Enteekateeka Y’enkuŋŋaana Z’obuweereza
Wiiki Etandika Ssebutemba 9
Oluyimba 92
Ddak. 13: Ebirango by’ekibiina. Ebirango ebimu okuva mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka. Ng’okozesa amagezi agaweereddwa ku lupapula 8, laga ebyokulabirako bibiri, ekimu ng’ogaba Watchtower aka Agusito 15 ekirala ng’ogaba Awake! aka Agusito 22. Mu buli kyakulabirako, laga engeri ey’okwanukulamu omuntu agezaako okuziyiza okunyumya naye ng’agamba “Ssaagala Bajulirwa ba Yakuwa.”—Laba akatabo Reasoning, empapula 17-18.
Ddak. 17: “Okuyamba Abalala Okugulumiza Yakuwa.”a Obudde bwe bubaawo, yogerayo ensonga emu oba bbiri okuva mu katabo Reasoning, empapula 196-9.
Ddak. 15: Lwaki Abantu Tebalina Kukkiriza? Kukubaganya birowoozo n’abawuliriza. Tuyinza okusanga abantu abalina okukkiriza okutono. (2 Bas. 3:2) Okusobola okubabuulira amazima agakwata ku Yakuwa, tulina okusooka okuzuula ekyabaviirako okuba n’endowooza gye balina ku Katonda. Weetegereze ensonga nnya eziweereddwa mu katabo Reasoning empapula 129-30, eziyinza okuviirako abantu obutabeera na kukkiriza. Saba abakuwuliriza boogere ku ngeri eziyinza okukozesebwa okuyamba buli kiti ky’abantu abakwatibwako ensonga eziweereddwa. Waayo ekyokulabirako ekikwata ku ngeri emu ennungi eyakozesebwa oba yogera ku eyo eri mu Awake! aka Agusito 22, 1993 empapula 14-15.
Oluyimba 43 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 16
Oluyimba 71
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Lipoota y’Eby’Embalirira. Kubiriza bonna okusoma mu bye baawandiika nga bali mu lukuŋŋaana lw’ekitundu olwayita nga beetegekera Olukuŋŋaana lw’Obuweereza olwa wiiki eddako.
Ddak. 18: Twakola Tutya Omwaka Oguwedde? Kwogera kwa kuweebwa omulabirizi w’obuweereza. Yogera ebikulu ebiri mu lipoota y’ekibiina ey’omwaka gw’obuweereza 2002. Weebaze bonna olw’ebirungi bye baakola. Teeka essira ku ngeri ekibiina gye kyakolamu okuddiŋŋana, okuyigiriza abantu Baibuli, okujja mu nkuŋŋaana n’okuweereza nga bapayoniya abawagizi, era laga n’engeri gye bayinza okulongoosaamu we kyetaagisa. Muteekeewo ebiruubirirwa ebiyinza okutuukibwako mu mwaka ogujja.
Ddak. 17: Ebizibu Abazadde Abali Obwannamunigina Bye Boolekagana Nabyo. Omukadde abuuza ebibuuzo omuzadde nnamunigina omu oba babiri (oba nga munnaabwe mu bufumbo si Mujulirwa) okulaba engeri gye baŋŋangamu ebizibu by’okutendeka abaana baabwe, okubakangavvula, n’okubawa obulagirizi mu by’omwoyo. Basobola batya okukola ku buvunaanyizibwa bw’amaka era n’okugenda mu nkuŋŋaana wamu n’okubuulira obutayosa? Yogera ku magezi agaweereddwa mu katabo Essanyu mu Maka, empapula 104-10. Nga bwe kiragiddwa ku mpapula 113-15, yogera ku ngeri abantu abalala gye bayinza okuyambamu.
Oluyimba 72 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 23
Oluyimba 46
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina. Ng’okozesa amagezi agaweereddwa ku lupapula 8, saba omukadde alage ekyokulabirako eky’okugaba Watchtower aka Ssebutemba 1 n’omuweereza alage engeri y’okugabamu Awake! aka Ssebutemba 8. Buli luvannyuma lw’ekyokulabirako, ddamu oyogere ebigambo ebisooka ebyakozeseddwa okusikiriza omuntu.
Ddak. 10: Ebyetaago by’ekibiina.
Ddak. 25: “Mutye Katonda era Mumuwe Ekitiibwa.” (Kub. 14:7) Kwogera na kukubaganya birowoozo n’abawuliriza nga mwejjukanya ebyali mu lukuŋŋaana lw’ekitundu mu mwaka gw’obuweereza ogwayita. Saba abakuwuliriza boogere ku nsonga enkulu ze baayiga n’engeri gye baasobola okuzissa mu nkola kinnoomu oba ng’amaka. (Osobola okutegeeza abanaayogera bategeke ng’ekyabulayo obudde.) Yogera ku bitundu bino ebyali mu lukuŋŋaana: (1) “Yamba Abappya Okukulaakulanya Okutya Katonda.” Tuyinza tutya okuyamba abantu abaagala okuyiga naffe abajja ku Kijjukizo basobole okukulaakulana okufuuka abaweereza ba Yakuwa abanyiikivu? (2) “Okutya Yakuwa Kutegeeza Okukyawa Ekibi.” (w87 4/15 16-18) Engero 6:16-19 wayinza watya okutuyamba okwesamba ebintu Yakuwa by’akyawa—amalala, okulimba, okunoonya ennyo ebintu, okwesanyusa okutazimba, okweyambisa obubi Internet? (3) “Beera n’Enkolagana ey’Oku Lusegere n’Abo b’Oyagala.” Twagala Yakuwa, Yesu, ab’omu maka gaffe, n’ab’oluganda mu kibiina; naye okubeera n’enkolagana ey’oku lusegere nabo kitukuuma kitya okuva ku nsi? (4) “Tya Yakuwa, so si Bantu.” Okutya okunyiiza Yakuwa kukuyambye kutya obutaba na nsonyi ng’obuulira, okunywerera ku misingi gya Katonda ku mulimu, oba ku ssomero, oba obutekkiriranya nga mukama wo ku mulimu akuziyiza okugenda mu nkuŋŋaana ennene n’entono? (5) “Kola Byonna ku lw’Ekitiibwa kya Katonda.” (Zab. 119:37; Beb. 4:13) Lwaki okutya Katonda kutuziyiza okunywa ennyo omwenge, okulaba ebifaananyi eby’obugwenyufu, oba okukola ebibi ebirala mu kyama? (6) “Weeyongere Okutambulira mu Kutya Yakuwa.” Yakuwa akuwadde atya emikisa olw’okukkiriza omwoyo gwe okukolera mu bulamu bwo mu bujjuvu?—Zab. 31:19; 33:18; 34:9, 17; 145:19.
Oluyimba 69 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Ssebutemba 30
Oluyimba 95
Ddak. 15: Ebirango by’ekibiina. Jjukiza ababuulizi bonna okuwaayo lipoota zaabwe ez’obuweereza bw’ennimiro ez’omwezi gwa Ssebutemba. Mukubaganye ebirowoozo ku “Enteekateeka y’Okuzimba Ebizimbe by’Obwakabaka Yeeyongera mu Maaso.”
Ddak. 15: Kiki Ekifuula Magazini Zaffe Okuba ez’Enjawulo? Kwogera n’okukubaganya ebirowoozo n’abawuliriza. Mu Okitobba tujja kugaba Watchtower ne Awake! Yogera ensonga lwaki magazini zaffe za njawulo: (1) Zigulumiza erinnya lya Yakuwa. (2) Zikubiriza abantu okukkiririza mu Yesu. (3) Zirangirira Obwakabaka bwa Katonda. (4) Zikubiriza abantu okussa obwesige mu Baibuli. (5) Ziraga okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli. (6) Zinnyonnyola amakulu g’embeera eziriwo kati ku nsi. (7) Ziraga engeri y’okwaŋŋangamu ebizibu ebiriwo kati. (8) Zisikiriza abantu aba buli kika. (9) Tezeeyingiza mu bya bufuzi. Laga mu bufunze ebyokulabirako bibiri nga buli kimu kiraga engeri y’okweyambisaamu emu ku nsonga ezo okutandika okunyumya n’omuntu.
Ddak. 15: “Siima Ebikozesebwa mu Mulimu gwa Katonda.”b Kya kukubirizibwa mukadde. Yogera ku ngeri ab’oluganda gye babadde bagabamu ebitabo mu kitundu kyammwe n’ekiyinza okukolebwa okulaba nti ekibiina kibikozesa bulungi. Kubiriza bonna okusaba ebitabo ebyo byokka bye beetaaga. Bajjukize enkizo y’okuwaayo ensimbi okusobola okuwagira omulimu gw’okubuulira mu nsi yonna.—Laba ekitundu “Gabira Abalala Okusinziira ku Bwetaavu Bwabwe,” mu Our Kingdom Ministry aka Noovemba 1996, olupapula 3.
Oluyimba 8 n’okusaba okufundikira.
Wiiki Etandika Okitobba 7
Oluyimba 52
Ddak. 10: Ebirango by’ekibiina.
Ddak. 15: Okunywerera ku Mazima ku Ssomero. Buuza ebibuuzo omubuulizi omuto, omu oba babiri abazzeeyo ku ssomero era abategedde nti kikulu obutakola mikwano gya ku lusegere na bayizi bannaabwe abatali bakkiriza. Bateeseteese batya okwaŋŋanga ebeera ezisoomooza gamba ng’okwenyigira mu mikolo gya mwoyo gwa ggwanga, amazina agabeera ku ssomero, eby’emizannyo, n’enneeyisa etali nnyonjo? Basabe boogere ne ku ngeri gye beeteeseteesemu okuwa obujulirwa nga bali ku ssomero.
Ddak. 20: “Weewale Okuluubirira ‘Ebitagasa’.”c Oluvannyuma lw’okukubaganya ebirowoozo ku katundu 4, yogera ku biri ku lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1999 obutundu 30-2. Bw’otuuka ku katundu 5, yogera ku biri mu kasanduuko akali mu Watchtower aka Okitobba 1, 1994, olupapula 8. Bw’otuuka ku katundu 6, soma akatundu 18 mu lupapula olw’omunda mu Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka aka Noovemba 1999.
Oluyimba 44 n’okusaba okufundikira.
[Obugambo obuli wansi]
a By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ng’okozesa ebibuuzo.
b By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ng’okozesa ebibuuzo.
c By’oyogera mu nnyanjula bireme kusukka ddakiika n’oluvannyuma mukubaganye ebirowoozo ng’okozesa ebibuuzo.