Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gukozese mu Kwesomesa ne mu Kusinza kw’Amaka
Soma Magazini Empya ku Mukutu Gwaffe: Soma magazini y’Omunaala gw’Omukuumi n’eya Awake! eziteekebwa ku mukutu gwaffe nga tetunnazifuna mu bibiina. Ate era osobola n’okuziwuliririza obuwuliriza ku mukutu gwaffe.—Genda onyige ku “Ebitabo” oluvannyuma onyige ku “Magazini.”
Soma Ebitundu Ebifulumira ku Mukutu Gwaffe Kwokka: Ebitundu ebimu gamba nga, “Eri Abaana Baffe,” “Bye Njiga mu Bayibuli,” “For Family Review,” ne “Young People Ask,” kati bifulumira ku mukutu gwaffe kwokka. Genda ku mukutu gwaffe okozese ebimu ku bitundu bino mu kwesomesa oba mu kusinza kw’amaka.—Genda onyige ku “Bible Teachings” oluvannyuma onyige ku “Children” oba nyiga ku “Bible Teachings” oluvannyuma onyige ku “Teenagers.”
Funa Amawulire Agaakafulumizibwa: Soma lipoota n’ebyokulabirako ebizzaamu amaanyi, olabe ne vidiyo eziraga engeri omulimu gwaffe gye gukulaakulanamu mu nsi yonna. Kuliko ne lipoota ezikwata ku butyabaga n’okuyigganyizibwa ezijja okutuyamba okumanya bye tuyinza okwogerako nga tusabira baganda baffe abakoseddwa. (Yak. 5:16)—Genda onyige ku “News.”
Noonyereza ng’Okozesa Layibulale eri ku Mukutu Gwaffe: Layibulale eno bw’eba nga kweri mu lulimi lwo, kozesa kompyuta oba essimu eriko Intaneeti okusoma ekyawandiikibwa ekya buli lunaku oba okunoonyereza mu bitabo byaffe ebyafulumizibwa gye buvuddeko awo.—Genda onyige ku “Ebitabo” oluvannyuma onyige ku “Layibulale ku Mukutu Gwaffe,” oba wandiika endagiriro eno, www.wol.jw.org, awagenda endagiriro za Intaneeti ku kompyuta.
[Ekipande ekiri ku lupapula 4]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Kola Bino
1 Nyiga ku kifaananyi oba ku kigambo “Download.” Sindika ku pulinta ofune olupapula okuli ebifaananyi oluwe omwana wo akole ekimugambiddwa.
2 Okulaba vidiyo, nyiga ku kabonero akassaako vidiyo.