Omukutu Gwaffe Ogwa Intaneeti—Gutuganyula era Guganyula n’Abalala
Yesu yatuwa omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka ‘mu nsi yonna okuba obujulirwa eri amawanga gonna.’ (Mat. 24:14) Okusobola okutuyamba ‘okutuukiriza obuweereza bwaffe mu bujjuvu,’ emikutu gyaffe egya lntaneeti, watchtower.org, jw-media.org, ne jw.org gigattiddwa wamu era kati tulina omukutu gumu oguyitibwa www.pr418.com.—2 Tim. 4:5.
“Mu Nsi Yonna”: Kumpi kimu kya kusatu eky’abantu mu nsi yonna bakozesa Intaneeti. Abantu bangi, nnaddala abavubuka, bakozesa nnyo Intaneeti nga baliko kye baagala okumanya. Abantu bwe bakozesa omukutu gwaffe basobola okufuna eby’okuddamu ebituufu mu bibuuzo ebikwata ku Bayibuli. Basobola n’okumanya ebikwata ku kibiina kya Yakuwa, era n’okusaba okuyigirizibwa Bayibuli. Mu ngeri eyo, amawulire amalungi gasobola okutuuka ku bantu abali mu bitundu ebizibu okutuukamu.
“Eri Amawanga Gonna”: Okusobola okuwa obujulirwa mu ‘mawanga gonna,’ tulina okubuulira amazima agali mu Bayibuli mu nnimi ez’enjawulo. Abakozesa omukutu jw.org basobola okufuna obubaka mu nnimi nga 400 okusinga bwe kiri ku mikutu emirala egya Intaneeti.
Fuba Okugukozesa: Abantu abatali bakkiriza si be bokka abalina okukozesa omukutu gwaffe, naffe Abajulirwa ba Yakuwa tusobola okugukozesa. Bw’oba osobola okukozesa Intaneeti, tukukubiriza okukozesa omukutu gwaffe jw.org. Oyinza kugukozesa otya?
[Ekipande ekiri ku lupapula 3]
(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)
Kola Bino
1 Wandiika endagiriro eno, www.pr418.com awagenda endagiriro za Intaneeti ku kompyuta yo.
2 Nyiga ku gumu ku mitwe egisooka waggulu; oluvannyuma onyige ku mutwe omulala ogukwata ku nsonga gy’oyagala.
3 Essimu yo bw’eba eriko Intaneeti, osobola okukozesa omukutu gwaffe mu ngeri y’emu.