Kozesa Omukutu jw.org ng’Obuulira
Omukutu gwaffe ogwa Intaneeti gutuyamba okutuusa amawulire amalungi ne “mu bitundu by’ensi ebisingayo okuba ewala.” (Bik. 1:8) Abantu bangi tebazuula mukutu jw.org ku lwabwe. Wabula bamanya omukutu guno ng’omubuulizi amaze kugubalagirira.
Omulabirizi omu akyalira ebibiina yawanulako vidiyo erina omutwe ogugamba nti Lwaki Kikulu Okuyiga Bayibuli? n’agissa ku ssimu ye, era agiraga abantu buli lw’aba afunye akakisa. Ng’ekyokulabirako, bw’aba abuulira nnyumba ku nnyumba agamba abantu nti: “Mbakyaliddeko leero okubalaga eby’okuddamu mu bibuuzo ebikulu bisatu: Lwaki ensi erimu ebizibu bingi? Katonda anaabiggyawo atya? Era kiki ekinaatuyamba okugumiikiriza mu kiseera kino? Vidiyo eno ya ddakiika ntono nnyo era eddamu ebibuuzo ebyo.” Agiteekako alabe obanga omuntu anakkiriza okugiraba. Abantu abasinga obungi bwe batandika okulaba vidiyo eyo baba baagala bagirabe okutuusa lw’eggwaako. Oluvannyuma omulabirizi oyo agamba omuntu nti: “Mu vidiyo bagambye nti osobola okusaba okuyigirizibwa Bayibuli ng’okozesa omukutu guno. Ka nkulage engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli.” Omuntu oyo bw’akkiriza, omulabirizi amulaga engeri gye tuyigirizaamu abantu Bayibuli ng’akozesa brocuwa Amawulire Amalungi Okuva eri Katonda. Omuntu bw’aba talina biseera, omulabirizi akola enteekateeka asobole okumuddira. Ne bw’aba agenze mu wooteeri okunywa kaawa, akozesa ennyanjula y’emu. Okozesa omukutu jw.org ng’obuulira?