LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE ogwa Intaneeti
LAYIBULALE EY'OKU MUKUTU GWAFFE
ogwa Intaneeti
Luganda
  • BAYIBULI
  • EBITABO
  • MEETINGS
  • od sul. 6 lup. 53-58
  • Abaweereza Bye Bakola Bya Muganyulo Nnyo

No video available for this selection.

Sorry, there was an error loading the video.

  • Abaweereza Bye Bakola Bya Muganyulo Nnyo
  • Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
  • Subheadings
  • Similar Material
  • EBISAANYIZO EBY’OKUFUUKA OMUWEEREZA
  • EMIRIMU GYE BAKOLA
  • Abaweereza Balina Buvunaanyizibwa Ki?
    Baani Leero Abakola Yakuwa by’Ayagala?
  • Ab’Oluganda​—⁠Muluubirira Okufuuka Abaweereza mu Kibiina?
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Siima Abo Yakuwa ne Yesu Be Batuwadde “ng’Ebirabo”
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa (Ogw’Okusoma)—2024
  • Abasajja Abakristaayo—Musigire Omwoyo Muluubirire Enkizo!
    Omunaala gw’Omukuumi Alangirira Obwakabaka bwa Yakuwa—2010
See More
Tutegekeddwa Okukola Yakuwa by’Ayagala
od sul. 6 lup. 53-58

ESSUULA 6

Abaweereza Bye Bakola Bya Muganyulo Nnyo

OMUTUME Pawulo bwe yali awandiikira ekibiina ky’e Firipi, yagamba nti: “Nze Pawulo ne Timoseewo, abaddu ba Kristo Yesu, mpandiikira abatukuvu bonna abali obumu ne Kristo Yesu ab’omu Firipi, awamu n’abalabirizi era n’abaweereza.” (Baf. 1:1) Weetegereze nti Pawulo yayogera ku baweereza. Abasajja abo bateekwa okuba nga baayambanga nnyo abakadde mu kibiina. Ne leero abaweereza bayamba nnyo abakadde, era emirimu gye bakola gya mugaso nnyo.

2 Omanyi abaweereza abali mu kibiina kyo? Omanyi emirimu gye bakola egikuganyula era egiganyula ekibiina kyonna? Awatali kubuusabuusa, Yakuwa asiima nnyo emirimu abasajja abo gye bakola. Pawulo yagamba nti: “Abasajja abaweereza mu ngeri ennungi baba n’ennyimirira ennungi era basobola okwogera n’obuvumu ku kukkiriza kwe balina mu Kristo Yesu.”​—1 Tim. 3:13.

EBISAANYIZO EBY’OKUFUUKA OMUWEEREZA

3 Abaweereza balina okuba nga beeyisa bulungi, nga basajja ba buvunaanyizibwa, era nga bakola bulungi emirimu egiba gibaweereddwa. Kino kyeyoleka bulungi bwe twekenneenya ebisaanyizo bye balina okutuukiriza, Pawulo bye yayogerako mu bbaluwa gye yawandiikira Timoseewo. Yagamba nti: “Abaweereza mu kibiina nabo basaanidde okuba ab’obuvunaanyizibwa, nga si ba nnimibbirye, nga tebanywa mwenge mungi, nga tebalulunkana kufuna bintu mu makubo makyamu, nga banywerera ku kyama ekitukuvu eky’okukkiriza nga balina omuntu ow’omunda omulungi. Ate era basookenga kugezesebwa okulaba obanga basobola, olwo balyoke bakole ng’abaweereza nga tebaliiko kya kunenyezebwa. Omuweereza mu kibiina abeerenga n’omukazi omu, ng’afuga bulungi abaana be n’ab’omu maka ge.” (1 Tim. 3:8-10, 12) Abakadde bwe baba basemba ow’oluganda okufuuka omuweereza, basaanidde okukakasa nti ow’oluganda oyo atuukiriza ebisaanyizo eby’omu Byawandiikibwa. Abalina obuvunaanyizibwa mu kibiina bwe baba beeyisa bulungi, ekibiina tekyogerwako bubi.

4 Abaweereza ka babe nga bavubuka oba nga bakulu mu myaka, basaanidde okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira buli mwezi. Bwe baba abanyiikivu, baba bakoppa Yesu, era baba balaga nti balina endowooza ya Yakuwa ayagala abantu bonna balokolebwe.​—Is. 9:7.

5 Ate era abaweereza bateerawo abalala ekyokulabirako ekirungi mu nnyambala, mu njogera, mu nneeyisa n’endowooza gye baba nayo ku bintu eby’enjawulo. Baba n’endowooza ennuŋŋamu, ekiviirako abalala okubawa ekitiibwa. Okugatta ku ebyo, enkolagana yaabwe ne Yakuwa n’enkizo ze balina mu kibiina babitwala nga bya muwendo nnyo.​—Tit. 2:2, 6-8.

6 Abasajja abo baba basoose “kugezesebwa okulaba obanga basobola” okuweereza. Ne bwe baba tebannalondebwa, kiba kimaze okweyoleka nti obusobozi babulina. Baba bakiraze nti bakulembeza ebintu eby’omwoyo era nti baluubirira enkizo ey’okuweereza abalala. Mu butuufu baba bateerawo abalala mu kibiina ekyokulabirako ekirungi.​—1 Tim. 3:10.

EMIRIMU GYE BAKOLA

7 Abaweereza bakola emirimu egitali gimu egiganyula ab’oluganda mu kibiina, ekyo ne kisobozesa abakadde okuba n’ebiseera ebimala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okuyigiriza n’okukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi. Akakiiko k’abakadde bwe kaba kabawa obuvunaanyizibwa, kasooka kulowooza ku busobozi bwabwe ne ku byetaago by’ekibiina.

Abaweereza bakola emirimu egitali gimu egiganyula ab’oluganda mu kibiina, ekyo ne kisobozesa abakadde okuba n’ebiseera ebimala okutuukiriza obuvunaanyizibwa bwabwe obw’okuyigiriza n’okukyalira ab’oluganda okubazzaamu amaanyi

8 Gino gye gimu ku mirimu egiyinza okuweebwa abaweereza: Omuweereza omu ayinza okuweebwa ogw’okukola ku bitabo, ab’oluganda mu kibiina basobole okufuna ebitabo eby’okusoma n’eby’okukozesa mu kubuulira. Abamu baweebwa ogw’okukola ku by’embalirira y’ekibiina oba okukola ku kaadi ezikwata ku bitundu ebibuulirwamu. Abalala baweebwa gwa kutambuza kazindaalo, okukola ku byuma by’amaloboozi, okwaniriza abagenyi, oba okuyambako abakadde mu ngeri endala. Waliwo n’emirimu emirala mingi egiba gyetaagisa okusobola okukuuma Ekizimbe ky’Obwakabaka nga kiyonjo era nga kiri mu mbeera nnungi. Abaweereza batera okusabibwa okuyambako ku mirimu egyo.

9 Mu bibiina ebimu, buli muweereza ayinza okuweebwa omulimu gumu gwokka ku egyo egyogeddwako waggulu. Ate mu bibiina ebirala, omuweereza ayinza okuweebwa emirimu egiwerako. Mu mbeera ezimu, abaweereza abasukka mu omu bayinza okuweebwa omulimu gwe gumu. Bwe watabaawo baweereza bamala, akakiiko k’abakadde kayinza okuwa ab’oluganda ababatize abassaawo ekyokulabirako ekirungi egimu ku mirimu egyo. Ekyo kibayamba okufuna obumanyirivu obujja okubayamba nga balondeddwa okuba abaweereza. Bwe watabaawo ba luganda bayinza kuweebwa mirimu egyo, bannyinaffe abassaawo ekyokulabirako ekirungi bayinza okusabibwa okuyambako ku bintu ebimu, wadde nga baba tebayinza kulondebwa okuba abaweereza mu kibiina. Omukristaayo aweereza Katonda n’obunyiikivu era eyeeyisa obulungi aba kyakulabirako kirungi eri abalala. Abeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa, mubuulizi munyiikivu, embeera y’omu maka ge eweesa Yakuwa ekitiibwa, yeesanyusaamu mu ngeri esaanira, era ennyambala ye n’engeri gye yeekolako biweesa ekitiibwa.

10 Mu bibiina omuli abakadde abatono ennyo, abaweereza abayigiriza obulungi bayinza okusabibwa okuyita mu bibuuzo ebikwata ku njigiriza z’Ekikristaayo n’abo ababa baagala okubatizibwa. Ebibuuzo ebyo bisangibwa mu Ebyongerezeddwako “Ekitundu 1​—Abakristaayo Bye Bakkiriza.” Okuva bwe kiri nti “Ekitundu 2​—Obulamu bw’Omukristaayo” mulimu ebibuuzo ebikwata ku nsonga ez’omunda ezikwata ku muntu kinnoomu, omukadde y’alina okuyita mu bibuuzo ebyo n’omubuulizi.

11 Okusinziira ku bwetaavu obubaawo, buli luvannyuma lw’ekiseera, akakiiko k’abakadde kayinza okuddira emirimu egibadde egy’omuweereza omu ne kagiwa omulala. Kyokka, kiba kya muganyulo nnyo okuleka ab’oluganda okukola omulimu gwe gumu okumala ekiseera ekiwerako, kibasobozese okufuna obumanyirivu.

12 Era okusinziira ku bwetaavu obuba buliwo, wayinza okubaawo obuvunaanyizibwa obulala obuweebwa abaweereza abakola obulungi era ng’okukulaakulana kwabwe ‘kweyoleka bulungi eri abantu bonna.’ (1 Tim. 4:15) Singa waba tewali bakadde bamala, omuweereza ayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obw’okuweereza ng’omuyambi w’omulabirizi w’ekibinja, oba ng’omuweereza atwala ekibinja, naye ng’abakadde bafuba okulaba nti atuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwe. Omuweereza ayinza okuweebwa obuvunaanyizibwa obw’okukubiriza ebitundu ebimu mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo, nga mw’otwalidde n’okukubiriza Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina, era n’okuwa emboozi ya bonna. Obuvunaanyizibwa obulala buyinza okuweebwa abaweereza bwe wabaawo obwetaavu era nga balina ebisaanyizo ebyetaagisa okubutuukiriza. (1 Peet. 4:10) Bwe baba bayambako abakadde, abaweereza basaanidde okukola emirimu gyabwe n’essanyu.

13 Wadde ng’emirimu gye bakola gya njawulo ku gy’abakadde, nagyo buweereza butukuvu eri Katonda, era gisobozesa ekibiina okutambula obulungi. Oluvannyuma lw’ekiseera, abaweereza bwe baba batuukiriza bulungi obuvunaanyizibwa bwabwe era nga batuukiriza n’ebisaanyizo eby’okuweereza ng’abasumba era abayigiriza, bayinza okusembebwa okuweereza ng’abakadde.

14 Bw’oba ng’oli wa luganda akyali mu myaka egy’obutiini oba eyaakabatizibwa, oluubirira okufuuka omuweereza? (1 Tim. 3:1) Olw’okuba waliwo abantu bangi abeegatta ku kibiina buli mwaka, abasajja beetaagibwa okuweebwa obuvunaanyizibwa obutali bumu mu kibiina. Osobola okuluubirira enkizo eyo ng’okulaakulanya omwoyo ogw’okuyamba abalala. Ekimu ku binaakuyamba kwe kufumiitiriza ku kyokulabirako ekirungi Yesu kye yatuteerawo. (Mat. 20:28; Yok. 4:6, 7; 13:4, 5) Ate era ojja kweyongera okwagala okuyamba abalala bw’onoogenda ofuna essanyu eriva mu kugaba. (Bik. 20:35) N’olwekyo, beera mwetegefu okuyamba abalala mu kibiina, okuwagira enteekateeka y’okulabirira Ekizimbe ky’Obwakabaka, oba okukola nga nnakyewa mu Lukuŋŋaana lw’Obulamu bw’Ekikristaayo. Ate era okuluubirira enkizo mu kibiina kizingiramu okukulaakulanya engeri eziri mu kibala ky’omwoyo. Ekinaakuyamba okukola ekyo, kwe kuba n’enteekateeka ennungi ey’okwesomesa. (Zab. 1:1, 2; Bag. 5:22, 23) Okugatta ku ekyo, ow’oluganda aluubirira enkizo ateekwa okuba nga buli kimu ekimuweebwa okukola mu kibiina akituukiriza bulungi.​—1 Kol. 4:2.

15 Abaweereza balondebwa omwoyo omutukuvu okukola emirimu egiyamba ekibiina. Abo abali mu kibiina basobola okulaga nti basiima emirimu abaweereza gye bakola nga bakolagana bulungi nabo. Bwe bakola bwe batyo, baba balaga nti basiima enteekateeka ya Yakuwa eno esobozesa ekibiina okutambula obulungi.​—Bag. 6:10.

    Ebitabo Ebiri mu Luganda (1982-2025)
    Log Out
    Log In
    • Luganda
    • Share
    • Preferences
    • Copyright © 2025 Watch Tower Bible and Tract Society of Pennsylvania
    • Obukwakkulizo
    • Engeri gye Tukuumamu Ebikukwatako
    • Privacy Settings
    • JW.ORG
    • Log In
    Share