LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • Okubala 22
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

Ebirimu

      • Balaki agula Balamu (1-21)

      • Endogoyi ya Balamu eyogera (22-41)

Okubala 22:1

Marginal References

  • +Kbl 33:48

Okubala 22:2

Marginal References

  • +Yos 24:9; Bal 11:25

Okubala 22:3

Marginal References

  • +Kuv 15:15; Ma 2:25

Okubala 22:4

Marginal References

  • +Kbl 31:7, 8; Yos 13:15, 21

Okubala 22:5

Footnotes

  • *

    Kirabika, Omugga Fulaati.

Marginal References

  • +Ma 23:3, 4; Yos 13:22; 2Pe 2:15
  • +Lub 13:14, 16

Okubala 22:6

Marginal References

  • +Kbl 23:7; Yos 24:9; Nek 13:1, 2

Okubala 22:7

Marginal References

  • +2Pe 2:15; Yud 11

Okubala 22:9

Marginal References

  • +Kbl 22:20

Okubala 22:11

Marginal References

  • +Kbl 22:5, 6; 23:7, 11; 24:10

Okubala 22:12

Marginal References

  • +Lub 12:1-3; 22:15, 17; Ma 33:29

Okubala 22:18

Marginal References

  • +Kbl 24:13

Okubala 22:19

Marginal References

  • +Kbl 22:8

Okubala 22:20

Marginal References

  • +Kbl 22:35; 23:11, 12

Okubala 22:21

Footnotes

  • *

    Obut., “ndogoyi ye enkazi.”

Marginal References

  • +2Pe 2:15; Yud 11

Okubala 22:22

Indexes

  • Research Guide

    Omunaala gw’Omukuumi,

    8/1/2004, lup. 32

Okubala 22:28

Footnotes

  • *

    Obut., “n’aggula akamwa k’endogoyi enkazi.”

Marginal References

  • +2Pe 2:15, 16
  • +Kbl 22:32

Okubala 22:31

Marginal References

  • +2Sk 6:17

Okubala 22:32

Marginal References

  • +Kbl 22:12; 2Pe 2:15, 16

Okubala 22:33

Marginal References

  • +Kbl 22:23, 25, 27

Okubala 22:37

Marginal References

  • +Kbl 22:16, 17; 24:10, 11

Okubala 22:38

Marginal References

  • +Kbl 23:26; 24:13

Okubala 22:41

Marginal References

  • +Kbl 23:13, 14

General

Kubal. 22:1Kbl 33:48
Kubal. 22:2Yos 24:9; Bal 11:25
Kubal. 22:3Kuv 15:15; Ma 2:25
Kubal. 22:4Kbl 31:7, 8; Yos 13:15, 21
Kubal. 22:5Ma 23:3, 4; Yos 13:22; 2Pe 2:15
Kubal. 22:5Lub 13:14, 16
Kubal. 22:6Kbl 23:7; Yos 24:9; Nek 13:1, 2
Kubal. 22:72Pe 2:15; Yud 11
Kubal. 22:9Kbl 22:20
Kubal. 22:11Kbl 22:5, 6; 23:7, 11; 24:10
Kubal. 22:12Lub 12:1-3; 22:15, 17; Ma 33:29
Kubal. 22:18Kbl 24:13
Kubal. 22:19Kbl 22:8
Kubal. 22:20Kbl 22:35; 23:11, 12
Kubal. 22:212Pe 2:15; Yud 11
Kubal. 22:282Pe 2:15, 16
Kubal. 22:28Kbl 22:32
Kubal. 22:312Sk 6:17
Kubal. 22:32Kbl 22:12; 2Pe 2:15, 16
Kubal. 22:33Kbl 22:23, 25, 27
Kubal. 22:37Kbl 22:16, 17; 24:10, 11
Kubal. 22:38Kbl 23:26; 24:13
Kubal. 22:41Kbl 23:13, 14
  • Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
  • 1
  • 2
  • 3
  • 4
  • 5
  • 6
  • 7
  • 8
  • 9
  • 10
  • 11
  • 12
  • 13
  • 14
  • 15
  • 16
  • 17
  • 18
  • 19
  • 20
  • 21
  • 22
  • 23
  • 24
  • 25
  • 26
  • 27
  • 28
  • 29
  • 30
  • 31
  • 32
  • 33
  • 34
  • 35
  • 36
  • 37
  • 38
  • 39
  • 40
  • 41
Bayibuli Enkyusa ey’Ensi Empya
Okubala 22:1-41

Okubala

22 Awo Abayisirayiri ne bava eyo ne basiisira mu ddungu lya Mowaabu emitala wa Yoludaani ng’otunudde e Yeriko.+ 2 Awo Balaki+ mutabani wa Zipoli n’alaba byonna Isirayiri bye yali akoze Abaamoli. 3 Mowaabu n’atya nnyo olw’okuba abantu baali bangi; Mowaabu n’atekemuka olw’Abayisirayiri.+ 4 Mowaabu n’agamba abakadde ba Midiyaani+ nti: “Ekibiina kino kijja kulya era kisaanyeewo byonna ebitwetoolodde, ng’ente bw’erya n’esaanyaawo omuddo ogw’oku ttale.”

Balaki mutabani wa Zipoli ye yali kabaka wa Mowaabu mu kiseera ekyo. 5 Awo n’atuma ababaka eri Balamu mutabani wa Byoli e Pesoli+ ekiri okumpi n’Omugga* ogw’omu nsi y’ewaabwe. Yamuyita ng’amugamba nti: “Waliwo abantu abavudde e Misiri ababuutikidde ensi,+ era bali mu maaso gange wennyini. 6 Nkwegayiridde jjangu onnyambe okolimire abantu bano+ kubanga bansinga amaanyi; oboolyawo nnaasobola okubawangula ne mbagoba mu nsi. Kubanga nkimanyi nti oyo gw’owa omukisa aba n’omukisa era oyo gw’okolimira aba akolimiddwa.”

7 Awo abakadde ba Mowaabu n’abakadde ba Midiyaani ne batwala bye banaasasulira okulagulibwa ne bagenda eri Balamu+ ne bamubuulira ebigambo bya Balaki. 8 Balamu n’abagamba nti: “Musule wano ekiro kya leero, nange nja kubabuulira kyonna Yakuwa ky’anaŋŋamba.” Bwe batyo abaami ba Mowaabu ne basula ewa Balamu.

9 Katonda n’ajja eri Balamu n’amubuuza nti:+ “Abasajja bano abali naawe be baani?” 10 Balamu n’agamba Katonda ow’amazima nti: “Balaki mutabani wa Zipoli, kabaka wa Mowaabu, ampeerezza obubaka ng’agamba nti, 11 ‘Waliwo abantu abavudde e Misiri ababuutikidde ensi. Jjangu onnyambe obakolimire,+ oboolyawo nnaasobola okubalwanyisa ne mbagobamu.’” 12 Naye Katonda n’agamba Balamu nti: “Togenda nabo era tokolimira bantu abo kubanga baaweebwa omukisa.”+

13 Awo Balamu bwe yagolokoka enkeera n’agamba abaami ba Balaki nti: “Muddeeyo mu nsi yammwe kubanga Yakuwa aŋŋaanye okugenda nammwe.” 14 Abaami ba Mowaabu ne baddayo eri Balaki ne bamugamba nti: “Balamu agaanye okujja naffe.”

15 Kyokka Balaki n’addamu n’atuma abaami bangi okusinga abaasooka era nga ba kitiibwa okubasinga. 16 Ne bagenda eri Balamu ne bamugamba nti: “Bw’ati Balaki mutabani wa Zipoli bw’agamba, ‘Nkwegayiridde tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kujja gye ndi. 17 Nja kukugulumiza nnyo, era kyonna ky’onoŋŋamba nja kukikola. Nkwegayiridde jjangu onnyambe okolimire abantu bano.’” 18 Naye Balamu n’agamba abaweereza ba Balaki nti: “Balaki ne bw’aba wa kumpa nnyumba ye ng’ejjudde ffeeza ne zzaabu, sisobola kukola kintu kyonna Yakuwa Katonda wange ky’atalagidde, ka kibe kitono oba kinene.+ 19 Nammwe musule wano ekiro kya leero mmale okumanya Yakuwa ky’anaŋŋamba nate.”+

20 Katonda n’ajja eri Balamu ekiro n’amugamba nti: “Abasajja bano bwe baba nga bakukimye, genda nabo. Naye ebyo byokka bye nnaakugamba by’ojja okwogera.”+ 21 Awo Balamu n’agolokoka ku makya n’ateeka amatandiiko ku ndogoyi ye* n’agenda n’abaami ba Mowaabu.+

22 Katonda n’asunguwala nnyo olw’okuba Balamu yali agenda, era malayika wa Yakuwa n’ayimirira mu kkubo okumuziyiza. Balamu yali yeebagadde endogoyi ye, era nga n’abaweereza be babiri bali naye. 23 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Yakuwa ng’ayimiridde mu kkubo ng’asowoddeyo ekitala kye, n’egezaako okukyama okuva mu kkubo egende ku ttale, naye Balamu n’atandika okugikuba edde mu kkubo. 24 Awo malayika wa Yakuwa n’ayimirira mu kkubo effunda eryali wakati w’ennimiro z’emizabbibu ng’eruuyi n’eruuyi eriyo ekisenge eky’amayinja. 25 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Yakuwa, ne yeenyigiriza ku kisenge era n’enyigiriza n’ekigere kya Balamu ku kisenge. Balamu n’addamu okugikuba.

26 Malayika wa Yakuwa ne yeeyongerayo mu maaso n’ayimirira awafunda ennyo awaali watayinza kukyukirwa ku ddyo oba ku kkono. 27 Endogoyi bwe yalaba malayika wa Yakuwa, n’etuula wansi nga Balamu agituddeko; Balamu n’asunguwala, n’agikuba n’omuggo gwe. 28 Oluvannyuma Yakuwa n’asobozesa endogoyi okwogera,*+ n’egamba Balamu nti: “Nkukoze ki okunkuba emirundi gino esatu?”+ 29 Balamu n’agamba endogoyi nti: “Kubanga onfudde ng’omusiru. Era mba kuba na kitala mu mukono gwange, nnandikusse!” 30 Awo endogoyi n’egamba Balamu nti: “Si nze ndogoyi yo gy’obadde weebagala obulamu bwo bwonna n’okutuusa leero? Nnali nkuyisizzaako bwe nti?” N’agiddamu nti: “Nedda!” 31 Awo Yakuwa n’azibula amaaso ga Balamu,+ n’alaba malayika wa Yakuwa ng’ayimiridde mu kkubo ng’asowoddeyo ekitala kye. Amangu ago n’akka ku maviivi n’avunnama wansi.

32 Awo malayika wa Yakuwa n’amugamba nti: “Lwaki okubye endogoyi yo emirundi gino esatu? Laba! Nzize okukuziyiza kubanga ekkubo ly’okutte likontana n’ekigendererwa kyange.+ 33 Endogoyi yandabye n’egezaako okunneebalama emirundi gino esatu.+ Singa teyanneebalamye, nnandibadde nkusse naye yo ne ngireka.” 34 Awo Balamu n’agamba malayika wa Yakuwa nti: “Nnyonoonye; mbadde simanyi nti ggwe obadde oyimiridde mu kkubo okunsisinkana. Kale bwe kiba nga kibi mu maaso go, ka nzireyo.” 35 Naye malayika wa Yakuwa n’agamba Balamu nti: “Genda n’abasajja abo, naye ebyo byokka bye nnaakugamba by’ojja okwogera.” Awo Balamu ne yeeyongerayo n’abaami ba Balaki.

36 Balaki bwe yawulira nti Balamu azze, amangu ago n’agenda okumusisinkana mu kibuga kya Mowaabu ekiri ku lubalama lwa Alunoni, ku nsalo y’ensi eyo. 37 Awo Balaki n’agamba Balamu nti: “Lwaki nnakutumya n’otojja? Wali olowooza nti sisobola kukugulumiza nnyo?”+ 38 Balamu n’agamba Balaki nti: “Nzuuno kaakano nzize gy’oli. Naye nnakkirizibwa okwogera ekintu kyonna? Ebigambo Katonda by’ateeka mu kamwa kange bye byokka bye nsobola okwogera.”+

39 Awo Balamu n’agenda ne Balaki ne batuuka e Kiriyasi-kuzosi. 40 Balaki n’asaddaaka ente n’endiga n’awaako Balamu n’abaami be yali nabo. 41 Awo ku makya Balaki n’atwala Balamu e Bamosi-bbaali. Nga Balamu ali eyo, yali asobola okulaba abantu bonna.+

Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
Log Out
Log In
  • Luganda
  • Share
  • Preferences
  • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
  • Obukwakkulizo
  • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
  • Privacy Settings
  • JW.ORG
  • Log In
Share