Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gukozese Okuyamba Omuntu Ayogera Olulimu Olulala
Mulage Omukutu Gwaffe: Genda awali ekigambo “Olulimi” omulage engeri gy’ayinza okukozesaamu omukutu gwaffe mu lulimi lwe. (Mu nnimi ezimu, waliwo ebintu ebitannateekebwako.)
Mulage Ekimu ku Bitabo Ebiri mu Lulimi Lwe: Nyiga ku kitabo gamba nga Baibuli Ky’Eyigiriza, oba tulakiti Okumanya Amazima. Genda awali ebigambo “Bisome Mu,” olonde olulimi lwe ku lukalala lw’ennimi.
Awulirize Ekitundu Ekisomebwa: Genda awali ekitundu ekisomebwa mu lulimi lwe, omuteereko awulirize. Bw’oba oyiga olulimi olulala, wuliriza ebisomebwa mu lulimi olwo nga bw’ogoberera mu kitabo.—Genda onyige ku “Ebitabo,” oluvannyuma onyige ku “Ebitabo n’Obutabo,” oba nyiga ku “Ebitabo,” oluvannyuma onyige ku “Magazini.”
Gukozese ng’Osanze Kiggala: Bw’osanga kiggala, muteereko vidiyo eri mu lulimi lwa bakiggala. Oyinza okumuteerako essuula okuva mu Bayibuli, mu katabo, mu brocuwa, oba tulakiti.—Genda onyige ku “Ebitabo,” oluvannyuma onyige ku “Olulimi lwa Bakiggala.”
[Ekipande ekiri ku lupapula 6]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Kola Bino
1 Nyiga ku kabonero kano ▸ osobole okuwuliriza ng’ekitabo kisomebwa (bwe kibaako mu lulimi lw’oyagala), oba nyiga ku kika kya fayiro gy’oyagala okiwanuleko.
2 Bw’oba obyagala mu lulimi olulala, genda awali ebigambo “Bisome Mu” olonde olulimi olwo.
3 Nyiga ku kigambo “Ebiddako” oba ku gumu ku mitwe egiri wansi wa “Ebirimu” osobole okusoma ekitundu ekirala oba essuula endala.