Yamba Abo Abaabula Okuva mu Kisibo
“Munsanyukireko, kubanga nzudde endiga yange eyabadde ebuze.”—LUK. 15:6.
1. Yesu yalaga atya nti musumba mulungi?
OMWANA wa Yakuwa eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo, ayitibwa “omusumba w’endiga omukulu.” (Beb. 13:20) Kyali kyalagulwa mu Byawandiikibwa nti yali wa kujja, era nti yandibadde Musumba wa njawulo eyandifubye okunoonya “endiga ezaabula” ez’omu nnyumba ya Isiraeri. (Mat. 2:1-6; 15:24) Ate era, ng’omusumba owa bulijjo bw’ayinza okufiirwa obulamu bwe ng’alwanirira endiga ze, Yesu yawaayo obulamu bwe nga ssaddaaka ku lw’abantu abalinga endiga abandikkiririza mu ssaddaaka ye.—Yok. 10:11, 15; 1 Yok. 2:1, 2.
2. Kiki ekiyinza okuba nga kye kyaviirako Abakristaayo abamu okuggwamu amaanyi?
2 Kya nnaku nti abamu abaalabika ng’abaasiima ssaddaaka ya Yesu era ne beewaayo eri Katonda, beesala dda ku kibiina. Okulwala oba okufuna ebizibu kiyinza okuba nga kyabaviirako okuggwamu amaanyi. Naye tebasobola kufuna ssanyu na mirembe Dawudi bye yayogerako mu Zabbuli 23 nga tebali mu kisibo kya Katonda. Dawudi yagamba nti: “Mukama ye musumba wange; seetaagenga.” (Zab. 23:1) Abo abali mu kisibo kya Katonda tebalina kye bajula mu by’omwoyo, naye si bwe kiri eri abo abaakivaamu. Baani abayinza okubayamba? Bayinza kubayamba batya? Era kiki ekiyinza okukolebwa basobole okudda mu kisibo?
Baani Abayinza Okubayamba?
3. Yesu yalaga atya ekyetaagisa okununula endiga za Katonda eziba zibuze?
3 Okusobola okuyamba endiga za Katonda kyetaagisa okufuba okw’amaanyi. (Zab. 100:3) Kino Yesu yakiraga bwe yagamba nti: “Omuntu bw’aba n’endiga ze ekikumi, emu ku zo bw’ebula, taleka ziri ekyenda mu omwenda, n’agenda ku nsozi, n’anoonya eyo ebuzeeko? Era bw’aba ng’agirabye, mazima mbagamba nti agisanyukira eyo okusinga ziri ekyenda mu omwenda ezitaabuze. Bwe kityo tekyagalibwa mu maaso ga Kitammwe ali mu ggulu, omu ku abo abato bano okuzikirira.” (Mat. 18:12-14) Baani abayinza okuyamba abo abaabula okuva mu kisibo?
4, 5. Abakadde balina kumanya ki ku bikwata ku kisibo kya Katonda?
4 Okusobola okuyamba endiga ezaabula, abakadde balina okukijjukira nti ‘ekisibo kya Katonda’ kirimu abantu abeewaddeyo eri Yakuwa era akitwala nga kya muwendo nnyo. (Zab. 79:13, NW) Endiga ezo ez’omuwendo zeetaaga okukwata n’obwegendereza, nga kino kitegeeza nti abasumba balina okufaayo ku buli emu ku zo. Abakadde bwe bakyalira abo abaabula okuva mu kisibo kiyinza okubazzaamu ennyo amaanyi. Omukadde bw’abakwata mu ngeri ey’ekisa kiyinza okubazimba mu by’omwoyo ne kibaleetera okwagala okudda mu kisibo.—1 Kol. 8:1.
5 Abasumba b’ekisibo kya Katonda balina obuvunaanyizibwa okunoonya endiga eziba zibuze n’okuziyamba. Ng’ajjukiza abakadde b’omu Efeso obuvunaanyizibwa bwe baalina obw’okulunda ekisibo, omutume Pawulo yagamba nti: “Mwekuumenga mmwe mwekka n’ekisibo kyonna [o]mwoyo [o]mutukuvu mwe yabateeka mmwe okuba abalabirizi, okulundanga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi [gw’Omwana we] yennyini.” (Bik. 20:28) Omutume Peetero naye yakubiriza abakadde abaafukibwako amafuta nti: “Mulundenga ekisibo kya Katonda ekiri mu mmwe, nga mukirabirira si lwa maanyi naye lwa kwagala, nga Katonda bw’ayagala; si lwa kwegomba amagoba mu bukuusa, naye lwa mwoyo; so si ng’abeefuula abaami b’ebyo bye mwateresebwa, naye nga mubeeranga byakulabirako eri ekisibo.”—1 Peet. 5:1-3.
6. Lwaki endiga za Katonda zeetaaga okulabirirwa ennyo leero?
6 Abasumba mu kibiina Ekikristaayo balina okukoppa Yesu ‘omusumba omulungi.’ (Yok. 10:11) Yali alumirirwa nnyo endiga za Katonda, era yalaga nti kikulu okuzirabirira bwe yakuutira Simooni Peetero ‘okulundanga endiga Ze.’ (Soma Yokaana 21:15-17.) Naddala mu kiseera kino, endiga zirina okulabirirwa mu ngeri ng’eyo kubanga Omulyolyomi afuba okulaba nti abantu ba Katonda balekera awo okumuweereza. Setaani akozesa obunafu bw’omubiri awamu n’ensi eno embi okusendasenda endiga za Yakuwa zikole ebintu ebikyamu. (1 Yok. 2:15-17; 5:19) Kyangu nnyo abo abaggwamu amaanyi okugwa mu mitego gye, era bwe kityo beetaaga okuyambibwa basobole ‘okutambulira mu mwoyo.’ (Bag. 5:16-21, 25) Okusobola okuyamba endiga ezo, abakadde balina okusaba Katonda abawe obulagirizi bw’omwoyo gwe, era balina okukozesa obulungi Ekigambo kye.—Nge. 3:5, 6; Luk. 11:13; Beb. 4:12.
7. Lwaki abakadde balina okufuba okulambula endiga ezaabakwasibwa?
7 Mu Isiraeri ey’edda, omusumba yabanga n’omuggo omuwanvu gwe yakozesanga okuluŋŋamya endiga ze. Endiga bwe zaabanga ziyingira mu kisibo oba nga zifuluma, ‘zaayitanga wansi w’omuggo ogwo’ n’asobola okuzibala. (Leev. 27:32; Mi. 2:12; 7:14) Omusumba Omukristaayo naye bw’atyo alina okumanya ebikwata ku ndiga za Katonda ezaamukwasibwa. (Geraageranya Engero 27:23.) Olw’ensonga eyo, okulambula endiga kye kimu ku bintu ebikulu ebirina okwogerako mu kakiiko k’abakadde. Kino kizingiramu okukola enteekateeka z’okuyamba endiga ezaabula. Yakuwa yennyini yagamba nti yandinoonyezza endiga ze n’aziwa obuyambi obwetaagisa. (Ez. 34:11) N’olwekyo, Katonda asanyuka okulaba abakadde nga bafuba okuyamba endiga ezibuze okudda mu kisibo.
8. Abakadde bayinza kuyamba batya endiga eyabula?
8 Ow’oluganda bw’aba omulwadde, asanyuka nnyo era addamu amaanyi omukadde bw’amukyalira. Bwe kityo bwe kiri ne ku muntu omulwadde mu by’omwoyo. Abakadde bayinza okumusomerayo ebyawandiikibwa, okusaba naye, okuyita naye mu kitundu ekimu ekyasomebwa, oba okumuyitiramu ku byali mu lumu ku nkuŋŋaana. Bayinza okumugamba nti ab’oluganda bajja kusanyuka nnyo okumulaba ng’akomyewo mu kibiina. (2 Kol. 1:3-7; Yak. 5:13-15) N’olwekyo, okumukyalira, okumukubira essimu, oba okumuwandiikira ebbaluwa kirina kya maanyi kye kiyinza okukola! Omusumba naye awulira essanyu lingi bw’ayamba endiga eyabula.
Buli Omu Asobola Okuyamba
9, 10. Lwaki tuyinza okugamba nti okuyamba endiga ezaabula tekikwata ku bakadde bokka?
9 Olw’ebiseera ebizibu bye tulimu, n’olw’okuba n’eby’okukola ebingi, kyangu obutakiraba nti mukkiriza munnaffe atandise okwesala ku kibiina. (Beb. 2:1) Naye endiga za Yakuwa za muwendo nnyo mu maaso ge. Buli emu ya mugaso, nga bwe kiri ku buli kitundu kya mubiri gwaffe. Bwe kityo, ffenna ng’ab’oluganda buli omu alina okufaayo ennyo ku munne. (1 Kol. 12:25) Naawe eyo ye ndowooza gy’olina?
10 Kituufu nti okunoonya n’okuyamba endiga ezaabula buvunaanyizibwa bwa bakadde, naye si be bokka be kikwatako. Abalala nabo basobola okuyamba ku basumba abo. Ffenna tusaanidde okuzzaamu baganda baffe ne bannyinnaffe amaanyi n’okubayamba mu by’omwoyo basobole okudda mu kisibo. Naye tuyinza kubayamba tutya?
11, 12. Nkizo ki eyinza okukuweebwa nga waliwo mukkiriza munno eyeetaaga obuyambi mu by’omwoyo?
11 Omuntu eyaggwamu amaanyi bw’alaga nti yandyagadde okuyambibwa, abakadde basobola okumufunira omubuulizi alina obumanyirivu n’asoma naye Baibuli. Ekigendererwa mu kino kwe kuyamba omuntu oyo addemu okuba ‘n’okwagala kwe yalina olubereberye.’ (Kub. 2:1, 4) Tusobola okuzzaamu bakkiriza bannaffe abo amaanyi nga tubayitiramu ku bimu ku ebyo bye twayiga mu kibiina nga tebaliiwo.
12 Abakadde bwe bakusaba okusoma ne mukkiriza munno omuyambe mu by’omwoyo, saba Yakuwa akuwe obulagirizi obwetaagisa. Yee, ‘teresa Yakuwa emirimu gyo, naye anaanyweza enteekateeka zo.’ (Nge. 16:3, NW) Fumiitiriza ku Byawandiikibwa ne ku bintu by’oyinza okukozesa okuzimba okukkiriza kwe nga musoma. Lowooza ku kyokulabirako ky’omutume Pawulo ekirungi ennyo. (Soma Abaruumi 1:11, 12.) Pawulo yeesunga okulaba Bakristaayo banne ab’omu Ruumi asobole okubawa ekirabo eky’eby’omwoyo ekyandibanywezezza mu kukkiriza. Naye yennyini yali yeesunga okuzzibwamu amaanyi. Naffe si bwe twandiwulidde bwe tutyo nga tugezaako okuyamba endiga ezaabula okuva mu kisibo kya Katonda?
13. Bintu ki by’oyinza okwogerako ng’osoma n’oyo eyaggwamu amaanyi?
13 Bwe muba musoma, oyinza okumubuuza nti, “Wayiga otya amazima?” Bwe muba munyumya, yogera ku ssanyu lye yalina ng’aweereza Yakuwa, era omusikirize naye okwogera ku birungi bye yayiga mu nkuŋŋaana z’ekibiina, mu nkuŋŋaana ennene, n’engeri gye yaganyulwa mu buweereza bw’ennimiro. Yogera ku birungi bye mwafuna nga muweereza mwenna Yakuwa. Yogera ku ngeri gy’oganyuddwa mu kuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. (Yak. 4:8) Laga nti osiima olw’engeri Katonda gy’atulabiriramu ng’abantu be—naddala engeri gy’atubudaabuda nga tuli mu bizibu.—Bar. 15:4; 2 Kol. 1:3, 4.
14, 15. Bintu ki by’oyinza okujjukiza omuntu eyaggwamu amaanyi mu by’omwoyo?
14 Kiyinza okuba eky’omugaso okujjukiza omuntu ng’oyo egimu ku mikisa gye yafuna ng’akyatambulira wamu n’ekibiina. Ng’ekyokulabirako, okumanya kwe okw’Ekigambo kya Katonda n’ebigendererwa bye kwali kweyongerayongera. (Nge. 4:18) Bwe yali ‘akyatambulira mu mwoyo,’ nga ne bw’akemebwa kimwanguyira okusigala nga munywevu. (Bag. 5:22-26) Ekyo kyamuyambanga okuba n’omuntu ow’omunda omulungi, n’aba nga asobola okutuukirira Yakuwa mu kusaba n’afuna ‘emirembe gya Katonda egisinga okutegeerwa kwonna, era egikuuma emitima gyaffe n’ebirowoozo byaffe.’ (Baf. 4:6, 7) Jjukira okwogera ku bintu ng’ebyo, laga nti ofaayo ku mukkiriza munno, era mukubirize okudda mu kisibo.—Soma Abafiripi 2:4.
15 Watya ng’oli mukadde akyalidde omwami ne mukyala we abaggwamu amaanyi mu by’omwoyo? Bayambe okulowooza ku mazima ge baayiga mu Kigambo kya Katonda, engeri gye gaabazibulamu amaaso, n’obumativu bwe baafuna. (Yok. 8:32) Yogera ku ssanyu lye baafuna nga bayize ebikwata ku Yakuwa, okwagala kwe, n’ebigendererwa bye eby’ekitalo. (Geraageranya Lukka 24:32.) Bajjukize enkolagana ennungi gye baalina ne Yakuwa era n’enkizo ey’okusaba Abakristaayo abeesigwa gye balina. Bakubirize okuddamu okugondera “amawulire amalungi ag’ekitiibwa aga [Yakuwa,] Katonda omusanyufu.”—1 Tim. 1:11, NW.
Mweyongere Okubalaga Okwagala
16. Waayo ekyokulabirako ekiraga nti okuyamba abaweddemu amaanyi kivaamu ebirungi.
16 Naye ddala amagezi ago gakola? Yee. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omu eyafuuka omubuulizi w’Obwakabaka nga wa myaka 12, yaggwamu amaanyi nga wa myaka 15. Kyokka, oluvannyuma yaddamu amaanyi era kati amaze emyaka egisoba mu 30 mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Naddala waliwo omukadde omu eyamuyamba ennyo okuddamu amaanyi mu by’omwoyo. Nga yasiima nnyo obuyambi obwo obwamuweebwa!
17, 18. Ngeri ki ze weetaaga okuba nazo okusobola okuyamba omuntu eyabula okuva mu kisibo kya Katonda?
17 Okwagala kwe kukubiriza Abakristaayo okuyamba abaweddemu amaanyi okudda mu kibiina. Ng’ayogera ku bagoberezi be, Yesu yagamba: “Etteeka eriggya mbawa nti Mwagalanenga; nga bwe nnabaagalanga mmwe, era nammwe mwagalanenga. Bonna kwe banaategeereranga nga muli bayigirizwa bange, bwe munaabanga n’okwagalana mwekka na mwekka.” (Yok. 13:34, 35) Yee, okwagala kabonero akaawulawo Abakristaayo ab’amazima. Okwagala okwo tetwandikulaze Bakristaayo bannaffe abaggwamu amaanyi? Ekyo tekiriiko kubuuza! Naye okusobola okubayamba kitwetaagisa okwoleka ebibala by’omwoyo.
18 Ngeri ki ze weetaaga okuba nazo okusobola okuyamba omuntu eyabula okuva mu kisibo kya Katonda? Ng’oggyeko okwagala, olina okuba ow’ekisa, omuwombeefu, era omugumiikiriza. Oluusi kiyinza n’okukwetaagisa okusonyiwa. Pawulo yawandiika nti: “Mwambalenga . . . omwoyo ogw’ekisa, obulungi, okwewombeeka, obuteefu, okugumiikiriza; nga muzibiikirizagananga, era nga musonyiwagananga mwekka na mwekka, omuntu yenna bw’abeeranga n’ensonga ku muntu munne; era nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa mmwe, era nammwe bwe mutyo: ku ebyo byonna era mwambale okwagalana, kye kintu ekinyweza okutuukirira.”—Bak. 3:12-14.
19. Lwaki twandifubye okuyamba abo abalinga endiga okudda mu kibiina?
19 Mu kitundu ekiddako tujja kulaba ensonga ezireetera abamu okubula okuva mu kisibo kya Katonda. Era tujja kulaba engeri ab’oluganda gye bawulira nga waliwo akomyewo mu kibiina. Bw’onoosoma ekitundu ekyo, era n’ofumiitiriza ne ku kino, ojja kukiraba nti ddala kya muganyulo okuyamba abo abalinga endiga okudda mu kibiina. Abantu bangi nnyo leero beemalira mu kunoonya bya bugagga obulamu bwabwe bwonna, naye obulamu bw’omuntu omu yekka bw’ati bwa muwendo okusinga ssente zonna eziri mu nsi. Kino Yesu yakyoleka bulungi mu lugero lwe olw’endiga eyabula. (Mat. 18:12-14) Era ekyo kijjukirenga bulijjo ng’ofuba okuyamba endiga za Yakuwa ez’omuwendo ezaabula okudda mu kisibo.
Wandizzeemu Otya?
• Buvunaanyizibwa ki abasumba Abakristaayo bwe balina mu kuyamba abo abalinga endiga abaabula okuva mu kisibo?
• Oyinza otya okuyamba abo abeesala ku kibiina Ekikristaayo?
• Ngeri ki ze weetaaga okuba nazo okusobola okuyamba abo abaabula okuva mu kisibo?
[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 10]
Abasumba Abakristaayo bafuba okuyamba abo abaabula okuva mu kisibo kya Katonda