Okugaba Ebitabo mu Kitundu mwe Boogera Ennimi Ezitali Zimu
1. Lwaki ebibiina bingi byetaaga okuba n’ebitabo ebiri mu nnimi ez’ensi endala?
1 Ebitundu bingi bye tubuuliramu birimu abantu abava mu nsi endala. Bangi ku bantu bano bayiga mangu era ne bategeera bulungi bwe bayigirizibwa mu nnimi zaabwe. Nteekateeka ki ezikoleddwa, okusobozesa abo abaagala okuyiga okufuna ebitabo ebyesigamiziddwa ku Baibuli mu nnimi ze basinga okuteegera obulungi?
2. Kiki ekiyinza okukolebwa singa ebibiina ebissuka mu kimu ebyogera ennimi ez’enjawulo bikola mu kitundu kye kimu?
2 Lwe Tulina Okugaba Ebitabo: Ebibiina ebissuka mu kimu ebikozesa ennimi ezitali zimu bwe biba nga bibuulira mu kitundu kye kimu, akakiiko k’abakadde kajja kukolera wamu n’abalabirizi b’obuweereza bw’ennimiro, basseewo enkola ekkirizibwa mu buli kibiina esobozesa okubuulira mu bujjuvu abantu aboogera ennimi ezitali zimu. Emirundi egimu ebibiina biyinza okuwanyisiganya ebitundu bye bibuuliramu. Nga mugaba ebitabo oba nga muddiŋŋana oyo ayagala okumanya ebisingawo, mukakase nti mumulagirira eri ekibiina ekyogera olulimi lwategeera obulungi.—Laba Akasanduuko k’Ebibuuzo akali mu Our Kingdom Ministry aka Okitobba 1990.
3. Ddi ekibiina lwe kirina okubeera n’ebitabo ebiri mu lulimi olugwira?
3 Lwe Tulina Okubeera n’Ebitabo: Kiki ekiyinza okukolebwa singa mu kitundu mubaamu abantu abawerako aboogera olulimi olugwira kyokka nga tewaliiwo kibiina kirukozesa? Mu mbeera ng’eyo ebibiina biyinza okubeera n’ebitabo ebitonotono ebiri mu lulimi olwo gamba nga, brocuwa Atwetaagisa, Mukwano gwa Katonda, oba akatabo Okumanya ne butulakiti. Ababuulizi bayinza okugaba ebitabo bino bwe basanga abantu abasobola okusoma olulimi olwo.
4. Ebitabo ebiri mu lulimi olumu ng’ekibiina tekibirina biyinza kufunibwa bitya?
4 Engeri y’Okulagirizaamu Ebitabo: Ekibiina bwe kitabeera na bitabo ebiri mu lulimi omuntu ayagala okumanya ebisingawo lw’asobola okusoma, ebitabo ebiri mu lulimi olwo biyinza kufunibwa bitya? Omubuulizi asaanidde okwogerako n’omuweereza akola ku bitabo okulaba bitabo ki ebiri mu lulimi olwo, kisobozese okulagiriza ebitabo ebyetaagibwa mu kusaba kw’ekibiina okunaddako.
5. Kiki ekiyinza okukolebwa singa ebitabo biba byetaagibwa mu bwangu kyokka ng’okusaba kw’ekibiina okuddako tekunnabaawo?
5 Bwe kiba nti byetaagibwa mu bwangu, omubuulizi ayinza okubuuza omu ku bali ku Kakiiko k’Ekibiina ak’Obuweereza obanga asobola okulagiriza ebitabo ebyo, ng’okusaba kw’ekibiina okuddako tekunnabaawo. Kino bwe kikkirizibwa, oyo atabaganya ebibiina ku nsonga z’ebitabo oba omuntu omulala yenna gw’aba alonze ayinza okuwaayo okusaba okwo okw’amangu ng’awandiika ebbaluwa oba ng’akuba essimu ku ofiisi y’ettabi. Ebitabo bijja kuweerezebwa nga bakozesa endagiriro y’ekibiina eya bulijjo oba endagiriro endala bwe kiba kyetaagisa. Bwe baba baagala ebitabo biweerezebwe mu bwangu okuyitira mu poosita, ekibiina kijja kusabibwa okusasula ebisale ebyetaagisa.
6. Tulina kiruubirirwa ki mu kusobozesa abantu okufuna ebitabo by’Ekikristaayo?
6 Ka tukozese bulungi ebitabo eby’Ekikristaayo okusobola okuyamba ‘abantu bonna,’ ka babe ba ggwanga ki, ‘bategeerere ddala amazima basobole okulokolebwa.’—1 Tim. 2:3, 4.