Kozesa Omukutu Gwaffe ng’Obuulira—“Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino”
Ekitundu ekirina omutwe “Bible Teachings” (Enjigiriza za Bayibuli) ekiri ku mukutu jw.org, kirimu ekitundu ekigamba nti “Bible Questions Answered” (Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino.) Bwe tuba tumanyi ebibuuzo ebiri mu kitundu ekyo omuntu n’atubuuza ekimu ku byo, tusobola okumulagirira omukutu gwaffe. Ate era ebibuuzo ebyo tusobola okubikozesa okutandika okwogera n’abantu mu buweereza. Tuyinza okulondayo ekibuuzo kimu abantu kye batera okwebuuza, ne tukibuuza omuntu, era ne tumulaga ekyo Bayibuli ky’egamba nga bwe kinnyonnyolwa ku mukutu jw.org. Oluvannyuma tuyinza okumubuulira oba okumulaga we tuggye eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo. Oba tuyinza okumugamba asome butereevu eky’okuddamu ekiri ku mukutu gwaffe. Mwannyinaffe omu, nga mukyala w’omulabirizi w’ekitundu, agamba omuntu nti: “Abantu bangi beebuuza ekibuuzo kino, ‘Katonda y’atuleetera okubonaabona?’ Wandyagadde okumanya eky’okuddamu mu butikitiki 51 bwokka?” Oluvannyuma amuteerako essimu ye n’awuliriza eky’okuddamu kye yaggya ku mukutu gwaffe. Bw’aba afundikira, amulaga essuula 11 ey’akatabo Baibuli Ky’Eyigiriza.