Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gukozese mu Buweereza
Kubiriza Abantu Okukozesa Omukutu Gwaffe: Abantu abamu abatya okukubaganya naffe ebirowoozo oba okutwala ebitabo byaffe, bayinza okwagala okunoonyereza ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa ku mukutu jw.org. N’olwekyo buli lw’oba ofunye akakisa, abantu bategeeze ebikwata ku mukutu gwaffe ogwa Intaneeti.
Gukozese Okuddamu Ebibuuzo: Oluusi oyo gwe tuba tubuulira, mukwano gwaffe, oba omuntu asiimye obubaka bwaffe ayinza okutubuuza ebikwata ku Bajulirwa ba Yakuwa oba enzikiriza zaffe. Mulagirewo eky’okuddamu ng’okozesa akasimu ak’omu ngalo oba kompyuta. Kiba kirungi okusoma ebyawandiikibwa butereevu mu Bayibuli. Bwe kiba nti w’oli tewali Intaneeti, munnyonnyole engeri gy’ayinza okukozesaamu omukutu jw.org okusobola okufuna eky’okuddamu mu kibuuzo kye.—Genda onyige ku “Bible Teachings” oluvannyuma onyige ku “Bible Questions Answered” oba nyiga ku “About Us” oluvannyuma onyige ku “Frequently Asked Questions.”
Weereza Omuntu gw’Omanyi Ekitundu eky’Okusoma oba Ekitabo: Wanula fayiro ya PDF oba EPUB ogiweereze omuntu ku e-mail. Oba wanula ekitabo eky’okuwuliriza okiteeke ku ka-CD okamuweereze. Bw’owanula ku mukutu gwaffe ekitabo ekiramba oba brocuwa oba magazini, n’oweereza omuntu atali mubatize, osobola okukiraga ku lipoota yo ey’obuweereza. Tosaanidde kuweereza muntu ebyo ebiri ku mukutu gwaffe nga tolaze linnya lyo oba okubiteeka ku mukutu omulala ogwa Intaneeti.—Genda onyige ku “Ebitabo.”
Balage Amawulire Agaakafuluma Agakwata ku Bajulirwa ba Yakuwa: Kino kijja kuyamba abantu be tuyigiriza ne be tubuulira okukimanya nti omulimu gwaffe gukolebwa mu nsi yonna era nti Abajulirwa ba Yakuwa ffenna tuli bumu. (Zab. 133:1)—Genda onyige ku “News.”
[Ekipande ekiri ku lupapula 5]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Kola Bino
1 Nyiga ku “Ebitabo,” oluvannyuma onyige ku fayiro ey’okusoma oba ey’okuwuliriza gy’oyagala okuwanula.
2 Nyiga ku “MP3” olabe olukalala lw’ebitundu eby’okuwuliriza. Nyiga ku mutwe gw’ekitundu ky’oyagala osobole okukiwanulako, oba nyiga ku kabonero kano ▸ okukiwuliririza ku Intaneeti.
3 Londa olulimi olulala ku lukalala luno bw’oba oyagala okuwanulako ekitabo ekiri mu lulimi olwo.