Siima Ebikozesebwa mu Mulimu gwa Katonda
1 Bwe yali akola enteekateeka z’okuddaabiriza yeekaalu, kabaka Yosiya yasiima abo abaaweebwa omulimu ogwo, ng’agamba: “Naye tebabaliriranga muwendo gwa ssente ezibaweebwa kubanga bakola n’obwesigwa.” (2 Bassek. 22:3-7, NW) Engeri abasajja abo gye baakozesaamu ssente ezaabakwasibwa yalaga nti baasiima ebintu ebitukuvu. Nga twenyigira mu mulimu omutukuvu ogw’okubuulira amawulire amalungi, naffe leero tulina okubeera abeesigwa nga tukozesa ebintu ebituweebwa.
2 Mu Buweereza bw’Ennimiro: Bwe tutegeera obukulu bw’obubaka obuli mu bitabo byaffe, ne sente ezisaasaanyizibwa mu kubikuba, kituleetera okubitwala nga bya muwendo nnyo. Tetulina kumala gagaba bitabo byaffe eri abo abasiima ekitono ennyo obubaka bwa Baibuli. Omuntu bw’asiima ekitono amawulire amalungi, tuyinza okumuwa ka tulakiti mu kifo ky’ekitabo, brocuwa oba magazini.
3 Gaba ebitabo mu ngeri eraga nti bya muwendo. Weewale okubireka mu bifo ebya lukale kubanga tebijja kukozesebwa mu ngeri ey’omuganyulo. Sooka obale ebitabo by’olina awaka nga tonnafuna birala osobole okwewala okubidiibuuda. Bw’oba ofuna magazini nnyingi okusinga ku ze weetaaga buli lufuluma, kendeeza ku z’osaba.
4 Ebitabo Bye Tukozesa: Tulina kusaba bitabo ebyo byokka bye twetaaga. Naddala tulina okuba abakekkereza nga tusaba Baibuli ennene n’ezo ez’amaliba agagonda, ssaako n’ebitabo ebirala, gamba nga Concordance, Index, Insight ne Proclaimers, kuba byonna bitwala ensimbi nnyingi okubikuba.
5 Owandiika erinnya n’endagiriro yo mu bitabo byo? Bw’okola ekyo, tojja kumala gafuna bitabo birala okuzzaawo ebyo by’obuzizza. Bw’obuza akatabo k’ennyimba, Baibuli, oba ekitabo ekirala kyonna, oboolyawo oyinza okukizuula mu bintu ebyalondebwa n’ebiterekebwa ku Kizimbe ky’Obwakabaka oba mu kifo awabeera enkuŋŋaana ennene.—Luk. 15:8, 9.
6 Ka tufube okukozesa obulungi ebitabo byaffe. Eno ngeri gye tulagamu nti tuli beesigwa nga tukozesa ebintu by’Obwakabaka Yakuwa by’atukwasizza.—Luk. 16:10.