Bw’Oba Weetaaga mu Bwangu Ebitabo Ebiri mu Lulimi Olugwira
Emirundi egimu tusisinkana abantu abaagala okusoma ebitabo byaffe mu lulimi olugwira bye tutalina mu tterekero ly’ebitabo ery’ekibiina kyaffe. Obadde okimanyi nti osobola okufuna ebitabo byaffe mu nnimi nga 400 ng’okozesa internet n’ekyuma ekikuba empapula? Eno y’engeri gy’oyinza okukikolamu:
• Genda ku mukutu gwaffe ogwa internet omutongole oguyitibwa, www.watchtower.org.
• Bw’oggulawo omukutu ogwo, ojja kulaba olukalala lw’ezimu ku nnimi eziriko ku luuyi olwa ddyo. Nyiga ku kafaananyi akalaga ensi yonna osobole okufuna olukalala lw’ennimi zonna eziriko.
• Londa olulimi lw’oyagala. Ojja kulaba ebitabo eby’enjawulo by’oyinza okukubamu kopi gamba nga tulakiti, brocuwa, n’ebirala. Okuva bwe kiri nti ebitabo ebyo biri mu lulimi olwo lw’olonze, teweeraliikirira bw’oba ng’emitwe togitegeera.
• Londa ekimu ku bitabo ebyo. Ebimu ku ebyo ebiri mu kitabo ekyo bijja kweyoleka era osobola okubikubamu kopi ng’okozesa ekyuma ekikuba empapula.
Omukutu gwaffe guliko ebimu ku bitabo by’oyinza okukozesa; osobola okufuna ebitabo ebirala okuyitira mu kibiina. Omuntu bw’aba ng’alaze okusiima, kiba kirungi okulagiriza ebitabo ng’oyitira mu kibiina.