu kyasa ekyasooka.a Abalabirizi abo baali mu mukono gwa Yesu ogwa ddyo, kwe kugamba, wansi w’obulagirizi n’obuyinza bwe. Yee, Yesu Kristo ye yali akulembera ekibiina ky’omuddu omwesigwa kyonna. Kyokka, kati abalabirizi abaafukibwako amafuta abaliwo batono nnyo ddala. Kati olwo, obukulembeze bwa Kristo butuuka butya mu bibiina by’Abajulirwa ba Yakuwa ebisukka mu 93,000 okwetooloola ensi yonna?
7. (a) Yesu akozesa atya Akakiiko Akafuzi okukulembera ebibiina okwetooloola ensi yonna? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti abakadde Abakristaayo balondebwa omwoyo omutukuvu?
7 Nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, ekibiina ekitono eky’abasajja abalina ebisaanyizo okuva mu balabirizi abaafukibwako amafuta, kati baweereza ku Kakiiko Akafuzi, nga bakiikirira ekibiina kyonna eky’omuddu omwesigwa era ow’amagezi. Omukulembeze waffe akozesa Akakiiko ako Akafuzi okulonda abasajja abalina ebisaanyizo okuweereza ng’abakadde mu bibiina, ka babe nga baafukibwako amafuta oba nedda. Mu ngeri eyo, omwoyo omutukuvu, Yakuwa gwe yawa Yesu okukozesa, guba n’ekifo kikulu nnyo. (Ebikolwa 2:32, 33) Okusookera ddala, abakadde abo balina okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. (1 Timoseewo 3:1-7; Tito 1:5-9; 2 Peetero 1:20, 21) Okubasemba n’okubalonda kukolebwa oluvannyuma lw’okusaba era awamu n’obulagirizi bw’omwoyo omutukuvu. Ate era, abo ababa balondeddwa balina okwoleka ebibala by’omwoyo omutukuvu. (Abaggalatiya 5:22, 23) N’olwekyo, okubuulirira kwa Pawulo kukwata ku bakadde bonna, ka babe nga baafukibwako amafuta oba nedda: “Mwekuumenga mmwe mwekka n’ekisibo kyonna [o]mwoyo [o]mutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi.” (Ebikolwa 20:28) Abasajja abo ababa balondeddwa bafuna obulagirizi okuva eri Akakiiko Akafuzi era ne balabirira ekibiina awatali kuwalirizibwa. Mu ngeri eyo, Kristo aba ali naffe mu kiseera kino era ng’akulembera ekibiina.
8. Kristo akozesa atya bamalayika okukulembera abantu be?
8 Yesu era akozesa bamalayika bennyini okukulembera abagoberezi be leero. Okusinziira ku lugero lw’eŋŋaano ennungi n’eŋŋaano ey’omu nsiko, amakungula gandibaddewo ku ‘nkomerero y’embeera zino ez’ebintu.’ Ani Mukama waffe gwe yandikozesezza okukungula? Yesu yagamba nti ‘abakunguzi be bamalayika.’ Era yagattako bw’ati: “Omwana w’omuntu alituma bamalayika be, nabo baliggyamu mu bwakabaka bwe ebintu byonna ebyesittaza, n’abo abakola obubi.” (Matayo 13:37-41) Nga malayika bwe yalagirira Firipo n’asobola okuzuula Omuwesiyopya omulaawe, mu ngeri y’emu, waliwo obukakafu obulaga nti Kristo akozesa bamalayika okuwa Abakristaayo ab’amazima obulagirizi mu mulimu gwabwe ogw’okuzuula abantu ab’emitima emyesigwa.—Ebikolwa 8:26, 27; Okubikkulirwa 14:6.
9. (a) Kiki Kristo ky’akozesa okukulembera ekibiina Ekikristaayo leero? (b) Kibuuzo ki kye tulina okulowoozaako bwe tuba nga twagala okuganyulwa mu bukulembeze bwa Kristo?
9 Nga kizzaamu nnyo amaanyi okumanya nti Yesu Kristo akulembera abayigirizwa be okuyitira mu Kakiiko Akafuzi, omwoyo omutukuvu ne bamalayika! Ka kibeere nti abasinza ba Yakuwa abamu beesanga nga tebakyawuliziganya n’Akakiiko Akafuzi okumala akaseera olw’okuyigganyizibwa oba olw’ebizibu ebifaananako ebyo, Kristo asigala ng’abawa obulagirizi ng’akozesa omwoyo omutukuvu ne bamalayika. Kyokka, okusobola okuganyulwa mu bukulembeze bwe tuteekwa okubukkiriza. Tuyinza tutya okulaga nti tukkiriza obukulembeze bwa Kristo?
‘Mubagonderenga’
10. Tuyinza tutya okulaga nti tusiima abakadde mu kibiina?
10 Omukulembeze waffe awadde ebibiina ‘ebirabo mu bantu’—“abamu ng’ababuulizi, n’abalala abalunda n’abayigiriza.” (Abaefeso 4:8, 11, 12) Engeri gye tweyisaamu gye bali eraga obanga ddala tukkiriza obukulembeze bwa Kristo. Kiba kisaanira ‘okwebazanga’ abasajja abo abalina ebisaanyizo mu by’omwoyo Kristo b’atuwadde. (Abakkolosaayi 3:15) Era kitwetaagisa okubawa ekitiibwa. Omutume Pawulo yawandiika: “Abakadde abafuga obulungi basaanyizibwe okuweebwanga ekitiibwa emirundi ebiri, okusinga abafuba mu kigambo n’okuyigiriza.” (1 Timoseewo 5:17) Tuyinza tutya okulaga nti tusiima era nti tuwa ekitiibwa abakadde oba abalabirizi mu kibiina? Pawulo addamu: ‘Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga.’ (Abaebbulaniya 13:17) Yee, tulina okubagondera.
11. Lwaki bwe tuwa abakadde abali mu kibiina ekitiibwa tuba tukola ekituukagana n’okubatizibwa kwaffe?
11 Omukulembeze waffe atuukiridde. Naye abasajja b’atuwadde ng’ebirabo, bo tebatuukiridde. N’olw’ensonga eyo, ebiseera ebimu bayinza okukola ensobi. Kyokka, kikulu nnyo okweyongera okugondera enteekateeka ya Kristo. Mazima ddala, bwe tukola ebituukagana n’okwewaayo kwaffe era n’okubatizibwa, kiba kitegeeza nti tukkiriza era nti tugondera abo abaweereddwa obuyinza mu kibiina okuyitira mu mwoyo omutukuvu. Okubatizibwa mu ‘linnya ly’omwoyo omutukuvu’ kuba kulaga mu lujjudde nti tumanyi omwoyo omutukuvu era nti tukkiriza ekifo kye gulina mu bigendererwa bya Yakuwa. (Matayo 28:19) Okubatizibwa ng’okwo kulaga nti tukolaganira wamu n’omwoyo ogwo era nti tetukola kintu kyonna ekigugaana okukolera mu bagoberezi ba Kristo. Okuva omwoyo omutukuvu bwe gulina ekifo ekikulu ennyo mu kusemba n’okulonda abakadde, ddala tuyinza okutuukiriza okwewaayo kwaffe singa tetugondera bakadde abali mu kibiina?
12. Byakulabirako ki ebikwata ku kunyooma abo abalina obuyinza Yuda by’ayogerako, era bituyigiriza ki?
12 Mu Byawandiikibwa mulimu ebyokulabirako ebituyigiriza obukulu bw’okubeera abawulize. Bwe yali ng’ayogera ku abo abaali bavuma abakadde mu kibiina, omutume Yuda yayogera ku byokulabirako bisatu ebirimu okulabula ng’agamba: “Zibasanze! kubanga batambulira mu kkubo lya Kayini, ne baddukanira mu kukyama kwa Balamu olw’empeera, ne bab[u]lira mu kuwakana kwa Koola.” (Yuda 11) Kayini yanyooma okubuulirira kwa Yakuwa okw’okwagala era mu bugenderevu n’atemula muganda we. (Olubereberye 4:4-8) Balamu yagezaako okukolimira abantu ba Katonda olw’okwagala okufuna ssente wadde nga Katonda yamulabula enfunda n’enfunda. (Okubala 22:5-28, 32-34; Ekyamateeka 23:5) Koola yalina ekifo eky’ekitiibwa mu Isiraeri, naye teyali mumativu. Yaleetera abantu okujeemera Musa, omuweereza wa Katonda eyali asingayo okuba omuwombeefu mu nsi mu kiseera ekyo. (Okubala 12:3; 16:1-3, 32, 33) Kayini, Balamu ne Koola baafuna emitawaana egy’amaanyi. Ng’ebyokulabirako ebyo bituwa eky’okuyiga ekirungi ennyo eky’okuwuliriza okubuulirira kw’abo Yakuwa b’akozesa mu bifo eby’obuvunaanyizibwa era n’okubassaamu ekitiibwa!
13. Miganyulo ki nnabbi Isaaya gye yalagula egyandifuniddwa abo abagondera abakadde?
13 Ani atandyagadde kuganyulwa mu nteekateeka ennungi ey’obulabirizi Omukulembeze waffe gy’atadde mu kibiina Ekikristaayo? Nnabbi Isaaya yayogera ku miganyulo egivaamu bwe yagamba: “Laba, kabaka alifuga n’obutuukirivu, n’abakulu balifuga n’omusango. Era omuntu aliba ng’ekifo ky’okwekwekamu eri empewo, n’ekiddukiro eri kibuyaga; ng’emigga gy’amazzi mu kifo ekikalu, ng’ekisiikirize ky’olwazi olunene mu nsi ekooyesa.” (Isaaya 32:1, 2) Buli mukadde yandibadde ‘ng’ekifo’ ekyo eky’obukuumi. Wadde nga kiyinza okuba nga kitukaluubirira okugondera abalala, awamu n’okusaba, ka tufube okubeera abawulize era tugondere abo Katonda b’awadde obuyinza mu kibiina.
Engeri Abakadde Gye Bagonderamu Obukulembeze bwa Kristo
14, 15. Abo abatwala obukulembeze mu kibiina balaga batya nti bagondera obukulembeze bwa Kristo?
14 Buli Mukristaayo, n’okusingira ddala abakadde, asaanidde okugoberera obukulembeze bwa Kristo. Abalabirizi oba abakadde balina obuyinza obuwerako mu kibiina. Naye tebaagala ‘kufuga kukkiriza kw’abakkiriza bannaabwe’ nga bagezaako okufuga obulamu bwabwe. (2 Abakkolinso 1:24) Abakadde bagondera ebigambo bya Yesu: “Mumanyi ng’abaami b’amawanga babafuga, n’abakulu baabwe babatwala n’amaanyi. Tekiibenga bwe kityo mu mmwe.” (Matayo 20:25-27) Nga abakadde bafuba okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe, baba bayamba abalala mu bwesimbu.
15 Abakristaayo bakubirizibwa: “Mujjukirenga abo ababakulembera . . . era nga mutunuulira empisa zaabwe mukoppenga okukkiriza kwabwe.” (Abaebbulaniya 13:7, NW) Abakristaayo tebakola ekyo olw’okuba abakadde be bakulembeze. Yesu yagamba: “Omukulembeze wammwe ali omu, ye Kristo.” (Matayo 23:10, NW) Okukkiriza kw’abakadde kwe kusaanidde okukoppebwa kubanga bakoppa Omukulembeze waffe Kristo. (1 Abakkolinso 11:1) Weetegereze engeri ezimu abakadde mwe bagezaako okubeera nga Kristo nga bakolagana n’abalala mu kibiina.
16. Wadde nga yalina obuyinza bungi, Yesu yayisanga atya abagoberezi be?
16 Wadde nga Yesu yali asinga abantu abatatuukiridde mu buli ngeri yonna, era nga yalina obuyinza bungi nnyo okuva eri Kitaawe, yayisanga bulungi abayigirizwa be. Teyeeraga eri abo abaali bamuwuliriza olw’okumanya okungi ennyo kwe yalina. Yesu yalaga abayigirizwa be ekisa era n’afaayo nnyo ku byetaago byabwe. (Matayo 15:32; 26:40, 41; Makko 6:31) Teyasaba bayigirizwa be okukola ekyo kye baali batasobola. (Yokaana 16:12) Yesu yali “muteefu era muwombeefu.” N’olwekyo, tekyewuunyisa lwaki bangi baddamu amaanyi nga bali naye.—Matayo 11:28-30.
17. Abakadde bandiraze batya obuwombeefu ng’obwa Kristo nga bakolagana n’abalala mu kibiina?
17 Oba nga Kristo Omukulembeze yali muwombeefu, nga kyandibadde kisaanira n’okusingawo abo abatwala obukulembeze mu kibiina okubeera abawombeefu! Yee, basaanidde okwegendereza baleme okukozesa obubi obuyinza obubaweereddwa. Era ‘tebajja na maanyi mangi ag’ebigambo,’ okugezaako okuwuniikiriza abalala. (1 Abakkolinso 2:1, 2) Mu kifo ky’ekyo, bagezaako okwogera ebigambo ebituufu eby’omu Byawandiikibwa mu ngeri ennyangu era mu bwesimbu. Era, abakadde tebasuubira kisukkiridde okuva eri abalala era bafaayo ku byetaago by’abalala. (Abafiripi 4:5) Olw’okuba bamanyi nti obusobozi bwa buli muntu bulina we bukoma, ensonga eyo bagirowoozaako nga bakolagana ne baganda baabwe. (1 Peetero 4:8) Ddala abakadde abawombeefu era abakkakkamu tebazzaamu nnyo amaanyi? Mazima ddala bazzaamu.
18. Kiki abakadde kye bayinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yayisaamu abaana abato?
18 N’abaana abato baali basobola okutuukirira Yesu. Lowooza ku bigambo bye yayogera eri abayigirizwa be bwe baanenya abantu olw’okuba baali “bamuleetera abaana abato.” Yesu yagamba: “Mukkirize abaana abato bajje gye ndi; so temubagaana.” Oluvannyuma “n’abawambaatira, n’abawa omukisa, ng’abassaako emikono.” (Makko 10:13-16) Yesu yali musanyufu ng’ate wa kisa era abalala baasikirizibwanga okugendanga gy’ali. Abantu baali tebamutya. N’abaana abato baawuliranga bulungi okubeera waali. Abakadde nabo batuukirikika, era bwe balaga abalala omukwano n’ekisa, abantu abalala nga mw’otwalidde n’abaana abato, bawulira bulungi okubeera nabo.
19. Okubeera ‘n’endowooza ng’eya Kristo’ kizingiramu ki, era ekyo kyetaagisa kufuba kwa ngeri ki?
19 Abakadde gye bakoma okumanya Yesu Kristo, gye bakoma n’okumukoppa. Pawulo yabuuza: “Ani amanyi endowooza ya Yakuwa, alyoke amuyigirize?” Era yayongerako: “Naye ffe tulina [endowooza ya] Kristo.” (1 Abakkolinso 2:16) Okubeera n’endowooza ng’eya Kristo, kitwaliramu okumanya engeri gye yalowoozangamu era n’engeri ze, tulyoke tusobole okumanya kiki kye tusobola okukola mu mbeera ezimu. Teeberezaamu okumanya obulungi bw’otyo omukulembeze waffe! Ekyo kiba kitwetaagisa okumanya obulungi ebiri mu Njiri era nga tetwosa kufumiitiriza ku bulamu bwa Yesu n’ekyokulabirako kye. Abakadde bwe bafuba ennyo bwe batyo okugoberera obukulembeze bwa Kristo, abo abali mu kibiina nabo baba basobola okukoppa okukkiriza kwabwe. Era abakadde basanyuka bwe balaba abalala nga bagoberera ekyokulabirako ky’Omukulembeze waffe.
Weeyongere Okugondera Obukulembeze bwa Kristo
20, 21. Nga tulindirira ensi empya eyasuubizibwa, tusaanidde kubeera na bumalirivu ki?
20 Kikulu nnyo ffenna okweyongera okugondera obukulembeze bwa Kristo. Nga tusemberera enkomerero y’enteekateeka y’ebintu bino, embeera gye tulimu egeraageranyizibwa n’ey’Abaisiraeri nga bali ku Nsenyi za Mowaabu mu 1473 B.C.E. Baali ku njegoyego y’Ensi Ensuubize, era okuyitira mu nnabbi Musa, Katonda yagamba: “[Yoswa] oligenda n’abantu bano mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajja baabwe okubawa.” (Ekyamateeka 31:7, 8) Yoswa ye yali omukulembeze eyalondebwa. Okusobola okuyingira mu Nsi Ensuubize, kyali kyetaagisa Abaisiraeri okugondera obukulembeze bwa Yoswa.
21 Baibuli etugamba: “Omukulembeze wammwe ali omu, Kristo.” Kristo ye yekka ajja okusobola okututuusa mu nsi empya eyasuubizibwa obutuukirivu mwe bulituula. (2 Peetero 3:13) N’olwekyo, ka tubeere bamalirivu okugondera obukulembeze bwe mu mbeera zonna ez’obulamu bwaffe.
[Obugambo obuli wansi]
a Wano “emmunyeenye” tezikiikirira bamalayika bennyini. Kya lwatu, Yesu teyandikozesezza bantu okuwandiika obubaka bugende eri ebitonde ebitalabika. N’olwekyo, “emmunyeenye ziteekwa okuba nga zikiikirira abalabirizi oba abakadde mu bibiina abatwalibwa okuba ababaka ba Yesu. Okuba nti bali musanvu, kitegeeza obujjuvu okusinziira ku mutindo gwa Katonda.
Ojjukira?
• Kristo yakulembera atya ekibiina ekyasooka?
• Kristo akulembera atya ekibiina kye leero?
• Lwaki tusaanidde okugondera abo leero abatwala obukulembeze mu kibiina?
• Abakadde basobola batya okulaga nti Kristo ye Mukulembeze waabwe?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 15]
Kristo akulembera ekibiina kye era akutte abalabirizi mu mukono gwe ogwa ddyo
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 16]
‘Muwulirenga abo ababakulembera era mubagondere’
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 19]
Yesu yali musanyufu ng’era atuukirikika. Abakadde Abakristaayo bafuba okubeera nga ye