Enteekateeka eya Wiiki Etandika nga Ssebutemba 22
WIIKI ETANDIKA SSEBUTEMBA 22
Oluyimba 9 n’Okusaba
Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina:
cl sul. 13 ¶11-18 (Ddak. 30)
Essomero ly’Omulimu gwa Katonda:
Okusoma Bayibuli: Okubala 30-32 (Ddak. 10)
Na. 1: Okubala 32:16-30 (Ddak. 4 oba obutawera)
Na. 2: Lwaki Katonda Teyazikiririzaawo Sitaani nga Yaakamujeemera?—rs-E lup. 363 ¶3–lup. 364 ¶1 (Ddak. 5)
Na. 3: Ensonga Lwaki Katonda Aleseewo Okubonaabona—td 16B (Ddak. 5)
Olukuŋŋaana lw’Obuweereza:
Ddak. 15: Abaminsani Yakuwa Abawa Emikisa. (Nge. 10:22) Kukubaganya birowoozo nga kwesigamiziddwa ku katabo Yearbook aka 2014, olupapula 123, akatundu 2 okutuuka ku lupapula 127, akatundu 4; n’olupapula 169. Saba abawuliriza boogere bye bayize.
Ddak. 15: “Kozesa Omukutu jw.org ng’Obuulira.” Kukubaganya birowoozo. Laga ekyokulabirako ng’okozesa ennyanjula eri mu katundu 2. Oluvannyuma buuza abawuliriza ebibuuzo bino: Lwaki kirungi okuwanula vidiyo eyo n’ogiteeka ku ssimu yo oba ku kakompyuta ak’omu ngalo? Lwaki kirungi okulaga omuntu vidiyo eyo nga tosoose kwogera bintu bingi oba nga tosoose kumubuuza obanga yandyagadde okugiraba? Birungi ki ebivuddemu mu kulaga abantu vidiyo eyo? Fundikira ng’okubiriza ababuulizi okuyiga ebintu ebitali bimu ebiri ku mukutu gwaffe jw.org, n’okufuba okugukozesa nga babuulira. Ekyo bwe kiba tekituukirawo, laga ekyokulabirako ku ngeri gye tuyinza okutandikamu okubuulira omuntu nga tukozesa tulakiti, Ddala Abafu Basobola Okuddamu Okuba Abalamu? oba tulakiti endala yonna gye mulina mu kibiina kyammwe.
Oluyimba 84 n’Okusaba