Gondera Abasumba Yakuwa b’alonze
“Muwulirenga abo ababakulembera era mubagonderenga, kubanga batunula olw’obulamu bwammwe.”—BEB. 13:17.
1, 2. Lwaki Yakuwa yeegeraageranya ku musumba?
YAKUWA yeegeraageranya ku musumba. (Ezk. 34: 11-14) Ekyo kituyamba okutegeera obulungi Yakuwa. Omusumba omulungi afaayo nnyo ku ndiga ze. Azitwala awali omuddo omulungi n’amazzi amalungi (Zab. 23:1, 2); azikuuma emisana n’ekiro (Luk. 2:8); azitaasa ebisolo ebiyinza okuzirya (1 Sam. 17:34, 35) asitula obuliga obuto (Is. 40:11); anoonya ezo eziba zibuze era ajjanjaba ezo eziba zimenyese.—Ezk. 34:16.
2 Mu biseera by’edda, abantu ba Yakuwa abasinga obungi baali balunzi era nga balimi. Bwe kityo baategeera bulungi ensonga lwaki Yakuwa yeegeraageranya ku musumba. Baali bakimanyi bulungi nti endiga bwe ziba ez’okukula obulungi, zeetaaga okulabirirwa obulungi. Mu ngeri y’emu abantu beetaaga okulabirirwa n’okufuna obulagirizi obuva eri Katonda. (Mak. 6:34) Singa abantu tebalabirirwa bulungi era singa tebafuna bulagirizi buva eri Yakuwa, obulamu bwabwe tebusobola kuba bulungi. Basobola okusaasaana “ng’endiga ezitalina musumba.” (1 Bassek. 22:17) Naye Yakuwa alabirira bulungi abantu be.
3. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?
3 Ne leero Yakuwa akiraze nti musumba mulungi. Yakuwa alabirira bulungi endiga ze. Mu kitundu kino tugenda kulaba engeri Yakuwa gy’alabiriramu endiga ze n’engeri gy’aziwaamu obulagirizi. Era tugenda kulaba ekyo endiga kye zisaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu bulagirizi Yakuwa bw’aziwa.
OMUSUMBA OMULUNGI ALONZE ABASUMBA MU KIBIINA
4. Yesu alabirira atya endiga za Yakuwa?
4 Yakuwa yalonda Yesu okuba Omutwe gw’Ekibiina Ekikristaayo. (Bef. 1:22, 23) Okufaananako Kitaawe, Yesu “omusumba omulungi,” ayagala nnyo endiga era azifaako nnyo. Yatuuka ‘n’okuwaayo obulamu bwe ku lw’endiga.’ (Yok. 10:11, 15) Mu butuufu, ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo kirabo kya muwendo nnyo eri abantu! (Mat. 20:28) Yakuwa ayagala “buli muntu yenna [akkiririza mu Yesu] aleme okuzikirira naye afune obulamu obutaggwaawo.”—Yok. 3:16.
5, 6. (a) Baani Yesu b’alonze okulabirira endiga ze, era kiki endiga kye zisaanidde okukola okusobola okuganyulwa mu nteekateeka eyo? (b) Ensonga esingayo obukulu lwaki tusaanidde okugondera abakadde y’eruwa?
5 Endiga ziraga zitya nti Yesu Kristo ye Musumba waazo? Yesu yagamba nti: “Endiga zange ziwulira eddoboozi lyange, nzimanyi, era zingoberera.” (Yok. 10:27) Endiga ziwulira eddoboozi ly’Omusumba Omulungi nga zikolera ku bulagirizi bwonna bw’aziwa. Ekyo kizingiramu okukolagana obulungi n’abasumba mu kibiina. Yesu yakiraga nti abatume be n’abayigirizwa be baali ba kugenda mu maaso n’omulimu gwe yali atandise. Baalina ‘okuyigiriza’ ‘n’okuliisa endiga za Yesu.’ (Mat. 28:20; soma Yokaana 21:15-17.) Amawulire amalungi bwe geeyongera okusaasaana era omuwendo gw’abayigirizwa ne gweyongera obungi, Yesu yakola enteekateeka okulaba nti wabaawo abasumba abakuze mu by’omwoyo okulabirira ekibiina.—Bef. 4:11, 12.
6 Bwe yali ayogera eri abakadde b’omu kibiina ky’Efeso, omutume Pawulo yabagamba nti omwoyo omutukuvu gwe gwabalonda ‘okulunda ekibiina kya Katonda.’ (Bik. 20:28) Ne leero abakadde mu kibiina omwoyo omutukuvu gwe gubalonda. Ekyo kiri kityo kubanga balondebwa oluvannyuma lw’okutuukiriza ebisaanyizo ebiri mu Kigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa omwoyo omutukuvu. N’olwekyo, bwe tugondera abakadde mu kibiina, tuba tukiraga nti tussa ekitiibwa mu Yakuwa ne Yesu, Abasumba abakulu. (Luk. 10:16) Mu butuufu eyo ye nsonga esingayo obukulu lwaki tusaanidde okugondera abakadde. Kyokka waliwo n’ensonga endala lwaki tusaanidde okubagondera.
7. Abakadde bakuyamba batya okusigala ng’olina enkolagana ennungi ne Yakuwa?
7 Obulagirizi abakadde bwe bawa bakkiriza bannaabwe babwesigamya ku Byawandiikibwa oba ku misingi egiri mu Byawandiikibwa. Abakadde tebaagala kusalirawo bakkiriza bannaabwe ngeri gye basaanidde kutambuzaamu bulamu bwabwe. (2 Kol. 1:24) Mu kifo ky’ekyo, baagala okuyamba bakkiriza bannaabwe okusalawo obulungi nga basinziira ku misingi gya Bayibuli. Mu kukola ekyo, abakadde bayamba ekibiina okubaamu emirembe n’okuba obumu. (1 Kol. 14:33, 40) Abakadde ‘batunula olw’obulamu bwaffe’ mu ngeri nti baagala okuyamba buli muntu mu kibiina okusigala ng’alina enkolagana ennungi ne Yakuwa. Bwe bamanya nti mukkiriza munnaabwe akutte “ekkubo ekkyamu” oba ng’anaatera okulikwata, basitukiramu okumuyamba. (Bag. 6:1, 2; Yud. 22) Tewali kubuusabuusa nti tulina ensonga nnyingi ezandituleetedde ‘okugondera abo abatukulembera.’—Soma Abebbulaniya 13:17.
8. Abakadde bakuuma batya ekisibo kya Katonda?
8 Omutume Pawulo, nga naye yali aweereza ng’omusumba, yawandiikira ab’oluganda mu kibiina ky’e Kkolosaayi n’abagamba nti: “Mwegendereze: oboolyawo wayinza okubaawo omuntu ababuzaabuza ng’akozesa obufirosoofo n’eby’obulimba ebitaliimu ebyesigamiziddwa ku bulombolombo bw’abantu n’ebintu eby’omu nsi ebisookerwako so si ku Kristo.” (Bak. 2:8) Ebigambo ebyo bituyamba okulaba ensonga endala lwaki tusaanidde okukolera ku bulagirizi obwesigamiziddwa ku Byawandiikibwa abakadde bwe batuwa. Abakadde bakuuma bakkiriza bannaabwe baleme okutwalirizibwa abantu abaagala okunafuya okukkiriza kwabwe. Omutume Peetero yalabula ku “bannabbi ab’obulimba” ne ku ‘bayigiriza ab’obulimba’ abandigezezzaako ‘okusendasenda abatali banywevu’ okukola ebintu ebibi. (2 Peet. 2:1, 14) Ne leero, abakadde basaanidde okulabula bakkiriza bannaabwe ku bantu ng’abo bwe kiba kyetaagisa. Olw’okuba abakadde bakulu mu by’omwoyo, balina obumanyirivu bungi. Ate era bwe baali tebannalondebwa kuweereza ng’abakadde, baakiraga nti bategeera bulungi Ebyawandiikibwa era nti basobola bulungi okuyigiriza abalala ebigambo eby’obulamu. (1 Tim. 3:2; Tit. 1:9) Okuba nti abakadde bakulu mu by’omwoyo, balina obumanyirivu bungi, era bategeera bulungi Ebyawandiikibwa, basobola bulungi okulabirira ekisibo.
Ng’omusumba bw’akuuma ekisibo, abakadde bakuuma endiga ezaabakwasibwa (Laba akatundu 8)
OMUSUMBA OMULUNGI ALIISA ERA ALABIRIRA ENDIGA
9. Yesu awa atya ekibiina obulagirizi, era akiriisa atya?
9 Okuyitira mu kibiina kye, Yakuwa awa abaweereza be bonna okwetooloola ensi emmere ey’eby’omwoyo mu bungi. Tufuna obulagirizi bungi okuyitira mu bitabo byaffe ebinnyonnyola Bayibuli. Ate oluusi, ekibiina kya Yakuwa kiwa abakadde mu kibiina obulagirizi okuyitira mu mabaluwa oba okuyitira mu balabirizi abakyalira ebibiina. Mu ngeri eyo, endiga zifuna obulagirizi obwesigika.
10. Kiki abakadde kye bayinza okukola okuyamba abo ababa bavudde mu kisibo?
10 Abakadde balina obuvunaanyizibwa obw’okukuuma n’okulabirira endiga era bafaayo nnyo ku abo ababa banafuye mu by’omwoyo oba abo ababa bakoze ensobi ez’amaanyi. (Soma Yakobo 5:14, 15.) Abamu bayinza okuba nga bakutte ekkubo ekyamu era nga balekedde awo okuweereza Yakuwa. Mu mbeera ng’eyo, kiki omukadde ky’ayinza okukola? Akola kyonna ekisoboka okuyamba endiga eba ebuze okudda mu kisibo, oba mu kibiina. Yesu yagamba nti: “Kitange ali mu ggulu tayagala wadde omu ku bato bano azikirire.”—Mat. 18:12-14.
TWANDITUTTE TUTYA ENSOBI ABASUMBA MU KIBIINA ZE BAKOLA?
11. Lwaki abantu abamu bakisanga nga kizibu okukolera ku bulagirizi abakadde bwe babawa?
11 Yakuwa ne Yesu basumba abatuukiridde. Kyokka abasumba be balonze okulabirira ekibiina bo tebatuukiridde. Ekyo kiyinza okukifuula ekizibu eri abamu mu kibiina okukolera ku bulagirizi abakadde bwe babawa. Abantu ng’abo bayinza okugamba nti: ‘Abakadde nabo tebatuukiridde. Lwaki twandikoledde ku bulagirizi bwe batuwa?’ Wadde ng’abakadde tebatuukiridde, tusaanidde okutunuulira ensobi zaabwe n’obunafu bwabwe mu ngeri entuufu.
12, 13. (a) Nsobi ki abamu ku abo Yakuwa be yakozesanga okukulembera abantu be ze baakola? (b) Lwaki ensobi z’abamu ku abo Yakuwa be yakozesanga okukulembera abantu be zaawandiikibwa mu Bayibuli?
12 Ebyawandiikibwa byogera ku nsobi z’abamu ku abo Yakuwa be yakozesanga okukulembera abantu be mu biseera by’edda. Ng’ekyokulabirako, Dawudi yafukibwako amafuta okuba kabaka era omukulembeze mu Isiraeri. Kyokka, lumu yayenda ku muka musajja era n’atta ne bbaawe. (2 Sam. 12:7-9) Ate lowooza ku mutume Peetero. Wadde nga yali akwasiddwa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi mu kibiina Ekikristaayo mu kyasa ekyasooka, naye yakola ensobi ez’amaanyi. (Mat. 16:18, 19; Yok. 13:38; 18:27; Bag. 2:11-14) Okuviira ddala ku Adamu ne Kaawa, ku nsi tekubangako muntu mulala mutuukirivu okuggyako Yesu.
13 Lwaki ensobi z’abamu ku abo Yakuwa be yakozesanga okukulembera abantu be zaawandiikibwa mu Bayibuli? Ensonga emu eri nti Katonda yali ayagala okulaga nti asobola okukozesa abantu abatatuukiridde okukulembera abantu be. Era ekyo bulijjo abadde akikola. N’olwekyo, tetusaanidde kwemulugunya oba okugaana okukolera ku bulagirizi abakadde bwe batuwa olw’okuba bakola ensobi. Yakuwa ayagala tubagondere era tubasseemu ekitiibwa.—Soma Okuva 16:2, 8.
14, 15. Kiki kye tuyigira ku ngeri Yakuwa gye yawangamu abantu be obulagirizi mu biseera by’edda?
14 Kikulu nnyo leero okugondera abakadde. Lowooza ku ngeri Yakuwa gye yawangamu abantu be ab’edda obulagirizi mu biseera ebizibu. Ng’ekyokulabirako, Abaisiraeri bwe baali mu Misiri, Katonda yakozesa Musa ne Alooni okubawa obulagirizi. Okusobola okuwona ekibonyoobonyo eky’ekkumi, Abaisiraeri baalina okukolera ku bulagirizi obukwata ku kulya ekijjulo eky’enjawulo n’okusiiga omusaayi gw’endiga ku nzigi ne ku mifuubeeto gy’ennyumba zaabwe. Obulagirizi obwo Abaisiraeri tebaabufuna butereevu kuva eri Yakuwa, wabula baalina okuwuliriza abakadde ba Isiraeri abaali bafunye obulagirizi okuva eri Musa. (Kuv. 12:1-7, 21-23, 29) Bwe kityo, Yakuwa yakozesa Musa n’abakadde ba Isiraeri okuwa abantu be obulagirizi. Ne leero, Yakuwa akozesa abakadde mu kibiina okuwa abantu be obulagirizi.
15 Oyinza okulowoozaayo ne ku mirundi emirala mu Bayibuli Yakuwa lwe yakozesa abantu oba bamalayika okutuusa obubaka ku bantu be obwandibayambye okuwonawo. Mu mbeera ezo zonna, Katonda yasalawo okukozesa abalala okumukiikirira. Tusuubira nti Yakuwa ajja kukola kye kimu okuwa abantu be obulagirizi ku Kalumagedoni. Kya lwatu nti abakadde abaweereddwa obuvunaanyizibwa okukiikirira Yakuwa oba ekibiina kye balina okwegendereza okulaba nti tebakozesa bubi buyinza bubaweereddwa.
“EKISIBO KIMU, WANSI W’OMUSUMBA OMU”
16. ‘Kigambo’ ki kye tulina okuwuliriza?
16 Abantu ba Yakuwa bali mu ‘kisibo kimu, wansi w’omusumba omu,’ Yesu Kristo. (Yok. 10:16) Yesu yalaga nti yandibadde wamu n’abayigirizwa be “ennaku zonna okutuusa ku mafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu.” (Mat. 28:20) Nga Kabaka ow’omu ggulu, Yesu alina obuyinza ku bintu byonna nga bwe bigenda okuddiriŋŋana ensi ya Sitaani eryoke ezikirizibwe. Okusobola okusigala mu kisibo kya Katonda nga tuli bumu era nga tulina obukuumi, tulina okuwuliriza ‘ekigambo ekituvaako ennyuma,’ ekitulaga ekkubo ery’okugoberera. “Ekigambo” ekyo bye bintu ebyaluŋŋamizibwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu ebiri mu Bayibuli awamu n’ebyo Yakuwa ne Yesu bye batubuulira okuyitira mu basumba be balonze.—Soma Isaaya 30:21; Okubikkulirwa 3:22.
Abakadde bafuba okuyamba amaka omuli omuzadde omu okwewala ebintu ebyonoona ebya buli ngeri (Laba akatundu 17, 18)
17, 18. (a) Mulabe ki abantu ba Katonda gwe balina, naye tuli bakakafu ku ki? (b) Kiki kye tujja okuyiga mu kitundu ekiddako?
17 Bayibuli egamba nti: “Sitaani atambulatambula ng’empologoma ewuluguma, ng’anoonya gw’anaalya.” (1 Peet. 5:8) Okufaananako ensolo enkambwe, Sitaani ayagala okukwasa endiga yonna enafuye oba ewabye. Eyo ye nsonga lwaki bulijjo tusaanidde okwekuumira mu kisibo n’okubeera okumpi ‘n’omusumba era omulabirizi w’obulamu bwaffe.’ (1 Peet. 2:25) Nga woogera ku abo abanaawonawo mu kibonyoobonyo ekinene, Okubikkulirwa 7:17 wagamba nti: “Omwana gw’Endiga [Yesu] . . . alibalunda era alibatwala eri ensulo ez’amazzi ag’obulamu. Era Katonda alisangula buli zziga mu maaso gaabwe.” Ng’ekisuubizo ekyo kirungi nnyo!
18 Obuvunaanyizibwa abakadde bwe balina obw’okulunda ekibiina bwa maanyi nnyo. Naye abakadde bayinza batya okulabirira obulungi endiga za Yesu ezaabakwasibwa? Ekitundu ekiddako kijja kuddamu ekibuuzo ekyo.